Emitendera gy'enkula n'enkulaakulana y'omwana(the stages of child growth and development)

Emitendera gy'Enkula n'Enkulaakulana y'omwana(the stages of child growth and development) okusinziizra ku Charles Muwanga.N'awe kolamu ennongoosereza okusobola okutereeza omuko guno obulungi.
Omwana oluzaalibwa akula ng’ayita mu mitendera. Obwakalimagezi oba Ekipomo ky’Obwakalimagezi obw’Omwana (EkkyO) kikulakulanyizibwa mu mitendera era n’okumuyigiriza kwonna kulina okugondera emitendera gino:
(i) Omutendera ogw'obuwere
(ii) Omutendera gw’ebbujjenyi
(iii) Omutendera gw’ebujjeze
(iv) Omutendera Omutoola
(v) Omutendera Omutooto
Okukulaakulanya obwakalimagezi mu mwana kitandika na kumukuza bulungi ng’alagiibwa, okufiibwako n’endabirira ennungi. EkkyO (IQ) y’omwana etandika okukulaakulanyizibwa nga omuzadde oba omukuza amusigamu obwesigwa, okufiibwako n’omukwano, okumulaga ekirungi n’ekibi, n’okumuteeka mu mbeera ey’okwekebejja n’okwebuuza ku butonde ate era n’oddamu ebibuuzo by’aba akubuuza. Omutendera “Omuwere”
Omutendera omuwere era gwe guyitibwa ogw’ebbujjemu (=ebbujje ery’omutendera namba emu) oba ebbujjenyi ekitegeeza ‘ebbujje eggenyi ku Nsi. Abantu abasinga bwe twogera ku mwana omuwere tebamanyi biseera ki by’alina okuyitibwa omuwere. Okuva omwana lw’azaalibwa okutuuka ku myezi 3 (myezi esatu) aba ayitibwa muwere.
Omutendera guno guba gwa kunoonya “bwesigwa” eri abantu oba omuntu ali n’omwana omuwere. Singa omuzadde alema okulaga obwesigwa eri omwana we omuwere, omwana ayinze okukula n’aba nga tasobola kukola kukolagana na Bantu balala, yetya era mu kwetya n’aba nga n’okubaako ky’ateekako ebirowoozo mu ngeri ey’okuvumbula ekipya.
Okusiga okwesigwa wakati w’omwana n’omuzadde we kitandika amangu ddala nga ya kazaalibwa okuyita mu mwaka ogusooka ng’azaaliddwa.
Okusiga empisa ey’obwesigwa mu mwana “omuwere” kibeerawo okuyita mu kumunywegera, okumwogerera ebigambo ebiseeneekerevu wakati mu mukwano, okumusekeramu oba okumumwenyeza, okumuyimbira obuyimba obuseenekerevu, n’okumubudabuda, omuli okumufaako nga waliwo ekimukyankalanyizza nga okumuyonsa oba okumuwa amata nga enjala mu biseera ebigere, okumunaazako olubugumubugumu, okumukyusa engoye mu biseera ebigere oba amangu nga yeyonoonye n’okumuwa obujjanjabi mu obwetaagisa mu bwangu ng’alwadde.
Abaana baba n’engerekera y’okujjukira (instinct of memory) engeri gye baayisibwa nga bakyali bawere n’omukwano oba obutafiibwako obwaliwo mu buto bwabwe. Omwana bw’ayisbwa obubi nga muto kiyinza okweyorekera mu buyisayisa obubi n’embeera enkyankalamu ng’akuze n’afuuka ekyambika eri abazadde n’entabaganyabantu mw’ali yonna kuba aba muzibi okukkakanya ebirowoozo olw’embeera embi gye yayitamu nga muto.
Omutendera ogwa “Ebbujjebi” (Ebujje ery’omutendera ogw’okubiri).
Omuto ebbujjebi, ekitegeeza omwana oba ebbujje erisuumuse okuva mu buwere oluvannyuma lw’okuweza emyezi esatu. Omwana ebbujjebi atandikira ku myaka 2 okutuuka ku myaka 4 era wano omuto ayigira ku bazadde be empisa ez’enju mwali n’empisa ez’entabaganyo, n’obusobozi okukulakulanya okwekenneenya n’okwefumiitiriza omwana bw’azaalibwa nabwo nga omuntu awamu n’okuyiga ebigambo eby’emiramwa.
Nga bwe kiri nga omwana muwere, omwana ebbujjenyi era yetaaga okufiibwako n’omukwano ebimuweebwa abazadde oba abakuza ng’akyali muwere kye kisiga embeera ey’obwesigwa n’okwagala mu bulamu bwe kyokka kino tekiva ku bazadde bokka wabula n’abantu abalala nga ab’emikwano, ob’oluganda abalala nga bajjajja, bakkojja, bassenga bakizibwe, baliranwa, aboluganda abako n’abemikwano.
