Embeera ezibaawo ng’omukazi anaatera okugenda mu nsonga

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaana y’obuzibu buno[kyusa | edit source]

Kino kitegeeza obuzibu obubaawo[[1]] mu ssande emu oba bbiri ng’omukyala tannnagenda mu nsonga ze. Embeera eno ebeera ekyukakyuka okuva mu mukazi omu okudda ku mulala era nga bubeerawo okutuusiza ddala ng’omusaayi gutandise okujja. Embeera ezisinga okulabika enyo mulimu; okufuukuuka olususu, amabeere okwepika, okuzimba olubuto, okuwulira obukoowu, okubabuukirirwa n’okukyukakyuka mu mbeera. Obubonero buno bubaaawo okumala ennaku mukaaga. Obubonero omukazi bw’afuna ng’anaaatera okugenda mu nsonga busobola okukyuka oluvannyuma lw’ekiseera era nga tebubaawo mu kiseera ng’ali lubuto oba ng’atuuse mu bbanga ly’okulekera awo okugenda mu nsonga.

Ebireeta embeera eno[kyusa | edit source]

Ekireeta embeera zino tekimanyiddwa wabula nga kiteeberezebwa okuba nga kireetebwawo okulya omunnyo omungi wamu n’okunywa omwenge oba okukozesa enjaga. Okukebera omuntu kyetaagisa okubeera ng’omaze ekiseera nga weetegereza obubonero obukwatagana n’endowooza wamu n’obwo obulabikako nga tebikyukakyuka obubaawo ng’omuntu tannagenda mu nsonga olabire ddala kyenkana ki kye bukosa obulamu bw’omuntu owa bulijjo. Obubonero buno tebulina kubaawo mu ntandikwa y’okugenda mu nsonga. Olukalala lw’obuborero obubeerawo mu myezi emitonotono busobola okuyamba mu kwekebejja omuntu. Ebizibu ebirala ebiyinza okuleetebwawo embeera eno byetaaga okusuulibwa ebbali ng’omuntu tannatandika kwekebejjebwa.

Eri abo abalina obuzibu obw’amaanyi obw’embeera eno, baweebwa amagezi okukendeeza ku munnyo, enjaga, n’okwelaliikirira nga kw’ogatta n’okukozesa omubiri dduyiro. Ekiriisa ekya Calcium wamu n’ekyo ekigumya amagumba ekya Vitamin D bisobola okubeera eby’omugaso mu kumalawo obuzibu obumu. Okutuukira ddala ku bitundu 80% eky’abakazi abatuuse mu myaka egizaala bagamba nti bafuna obubonero kwe balabira nga banaatera okugenda mu nsonga.