Emelia Arthur, omuwandiisi w’ebitabo
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Ghana |
| Erinnya eriweereddwa | Emelia |
| Erinnya lya famire | Arthur |
| Yazaalibwa nga | 1 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1966 |
| Gy'azaalwa | Ghana |
| Native language | Twi |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Twi |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | minister of fisheries, mubaka wa palamenti |
| Gyeyasomera | Ghana Institute of Management and Public Administration |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | National Democratic Congress |
| Ediini | Christianity |
Emelia Arthur (yazaalibwa 1 Mukulukusabitungotungo 1966) [1] munnabyabufuzi mu Ghana era mukugu mu by'enkulaakulana.
Emelia Arthur muwi w’amagezi era yaliko omuwabuzi wa Pulezidenti wa Ghana okuva mu 2013 okutuuka mu 2017. Yayambako abaalondebwa Pulezidenti okukwataganya ebigendererwa bye, ebya manifesito saako n'ebigendererwa by'ebitongole eby'enjawulo. [2]
Mu kiseera kino ye Minisita w’ebyobuvubi n’obulunzi bw’ebyennyanja era nga ye mubaka wa Palamenti (MP) akiikirira e kitundu kya Shama . [3]
Munnakibiina kya National Democratic Congress (NDC), yaliko Minisita omubeezi ow’ebitundu by'Ebugwanjuba era nga yakulirako disitulikiti ye Shama. [4] Arthur ayagala nnyo enfuga ey'ekintabuli, okunyweza obwetengereze bw’ebitongole, n’okutumbula abavubuka. Kino kimusobozesezza okutumbula emisomo egikwata ku bukulembeze, enkola ezeekusa ku kikula kyabantu saako enkola ey'ekintabuli ku ddaala ly'ensi yonna. [4]
Ebyafaayo n'obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Emelia Arthur yazaalibwa mu Shama mu bugwanjuba bwa Ghana [5] . Yasomerako mu Yale (2002) [6] era alina diguli eyookubiri mu by’okukakkalabya emirimu. Obuyigirize bwe ssaako n'obukugu bwe bwetoolorera mu kulabirira eby'obugagga obw'ensibo,okukasa nti teri muntu alekeddwa mabega saako enkulaakulana ey'olubeerera. Arthur ng'akozesa obukulembeze bwe, yateeka eddoboozi ddene mu nkyukakyuka zokutereeza eby'obuvubi mu Ghana. [7]
Ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Emelia Arthur eby'obufuzi yabitandikira mu gavumenti ez'ebitundu era yali Ssentebe wa Disitulikiti y’e Shama . [8]
Mu Gatonnya wa 2025, Pulezidenti John Dramani Mahama yalonda Arthur nga Minisita w’ebyobuvubi n’obulunzi bw’ebyennyanja [9] [10] [11] . Oluvannyuma lw'okuyita mu kasengejja era naweebwa wofiisi, yatondawo enkola eyitibwa "Blue Economy Initiative" nga egendereramu okukuuma eby'obugagga ebisangibwa mu nnyanja saako n'ebifo ebikuuma amazzi amayonjo mu Ghana.
Yalondebwa Pulezidenti John Evans Atta Mills okuweereza nga Minisita omubeezi ow’ekitundu ky’amawanga g’obugwanjuba [12], okutuuka ekisanja ekyasooka lwe kyaggwaako mu Gatonnya wa 2013. Oluvannyuma , yaweereza ng’omukozi mu wofiisi ya Pulezidenti era ng'omuwabuzi wa Pulezidenti okuva mu 2013 okutuuka mu 2017, ng’essira aliteeka ku kukwataganya nkola za Gavumenti n’okussa mu nkola manifesito.
