Elly Wamala
Elly Wamala (Nga 13 omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri okuva mu mwaka gwa 1935 – 22 omwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 2004) yali muyimbi wa Uganda . [1] Nga 22 omwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 2004, yafa kookolo w'emimiro mu ddwaaliro e Mulago . [2] Wamala y'omu ku bayimbi mu Uganda abaasooka okufulumya oluyimba olwakwatibwa ku katambi nerutunda nnyo mu myaka gya 1950 bwe yafulumya Nabutono . Oluyimba luno lwakola bulungi nnyo ne lukwata eggwanga lyonna omubabiro ne Kabaka Edward Mutesa II yayitanga Wamala mu lubiri lwe okuyimba oluyimba luno. Oluvannyuma lwa Nabutono, Wamala yafulumya oluyimba olulala oluyitibwa Josephine era nalwo nerutunda nnyo. [3] We yafiira, yalina ennyimba ezisoba mu 60 mu linnya lye, omuli Nabutono eyafulumizibwa mu 1959, Viola (1974), Welcome Pope Paul VI (1969), Akaana Ka Kawalya (1974), ne Ebinyumu Ebyaffe (1998), n'endala nnyingi. [4]
Obuto bwe n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Elly Wamala yazaalibwa "Elishama Lukwata Wamala" nga 13 omwezi ogw'ekkumi n'ebbiri mu mwaka gwa 1935 eri omwami w'eggombolola Ignatius Mutambuze ne Gladys Nabutiti e Bulucheke, Mbale . [5] Yali mwana wa kusatu mu baana 19. Yakuzibwa muganda wa taata we Daniel Katunda e Bulenga ku luguudo lw’e Mityana. Ekitone kye eky’okuyimba kyalabibwa ng’alina emyaka etaano, era taata we omuto n’atandika okumuyitanga okusanyusa abagenyi abamukyaliranga.[ <span title="This claim needs references to reliable sources. (October 2020)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Yasomera ku Bbira Primary School oluvannyuma nagenda ku Mackay Primary School, omukulu w’essomero, Livingstone Semyano gye yalabira ekitone kye eky’okuyimba n’atandika okumuyigiriza okuyimba n’okusoma myuziki. Bweyamaliriza pulayimale, Wamala yeegatta ku Mengo Secondary School, nga tanagenda ku Makerere College gye yasomera ennimi, ebitontome, n'okuwandiika okwa bulijjo . [5]
Oluvanyuma lwa Makerere, yakubiranga gitta ku bbaala ya New Life e Mengo nga tanagenda Kenya kusoma na kukuguka mu kukuba gitta okw’omulembe mu Nairobi Conservatoire . E Kenya yakulembera bbandi ya Sportsman Chachacha Band eyatekebwamu ensimbi abakola sigala wa Sportsman nga tanagenda Bungereza . Wamala yakomawo okuva e Bungereza ng’alina dipulooma mu Banjo Mandolin gitta. Yasoma n’okuteekateeka ebiragibwa ku ttivi mu ggwanga lya Wales era bwe yakomawo mu Uganda mu mwaka gwa 1961 n’akola n'omukutu gw'okuweereza ku mpewo ogwali wansi wa gavumenti, okutuusa mu mwaka gwa 1981 lwe yawumula. [5] Wamala yazuulibwa nga alina kookolo w’ekyenda ekinene mu mwaka gwa 2000, era oluvannyuma n’alongoosebwa era nateekebwa ku ddagala erijanjaba kkansa okumala wiiki 52 . Oluvannyuma lw’okujanjabibwa yafulumya olutambi olwali lugenda okusembayo olwatuumibwa Ani Yali Amanyi. Mu kiseera ekyo kookolo yali asaasanye mu mubiri gwe era n’afa mu mwaka gwa 2004. Yaleka omukyala n’abaana 12 n’abazzukulu abawerako . [5] [6] [ <span title="(October 2020)">okunnyonnyola kwetaagibwa</span> ]
Okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Wamala yava mu ssomero mu siniya ye ey'okussatu natandika okukola ku kifo ewatundirwa ennyimba mu Kampala.Yegoba natandika okukola n'ekitongole kya gavumenti y'ebiseera ebyo ekyali kivunanyizibwa ku kukulakulanya ebizimbe eby'enjawulo n'ebyentambula mu kibuga,oluvanyuma nakola ogw'okwaniriza abagenyi n'ogw'okuyimba ne Opel Tom Tom situdiyo eyali ekola ennyimba mu Kampala.Situdiyo ya Opel Tom Tom bweyagala, Wamala yagenda e Nairobi gyeyafuukira omukubi wa gitta mu situdiyo ya HiFi eyali ekola ennyimba.Yalondebwa okukulira baandi ya Sports Cha Cha eyali etereddwamu ensimbi okulambula obuvanjuba bwa Africa okumanyisa sigala w'ekika kya Sportsman mu bantu.Era mu myaka gya 1950 yawandiika oluyimba lwe olwasooka oluyitibwa Nabutono.Luno lwafuuka oluyimba lwa kadongo kamu olwakwatibwa mu nkola y'okuteekebwa ku jinja.
Ttivvi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 1963, Wamala yeegatta ku ttivvi ya Uganda Television (UTV) nga yakatandikibwawo. Yakola ogw'okuteekateeka ebirabibwa ku ttivvi, akulira abateekateeka ebirabibwa ku ttivvi oluvannyuma nakola ogw'okulungamya pulogulaamu eziragibwa ku ttivvi. Yalina pulogulaamu y'okuweereza ennyimba ku ttivvi (Saturday Night with Elly Wamala). Mu mwaka gwa 1966, yasoma eby'okuteekateeka ebirabibwa ku ttivvi ku kitongole kya Thompson foundation e Glasgow, Scotland . Omukisa ogwo yagukozesa okwekebejjebwa omukubi wa gitta George Cissily, era n’afuna ekiwandiiko kya BMG Dipuloma mu kukuba gitta ya plectrum, essira naliteeka mu kukuba gitta nga ateekamu amaloobozi ag'enjawulo amasenenkerevu. Bwe yali ku UTV, yawumula omwaka mulamba [1968–69] okukola Dipuloma mu katemba ku yunivasite y’e Makerere . Olw’obukugu buno, yafuna okwagala okw'olulimi, empandiika ey'enjawulo n'ebitontome, ekintu ekirabibwa mwebyo byeyali awandiika [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Wakati wa 1980 ne 1981, Wamala yasomesa okukola ku ttivvi ku Institute of Public Administration (kati Uganda Management Institute ). Yatandikawo bbandi ya Mascots nagiwumbawumba nefuuka emu ku bbandi ezaasinga okukola obulungi mu Kampala mu myaka gya 1980. Mu bammemba baayo kuliko munnamateeka wa Kampala Andrew Kasirye, n'abayimbi Tonny Ssenkebejje, Peterson Tusuubira Mutebi, Frank Mbalire ne Kabuye Ssembogga . [6]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Ten years later, Elly Wamala still inspires". Retrieved 15 December 2014.
- ↑ "Uganda: Ten Years Later, Elly Wamala Still Inspires". Retrieved 15 December 2014.
- ↑ "The father of Uganda's music recording industry". Archived from the original on 22 January 2015. Retrieved 15 December 2014.
- ↑ "Elly Wamala's family releases remixed songs". Retrieved 15 December 2014.
- 1 2 3 4 Uganda: Building of a Nation. Kampala: Vision Group. 2012. p. 284. ISBN 9789970447008.
- 1 2 "Uganda: Ten Years Since His Death, Elly Wamala's Canopy As Green As Ever". Retrieved 15 December 2014.