Emikwanaganyo n'Emikwataganyo
Omukwanaganyo (mathematical relation) kiva mu kikolwa ky'oluganda "okukwanaganya"(Relating or matching something with another).
Omukwataganyo(mathematical function) kirimu okuba nti buli kintu kikwataganyizibwa n'ekirala kimu kyokka.Omukwataganyo gugerageranye n'obufumbo. Buli mukazi arina okukwatagana n'omusajja omu yekka.
Bwe kitaba ekyo ,ekibeerawo kiyitibwa mukwanaganyo(relation).Mu mukwanaganyo ekintu ekimu kiyinza okukwanagana n'ebisukka mu kimu. Wano tewabaawo kukwatagana wabula okukwanagana.Emiramwa egyetaagisa mu kibalo ky'emikwanaganyo n'emikwataganyo girimu: (a) Omukwanaganyo(mathematical relation) (b)Omukwataganyo(mathematical function) (c) Ekikwanaganya(mapping diagram) (d)Omuyingizo n'Omufulumyo(input and output) ogw'ekikwanaganya (e)Ekikwataganya(Coordinate graph) (f) Endaga y'omukwataganyo (Function notation)
Linda ebinaddako wano !
Manya :Bino bigambo ebivudde eri Muwanga Charles