Embuyaga (Wind)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kibuyaga –wind.

Kibuyaga y’empewo etambula oba eri mumugendo. Empewo kuba kukulukuta kwa ziggaasi. N’olwekyo empewo eba kakulukuusi wa ggaasi (fluid) si kakulukuusi wa mazzi (liquid). Amazzi ne Ggaasi byombi bikulukuta (flow).

Ku nsi, embuyaga yesinga okuleetawo okutambula (okukulukuta) kw’empewo. Kyokka mu bwengula obuli wabweru w’ensi (outer space), embuyaga y’enjuba(solar wind), yo eva ku kukulukuta oba okutambula kwa ziggaasi oba obulere bwa ziggaasi okuva ku njuba okuyita mu bwengula ate embuyaga ya zikamwaka eva mu kufuuwa butundutundu bwa ggaasi za kemiko okuva mu namikka (planetary atmoshphere) wa kamwaka okudda ku bwengula obuli wabweru wa kamwaka (ezitaliiko nampewo).

Kibuyaga ereetebwawo enjawulo mu kanyigirizi/ kunyigirizibwa (Pressure). Bwe wabaawo enjawulo mu kunyigirizibwa, empewo etebentebwa(accererated) okuva awali okunyigirizibwa okwa waggulu okudda awali okunyigirizibwa okwa wansi.

Okutwalira awamu empewo etambula (kibuyaga, embuyaga/kibungeeta oba kikungunta) ejjawo lwa bbugumu lya njuba eriviirako okubugumya empewo oba ggaasi mu kifo ekimu, ekintu ekikkakkanya okunyigirizibwa kw’empeo oba ggaasi mu kifo kino. Empewo eyokya density eba teyekumye wamu nnyo ng’empewo ennyogoga. Kino kireetawo ensozi n’ebikko by’empewo mu nampewo waffe. Empewo eyekutte ennyo etambula edda ewatali yekutte nnyo. Empewo eno bwetambula(bwekulukuta) tugiyita mbuyaga.

Kino kyeragira mu bifo eby’embalama z’enyanja, ettaka werifuna okubuguma okw’amaanyi emisana. Embuyaga eva ku mayanja eri obunyogovu n’edda ku lukalu awali empewo eyokya. Ate ekiro ettaka linyogoga mangu okusinga ennyanja oba semayanja.

Ate era kikungunta ez’enjawulo ezibuguma mu semayanja era zisobola okuleeta embuyaga nga zireetala empewo waggulu okubuguma. Olumu entambula y’ensi eyegasse n’okunyigiriza okuli wansi mu kifo kino kireetera empewo okwetoloolera(spiral) ku misinde egya waggulu ekiyitibwa kikungunta owa kanzunzu (cyclone) oba omuyaga (hurricane).

Empewo bwefuna okubugumizibwa kye kiviirako ekifo weeri okufuna okunyigirizibwa (akanyigirizi) okwa wansi (low pressure) ate gy’ekoma okunyogoga wajjawo akanyigirizi (okunyigirizibwa) akuli waggulu. Kino kyekireetawo embuyaga olwokuba waliwo enkyukakyuka mu kanyigirizi (okunyigiriza kw’empewo), empewo n’etambula okuva ku kifo ekirimu ennyigiriza eya waggulu okudda ku ya wansi. Bivudde eri Charles Muwanga