Jump to content

Emboozi ya Faaza Clements

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox televisionEmboozi ya faaza clements ye firimu ku ttivvi y’Amerika eyafulumizibwa mu mwaka gwa1987 ng’ekwata ku bulamu bwa Faaza George Clements, omusosodooti Omukatoliki Omufirika-Amerikan eyamanyika olw’okuba Faaza eyasooka mu Amerika okufuna omwana mu mateeka . [1] Firimu eno yazannyibwa bannakatemba nga Lou Gossett, Jr., Malcolm-Jamal Warner, ne Carroll O’Connor . [2] Gossett, Jr. yazannya nga Clements, Warner n’azannya nga mutabani wa Clements gwe yafuna nakuza, ate O’Connor n’azannya nga Kalidinaali John Cody, Ssaabalabirizi w’e Chicago. [2] Firimu eno yalagirwa Edwin Sherin. Score ya firimu Mark Snowyeya giyiiya . [2]

Olw’obutawulira bulungi ng’omulanga gwe ogw’abazirakisa okugula abavubuka abaddugavu abali mu bizibu tegufuna kuddibwamu okuva mu kibiina kyeyali abulira, Faaza mu kibuga Chicago asalawo okwezaala ye kennyini, n’agwa mu mazzi agookya ne bakama be mu Klezia..

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]