Mu mutendera gw’ebbujjebi omuzadde ayanguyirwa okusomesa omwana ebikolwa nga okuwuliriza n’okugondera abakulu awatali nnyo buzibu. Ekintu omwana ky’asooka okuyiga wano y’enjawulo wakati w’ekibi n’ekirungi. Ebbujjebi liyinza okuyigirizibwa aba okukulakulana mu bwakalimagezi obusooka okuyita mu kumukungiriza ng’akoze oba ayogedde ekintu eky’amagezi oba ng’ayize ekintu ekipya n’okumutiisa okuitonotono awatali kumuboggolera. Eky’okulabirako ebbujjebi bwe liba lizannyira ku swiki y’amasanyalaze oba nga likwata ku kintu ekyokya, oyinza okulilitisaamu katono olw’olumu nti: muliro yokya oba masannyalaze yokya!” mu lulimi olw’ekito. Wano oba ayiga nti ebikolewa ebimu bibi oba bya bulabe kyokka bw’akola ekirungi mukungirize nga omwebaza omuzzemu amanyi okukola ebirungi.
Omutendera ogwa “Ebbuggezi” (ebbujje eggezigezi).
Ku myaka 3 okutuuka ku 5, omuto aba yetoolatoola nga ayagala okukwata ku kino na kiri, ng’alaga obwakalimagezi obw’omuntu anoonya okumanya. Wano era olina okulaba engeri gy’osigamu obwakalimagezi obw’okunoonyereza nga omulabula obutakwata ku bintu ebiyinza okuba eby’akabenje nga obutwa, amasannyalazem, omuliro omuli n’okumulaga ekibi nga omukangavvula oba ka tugambe ng’omuboggoleramu ekisaanidde olw’olumu naye bw’akola ekirungi nga okukubuuza ku ebibuuzo ku butonde oba okuyimba akayimba mukungirize nga omulaga nti kirungi okubuuza okusobola okutuuka ku kumanya ob anti ayimbye bulungi.
Omwana ono ajja kutandika okwewala ekyo ekimugaaniddwa kuba aba afunye okumanya nti kibi oba nga yewala kubonerezebwa ate atandika okukola ebirungi oluusi okufuna okusiimibwa n’okukungirizibwa okuva eri omuntu omukulu oba omuzaddewe. Kyokka kiba kirungi okumubuulira obubi bw’ekyo ky’oba omugaanyi so si ku kimugaana bugaanyi nga tomuwadde nsonga.
Bw’oba osize ensigo ey’obwesigwa mu mwana nga bbujjenyi, olw’okuba aba akwesiga era nga taba mu kutya ng’akulabyeko, atandika okukubuuza kino na kiri kuba engerekera y’obuntu (human instinct) emusikiriza okunoonya okumanya. Naye singa omukyunya n’okumuboggolera buli kasobi k’akola aba akutya ng’akulabyeko era ne kyeyandiyagadde okukubuuza akyesonyiwa mu buto bwe, kinp ne kizza emabega EkkyO ye eba etandise okukulaakulana.
Abato mu mutendera gw’ebbuggezi yadde betoola baba bakyataaga okubalaga ekibi n’ekilungi basobole okukulakulanya obusobozi bwabwe okwawula ekibi ku kirungi, kibayambe okukola okusalawo okutuufu ku lwabwe mu biseera ebyo mu maaso n’ebiriwo. Wano tandika okukozesa obugero n’emizannyo okubatunuza mu mpisa ey’okukozesa obwongo. Eky’okulabirako, obugero lwa “wakayiima omugezi” oba obukunizo obw’enjawulo. Edda abazadde mu maka amaganda nga batuuza abaana akawungeezi ne babanyumiza engero, ebisoko, n’ebikwate awamu n’okubayimbiramu obuyimba obuyigiriza naye kati kino abazadde abasinga tebakyakikola. Omutendera “Omutoola” (yetoolatoola).
Guno gwe mutendera ogumuyingiza mu myaka 6. Omwana Omutoola aba yetoolatoola nnyo okusinga ebbuggezi ekyongera okwoleka enkulaakulana ye mu magezi. Guno “mutendera gw’okwetoolatoola”, si lwa kuba alina eddali ng’abazadde abamu bwe bagamba nyaye lwa kuba aba n’obwagazi obwa maanyi okumanya ku buli ky’alabako. Okwetoolatoola kirimu okwagala okukwata ku kino na kiri mu ngeri ey’okwagala okuyiga oba okunoonyereza. Okwetoola oba okwetoolatoola kuyinza n’okubaamu okwonoona ebintu eby’omugaso n’okukwata ku by’obulabe nga eby’obutwa, ebissi, n’olwekyo ebintu ng’ebyo bisibire wala ate omwana omuwe eby’okuzannyisa ebiyigiriza ebiwera okusobola okukulakulanya engerekera y’obuntu ey’okunoonyereza.
