Jump to content

Emikutule (Fractions)

Bisangiddwa ku Wikipedia
emikutule gya kekyi

Gakuweebwa Muwanga !! Emikutule (Fractions)

Singa oba n’omukyungwa gumu ng’oyagala ogugabane kyenkanye n’omuntu omulala (ow’okubiri) oba olina okugusalamu ebitundu bibiri ebyenkanankana. Wano oba otondeseewo namba ey’ekika ekirala kubanga oba nga adidde namba 1 n’ogigabanyamu namba endala 2 okufuna ekiyitibwa kimukyakubiri (1/2). Kye kimu ekyandiibaddewo singa obadde olina emiyembe mukaaga (6) nga oyagala ogigabanyize kyenkanyi mu ombi basatu (3). Buli omu aba afuna ebitundu mukaaga bya kusatu ekitegeeza mukaaga ebigabizemu ssatu ekiwandiikibwa nga 6/3) buli omu ky’afuna.Ekika kya namba kino kye kiyitibwa omukutule (fraction) oba emikutule (fractions).