Embwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

EMBWA[kyusa | edit source]

Embwa kye kimu ku bisolo ebyasooka okulundibwa omuntu anti ebyafaayo byonna biraga nti ensolo eno bwe yajjanga okulya ku nnyama omuntu gye yabanga asudde oba amagumba, yafuukira ddala mukwano gw'omuntu na buli kati. Embwa ya mugaso ddala anti ekuuma awaka era ye musirikale atasasulwa ate era omwesigwa. Embwa ezaala obubwa obuto wakati w'akamu n'ekkumi. Okuzaala kw'embwa Omuganda akuyita kubwagula.