Abazadde abamu baboggolera abaana abetoola oba abetoolatoola nga babayita baddalu oba nti balimu embazuuulu, ekintu ekinafuya n’okukonzibya engerekera y’abaana baffe okunoonyereza n’okweyunira enkola eya sayansi (the scientific method) okuva nga bato. Abazadde oba abantu abakulu bangi omwana w’abaako ky’amubuuza, balowooza abamalira biseera oluusi ne bamuboggolera mu kifo ky’okubaako kye bamuddamu. Kino kye kimu ku bikonzibya obwakalimagezi mu baana aba afirika ne bakula nga sibakujjukujju ate nga beetya oba batya okubuuza kye batamanyi oba kye batategedde ne bwe baba batandise okusoma n’okutendekebwa.
Omutendera “omusumuufu”
Omwana mutwale ku somero naye awaka gezaako okugenda mu maaso okumuyigiriza ebikwata ku bipimo mu bulamu obwa bulijjo. Wano abaana bagenda mu maaso okuyiga ebipimo omuli obuwanvu, obuzito, ebiseera, volima, n’enkula. Era genda mu maaso mu okumuyigiriza okubala namba omuli n’okubusaaamu oba nga bubuuka namba awamu n’okukubisa n’ogugabiza mu namba era bagenda mu maaso okuyiga okubala okutuuka ku 1000 awamu ne namba z’ekirooma.
Wano omwana era oyinza okumwanjulira emikutule n’emitonnyeze. Abaana wano baba n’obusobozi okuwandiika ebikutule by’ebitundu ebisiige. Wano era omwan oyinza okumwanjulira n’okugaziya okumanya kwe ku sente, kalenda, okusoma essaawa. Abaana bayiga engeri y’okubalamu sente ng’abagula ebintu ebitonotono nga oli nabo.
Ku myaka 8 ne 9
Ku myaka 8-9 abaana bayiga okusoma n’okuwandiika namba eza digito ettaano era bayiga omuwendo gw’ekifo kya buli digito. Fakikya z’okugatta n’okwawuza kwa namba okutuuka ku 25 awamu n’emirundi n’okugabiza okutuuka ku 144 omwana aba abinnyonnyoka bulungi.
Asobola okuyiga okugatta n’okugabiza okutuuka ku digito musanvu.Wano beyongera okuyiga ku biseera era omwana aba asobola okusoma ebiseera okutuuka ku ddakiika.
Enkula ez’emipimo oba ziyite enkula ez’ekibalo (mathematical shapes) nazo era zongera okwanjulirwa omwana ku myaka jino awamu n’ekibalo ky’okuzuula perimita, obugazi ne volima.
Okukubisa okutuuka ku digito satu oba nnya kumusomesebwa wano era n’asomesebwa okugabiza ogw’engabiso eya digito emu. Wano era yeyongerayo okuyiga “namunigina z’ebipimo” (units of measurement).
Emyaka 10 ne 11
Omwana w’awereza emyaka 10 aba asobola bulungi okugatta, okwawuza, okukubisa mu namba n’okugabiza namba enzijuvu okutuuka ku digito mukaaga oba musanvu. Wano kati okulambulula namba (factoring numbers), emifunzo (exponents) ne yintegya (kibalira mpuyibbiri) bimwanjulira .Abaana bano era banjulirwa emikutule egyenkanankana (equivalent fractions) n’okubaza emikutule egy’omugattiko (mixed fractions) awamu n’okubaza emikutule mu buli ngeri. Era banjulirwa okubaza emitonnyeze n’okukyusa okuva mu mutonnyeze okuzz mu mukutule.
Wano era emigerageranyo (ratios), ebigerageranyo (rates) n’emigerageranyo egy’ekikumi (%) bimwanjulirwa era n’enkozesa ya ggulaafu ne kyati ne bimwajulirwa.
Okumuteekateeka mu ssomo lya aligebbula mu siniya, omwana ateekebwateekebwa okubaza namba mu buli ngeri n’okubaza ebikunizo by’embeera mu bulamu obwa bulijjo.
Amaanyi gongerebwa mu kugatta, okwawuza, okukubisa, n’okugabiza mu yintegya, emitonnyeze, emikutule, n’emigerageranyo gy’ekikumi (ekikumik). Wano era emirandira gya kyebiriga, namba eziterambulula, n’emiwendo egy’enkomereddde gisomesebwa. Wano enziringanya y’emibalanguzo eyongera okunnyikizibwa.
Okwo kwonna kuba kuyamba mwana wo kukulaakulanya bwa kalimagezi bwe mu mitendera egy’enjawulo.