Els de Temmerman
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Bubirigi |
| Erinnya eriweereddwa | Els |
| Yazaalibwa nga | 1962 |
| Native language | Dutch |
| Ennimi z'amanyi | Dutch |
| Omulimu | journalist |
Els De Temmerman (yazaalibwa 10 Ogwokubiri 1962, mu Oudenaarde ) ye yali munnamawulire Omubirigi eyatandikawo, [1] ekibiina ekigenderera okukomya okuyingiza abaana, okuwa obuyambi mu by'obwongo n'ebyenjigiriza nga bayita mu kuddaabiriza abaana abajaasi mu Africa abakola okufuna ssente ezibeezaawo obulamu bwabwe okwewala okuyingizibwa mu magye mu biseera eby'omu maaso. Era ye muwandiisi w'ekitabo ekiyitibwa Aboke Girls, ekikwata ku kuwambibwa kw'abaana abawala mu Aboke mu 1996 mu Bukiikakkono bwa Uganda .
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Wakati wa 1984 ne 1987, Temmerman yali Musomesa mu Feng Chia University, Taichung mu Republic of China. Yakola nga omuyambi mu Médecins Sans Frontières mu Sudan, okuva mu 1987 okutuuka mu 1988. Okuva mu 1988 okutuuka mu 1990, yakola nga omusasi w’abakozi mu Het Volk. Yasigala musasi w'abakozi mu Wereldwijd, magazini y’enkulaakulana eya Bubirigi, okuva mu 1990 okutuuka mu 1992. Yaweereza ng’omusasi wa Africa mu lupapula lwa De Volkskrant news mu Budaaki ne BRT- leediyo ne Ttivvi ya Bubirigi ng’asinziira e Nairobi, okuva mu 1992 okutuuka mu 1995. [2]
Temmerman yali muwabuzi wa minisita wa Bubirigi ow’enkolagana ezikwata ku by’enkulaakulana mu Brussels, wakati wa 1995 ne 1996. Okuva mu 1996 okutuuka mu 1997, yakola nga omusasi w'amawulire agakwata ku Afrika-era mu De Volkskrant ne BRT mu Kampala ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda . Era okuva mu 1997 okutuuka mu 1999, yeeyali omusasi wa Africa mu lupapula lwa De Morgen -Belgian daily ne VTM Flemish television ng’asinziira mu South Africa . Nga mu mwaka gwa 2000 ne 2002, yali mu kwanaganya mu lupapula lwa De standard- Belgian daily, Omusomesa ku Africa era omuyambi mu Palamenti ya Bulaaya n’olukiiko lwa Palamenti olw’awamu olwa ACP-EU. Okuva mu mwaka gwa 2000 okutuusa leero ye mutandisi era Executive director wa Sponsoring children Uganda. Yali mukwanaganya wa Rachele Rehabilitation Center e Lira, Uganda, okuva mu 2003 okutuuka mu 2006. Oluvannyuma okuva mu 2006 okutuuka mu 2010, yakola nga Editor-in-Chief mu kkampuni ya New Vision . [3]
Nga 12 Ogwekkuminoogumu 2006, yalondebwa okuba omusunsuzi omukulu ow’olupapula lw’amawulire olusangibwa mu Uganda, New Vision. Okulondebwa kuno kwatandika okukola nga 1 Ogwekkumineebiri 2006. [4] Yalekulira mu Gwekkumi 2008. [5] [6]
Mu 2010, ekibiina ky’amawanga amagatte kyesigisa Els De Temmerman okutandikawo ekifo ekibudamya abaana abato abayingizibwa mu buserikale bw'ekiyeekera mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Congo, kye yaggulawo mu 2013. [7]
Awaadi ze
[kyusa | kolera mu edit source]Temmerman yafuna awaadi ya Dick Scherpenzeel okuva ewa Minisita wa Budaaki ow’enkolagana ku by’enkulaakulana mu Netherlands, mu 1994. Yali muntu w’amawulire ow’omwaka mu Bubirigi, 1994 n’omukyala ow’omwaka-Belgium mu 1995. Yafuna awaadi ya Dutch Daily Press-Netherlands mu 1995. Era yafuna awaadi ya Yunivasite y’Abakatoliki ey’e Kortrijk mu Bubirigi. 2001 ne awaadi ya Gulden spoor, 2004. [8]
Yafuna awaadi ya Guinness power of goodness award mu Uganda mu 2004. Yafuna awaadi y'emirimu gy'emikono okuva mu Rotary Club Kampala, olw'okuweereza abantu mu ngeri ey'enjawulo ng'ayita mu Bannamawulire mu Uganda okuva mu 2004 okutuuka mu 2005. [9]
Bye yafulumya
[kyusa | kolera mu edit source]- The Horn of Agony, Sudan, Ethiopia and Somalia Davidsfonds, Belgium, 1992
- The Dead are Alive : Rwanda, an eyewitness De Arbeiderspers, The Netherlands, 1994 (yali firimu)