Mu kulonda kwa bonna okwa Ntenvu 2024, Emelia Arthur yavuganya ku kifo kya Shama ku tiketi ya National Democratic Congress [13] . Yawangula omubaka eyaliko n'ebitundu 57 ku bululu obwakubibwa okugenda mu Palamenti eyomwenda eya Fourth Republic. [14]
Obulwanirizi n'enkola
[kyusa | kolera mu edit source]Nga Minisita, Emelia Arthur essira alitadde ku bintu ebikulu ebiwerako mu kitongole ky’ebyennyanja ekya Ghana:
- EU "Yellow Card" [15] : Yeeyama okwanguya ennongoosereza okukola ku kweraliikirira kw'omukago gwa Bulaaya ku nvuba emenya amateeka. Muno mwalimu okwekenneenya etteeka ly’ebyobuvubi (Act 625) [16] akakwata ku kunyweza envumbo n’okutumbula obwerufu.
- Okutumbula ebyobulunzi by'ebyennyanja: Arthur yassa essira ku kulunda ebyennyanja ng'engeri endala ey'okuyambako ku byennyanja ebyali bikendede [17], n'atongoza enteekateeka nga "Tilapia ne Catfish Friday" okutumbula okulibwa kwabyo ku butaka era n'okuwagira abalunzi b'ebyennyanja abatandika [18] .
- Obuwangaazi: Awagidde enteekateka y'okukozesa ebyuma bi Kalimagezi eyitibwa "Electronic Monitoring System" okulondoola obutimba n'emmeeri ezivuba ssaako okuteekawo ebitundu ebikuumibwa mu nnyanja okulaba nga eby'ennyanja by'eyongerako. [19] .
Ebijjulizo
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Parliament of Ghana". www.parliament.gh. Retrieved 2026-02-25.
- ↑ "Emelia Arthur – Maurice R. Greenberg World Fellows Program" (in American English). Retrieved 2026-02-25.
- ↑ "Ghana faces 700,000-metric-tonne fish supply gap – Emelia Arthur" (in American English). 2026-02-25. Retrieved 2026-02-25.
- 1 2 "Leadership" (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "PROFILE:Hon. Emelia Arthur" (in British English). Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "Emelia Arthur – Maurice R. Greenberg World Fellows Program" (in American English). Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "Hon. Emelia Arthur: The Woman Revolutionising Ghana's Fisheries Sector - MyJoyOnline". www.myjoyonline.com (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "What We Forgot About Madam Emelia Arthur, Fisheries And Aquaculture Minister". Modern Ghana (in Lungereza). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "Fisheries Minister Emelia Arthur pledges reforms to tackle illegal fishing". Graphic Online (in British English). 2025-01-24. Retrieved 2025-01-30.
- ↑ "Leadership" (in American English). Retrieved 2026-02-21.
- ↑ Extractives, Gh (2025-01-28). "Fisheries and Aquaculture Minister assumes office, outlines bold vision for sector growth". Gh Extractives (in American English). Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "President Mills reshuffles Deputy Ministers". BusinessGhana. Retrieved 2026-02-21.
- ↑ GNA (2024-12-09). "NDC wins 15 seats in Western Region, eight in Western North". Ghana News Agency (in American English). Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "WR Gets 5 Female MPs". DailyGuide Network (in American English). 2024-12-16. Retrieved 2026-03-01.
- ↑ "Ghana's new fisheries minister promises to develop a more transparent sector, lift EU yellow card". www.seafoodsource.com (in Lungereza). Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "Fisheries Act, 2002 (Act No. 625 of 2002)". www.ecolex.org. Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "Ghana Champions Blue Food Security at Sea the Future Summit in Israel" (in British English). 2026-01-15. Retrieved 2026-02-21.
- ↑ "CSIR, Aquaculture launch 'Tilapia and Catfish Friday'". Graphic Online (in British English). 2025-09-01. Retrieved 2026-02-21.
- ↑ admin (2026-01-28). "Feature: Hon. Emelia Arthur: The Woman Revolutionising Ghana's Fisheries Sector". The Ghanaian Chronicle (in British English). Retrieved 2026-02-21.