Emiramwa omusomesa gye yetaaga okuwa ebiragiro eby'ekibalangulo mu Luganda(the basic concepts a teacher needs to give mathematical instructions in Luganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with permission from Charles Muwanga . Ekibalangulo “sessomo” eriwagala obwongo erisengeka ebirowoozo nga lyogeza obubonero n'ebigambo. Essomo lino n’olwekyo liyamba okukulaakulanya “EkkyO”(IQ) y’omuntu. Ekibalangulo mu bumpi kiwandiikibwa “ekibalo”(maths) oba "okubala". Gino gye gimu ku miramwa omusomesa gye yetaaga okuwa ebiragiro eby'ekibalangulo(mathematical instructions) egyetaagisa mu sessomo lino:


a) Ekibalangulo (mathematics)

b) Ekibalo oba Okubala (maths)

c) Namba =linnya (number)

d) Nambiso =kabonero (numeral)

e) Ekikunizo (mathematical problem/question)

f) Omweyoleko (mathematical expression)

g) Okusonjola (to simplify)

h) Okubalangula (to calculate)

i) okubalanguza (to solve)

j) Okubaza (to solve or to calculate)

k) Ekibazo (solution to a mathematical problem)

l) Ekibalanguzo (formula)

m) Omubalanguzo (mathematical operation)


Omusomesa nga talina miramwa egyo tasobola kusomesa kubala mu Luganda !