Jump to content

Embeera ezifuga obwakalimagezi (the conditions that govern intelligence)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Embeera ezifuga Obwakalimagezi okusinziira ku Charles Muwanga.

Okufaanana n’obwakalimagezi (intelligence), Ekipimo ky’Obuwakalimagezi (EkkyO=IQ) kisinziira ku bintu ebikulu bibiri:

i) Obuzaale(Genetic factors)

ii) Embeera omuntu gy’abeeramu(the environmemnt)

Osaana okimanye nti olw’okuba ebiro bino abazadde beyunira nnyo okutwala abaana baabwe mu masomero n’amatendekero abantu abalina EkkyO eri waggulu beyongedde obungi okusinga abaaliwo mu mirembe egiyise olw’embeera ey’okutendekebwa n’okubangulwa gye bakuliramu.

Okimanyi nti obulamu bw’omuntu bukolebwa ebintu bisatu ebyetaaga okukulakulanyizibwa okuva mu buto? Anti obulamu obujjuvu bukolebwa:

• Omubiri

• Omulengera (the mind)

• N’omwoyo. Obw’omwoyo obukola omuntu bulimu “omwoyo w’obuntu (the soul) n’omwoyo wa Katonda (spirit), kyokka ndowooza nti omwoyo wa Katonda era asibukamu omwoyo akulengeza mu biki obwongo kye bukesse oba kye butapuse olw’omulengera, omwoyo ogukulengeza mu biki obwongo kye buzudde, ne gukulaga ekizuuliddwa.

Tosobola kwerimba nti ogenda kuteekawo embeera ekulaakulanya omwana wo mu kyenkanyi nga tokimanyi nti ebikola obulamu biri bisatu; omubiri, Omulengera, n’omwoyo era ebyo bye bitundu ebirina okukulaakulanyizibwa okuva awaka okutuukira ddala mu masomero n’amatendekero. Kimanye nti omulengera gulina akakwate n’omwoyo era omulengera ngusuubira okuba nga nagwo mwoyo ogw’obwakalimagezi.

Kino kitegeeza, okugunjula omwana kyetaaga okusiga mu mbeera ze ez’omubiri, oy’omwoyo, n’omulengera oguvaamu obwakalimagezi. Ssinga omukuza oba omuzadde yekubira olubege mu nkuza y’omwana, n’asuulirirako ekimu oba ebibiri kw’ebyo, omwana ono akula alina ky’abulako.

Obuntubulamu, ekitundu ekimu ku bikola obugunjufu, busibuka mu kitundu ky’obulamu eky’omwoyo kyokka obulamu obujjuvu bwetaagisa okukulakulanya byonsatule: omwoyo, omubiri, n’omulengera (asibukamu obwakalimagezi). Okiraba nti ebyetaago by’obulamu, birimuo okukulaakulanya engerekera z’omulengera ez’obwakalimagezi (intelligence instincts of the mind), obulamu obw’omubiri, awamu n’obulamu obw’omwoyo.

Mu nteekateeka y’entabaganya ennambulukufu, ebyetaago eby’omwoyo bikolebwako bitongole bya ddiini, eby’omulengera bikolebwako bitongole bisomesa magezi ga mu mutwe omuli sayansi ne tekinologia ate ebyetaago eby’omubiri ne bikolebwaako yindasitule oba amakolero agakozesa tekinologiya okutondekawo buli kintu ekigonza obulamu bw’omuntu obw’omubiri nga tekinologiya w’ebyokulya (endiisa ennungi), ebyokwambala, ebizimbe omw’okubeera, ebikozesebwa mu malwaliro, eby’entambula, eby’okwerinda, n’ebirara bingi.