- Africa, Continents in Motion Icarus/De Standaard, Belgium, 1997
- Africa in a Vicious Circle Muller Lecture for the Diplomatic Corps in the Hague, the Netherlands, 2000
- Aboke Girls, abducted Children in northern Uganda Scoop, Belgium, 2000/Fountain Publishers, Uganda, 2001 (nga kivvuunuddwa ne mu nnimi omuli olwa Spanish, Italian ne French)
- Open letter on Globalisation, The Debate Cabinet of the Belgian Prime Minister, 2001
- And then I had to bite to death my brother Houtekiet, 200
Obulamu bwe obw'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Els De Temmerman mufumbo eri Johan Van Hecke, munnabyabufuzi Omubirigi abeera mu Oosterzele. Mu 2008, ye ne Van Hecke baafuuka bannannyini wooteeri ya Cassia Lodge mu Uganda. Nga 7 Ogwomusanvu 2011, yazaala abaana ab’obuwala babiri. Mu 2018, De Temmerman ne Van Hecke baatunda Cassia Lodge, oluvannyuma n’atandikawo wooteeri empya eyitibwa Kaazi Beach Resort.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- "Childsoldiers.net". Retrieved 28 August 2006.
- "New Vision: Staff". Archived from the original on 9 January 2010. Retrieved 27 January 2010.
- "De Temmerman stapt op als hoofdredactrice Oegandese krant - Buitenland - De Morgen" (in Dutch). Demorgen.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - "Els De Temmerman stapt op als Oegandese krantenbaas - Het Nieuwsblad" (in Dutch). Nieuwsblad.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - Knack, Redactie (2013-01-29). "'AFRIKA, IK ZAL ER NOOIT VAN GENEZEN'". Knack (in Luholandi). Retrieved 2022-07-10.
- Knack, Redactie (2013-01-29). "'AFRIKA, IK ZAL ER NOOIT VAN GENEZEN'". Knack (in Luholandi). Retrieved 2022-07-10.
- Els De Temmerman (49) mama van Lara en Maya; Het Nieuwsblad, 7 juli 2011
- "Childsoldiers.net". Retrieved 28 August 2006.
- "New Vision: Staff". Archived from the original on 9 January 2010. Retrieved 27 January 2010.
- "De Temmerman stapt op als hoofdredactrice Oegandese krant - Buitenland - De Morgen" (in Dutch). Demorgen.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - "Els De Temmerman stapt op als Oegandese krantenbaas - Het Nieuwsblad" (in Dutch). Nieuwsblad.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - Knack, Redactie (2013-01-29). "'AFRIKA, IK ZAL ER NOOIT VAN GENEZEN'". Knack (in Luholandi). Retrieved 2022-07-10.
- Knack, Redactie (2013-01-29). "'AFRIKA, IK ZAL ER NOOIT VAN GENEZEN'". Knack (in Luholandi). Retrieved 2022-07-10.
- Els De Temmerman (49) mama van Lara en Maya; Het Nieuwsblad, 7 juli 2011]
- Cath Luyten bezoekt voormalig CD&V-voorzitter Johan Van Hecke in Oeganda
- ↑ "Childsoldiers.net". Retrieved 28 August 2006.
- ↑ "CV Els De Temmerman - Child Soldiers VZW". www.childsoldiers.net. Retrieved 2025-12-17.
- ↑ "CV Els De Temmerman - Child Soldiers VZW". www.childsoldiers.net. Retrieved 2025-12-17.
- ↑ "New Vision: Staff". Archived from the original on 9 January 2010. Retrieved 27 January 2010.
- ↑ "De Temmerman stapt op als hoofdredactrice Oegandese krant - Buitenland - De Morgen" (in Dutch). Demorgen.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ "Els De Temmerman stapt op als Oegandese krantenbaas - Het Nieuwsblad" (in Dutch). Nieuwsblad.be. Retrieved 12 May 2012.
{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Knack, Redactie (2013-01-29). "'AFRIKA, IK ZAL ER NOOIT VAN GENEZEN'". Knack (in Luholandi). Retrieved 2022-07-10.
- ↑ "CV Els De Temmerman - Child Soldiers VZW". www.childsoldiers.net. Retrieved 2025-12-17.
- ↑ "CV Els De Temmerman - Child Soldiers VZW". www.childsoldiers.net. Retrieved 2025-12-17.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Lua error: Invalid configuration file.