Jump to content

Emisimba

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Emisimba(Number Bases))

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Laba Wikipidia "Emisingi gya Namba" !

Emisimba =Emisingi gya Namba (Number bases)

Namba zirina ensengeka mwe zisimbira(in which they are rooted).Ensengeka zino ze ziyitibwa “emisimba” .Omusimba kiggwayo:”omusingi gwa namba”. Emisimba (Emisingi gya namba) egya bulijjo girina amannya ag’enjawulo kyokka emisingi gya namba egisinga okukozesebwa mulimu:


(a)Omusingi gwa namba ogwa kumi(number base ten) .Guno gukozesebwa ennyo abantu mu bulamu obwa bulijjo


(b)Omusingi gwa namba ogwa bbiri (number base two),


(c)Omusingi ogwa kumi n’omukaaga (hexadecimal) n’omunakkumi.


Omunabbiri n’omusingi ogwa kumi n’omukaaga gisinga kweyambisibwa mu sayansi wa kompyuta.


Omusingi gwa namba (omusimba) eba “nsengekera ya namba” (number system) esimbira mu digito ez’enjawulo. Weetegereze:


 Emisingi gya namba=Omusimba(number bases)


 Omusingi gwa namba ogwa bbiri=Omusimba ogwa bbiri(number base two)


 Omusingi gwa namba ogwa Satu=Omusimba ogwa Satu (base three)


 Omusingi gwa namba ogwa nnya=Omusimba ogwa nnya (base four)


 Omusingi gwa namba ogwa taano=Omusimba ogwa ttaano(base five)


 Omusingi gwa ogwa mukaaga=Omusimba ogwa mukaaga (base six)


 Omusingi gwa namba ogwa musanvu=Omusimba ogwa Musanvu(base seven)


 Omusingi gwa namba ogwa munaana=Omusimba ogwa munaana(base eight)


 Omusingi gwa namba ogwa mwenda=Omusmba ogwa mwenda(base nine)


 Omusingi gwa namba ogwa kkumi=omusimba ogwa kumi(base ten)


Weetegereze :


(i) Omusingi gwa namba ogwa bbiri gusimbira mu digito bbiri (0 ne 1), 


(ii) omusingi gwa namba ogwa satu gusimbra mu digito satu (0,1, ne 2),


(iii) omusingi gwa namba ogwa nnya gusimbira mu digito nnya (0,1,2 ne 3) ate


(iv) omusingi gwa namba ogwa kumi gusimbira mu digito kumi (0.1.2.3.4.5.6.7.8. ne 9).


Okiraba nti mu bufunze “omusungi gwa namba” gwe “omusimba” .