Jump to content

Emmanuel Bwayo Wakhweya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Emmanuel Bwayo Wakhweya (yazaalibwa nga 25 Ogwekkumineebiri 1936 – 11 Ogwekkuminoogumu 2001) yali Munnayuganda nga munnabyabufuzi era omukugu mu by'enfuna. Yali Minisita w'ebyensimbi mu Uganda ku mulembe gwa Idi Amin okuva mu 1971 okutuusa lwe yava mu ntebe ey'amaanyi okugenda e London mu 1975.[1][2]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Emmanuel Bwayo Wakhweya yazaalibwa ku kyalo Butiru mu Disitulikiti y’e Mbale mu Uganda nga 25 Ogwekkumineebiri 1936. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (January 2024)">citation needed</span> ] Wakhweya yali wa ggwanga lya Bugisu.[3]

Wakhweya okusoma yakutandikira ku Bunyinza Primary School, gye yava mu 1949.[4] Oluvannyuma yasomera ku St. Peter’s College e Tororo, Uganda, essomero ly’ekisulo eky'abalenzi bokka, Wakhweya gye yamalira emisomo mu 1956.[4] Wakhweya yafuna diguli ya bachelor’s okuva mu Delhi University e New Delhi, India mu 1960. Yakomawo awaka okufumbirwa mukwano gwe gwe yasoma naye mu siniya, Christine Namataka mu 1961.

Oluvannyuma lw’okumaliriza diguli ye eya Bachelor's ey'ekitiibwa ku New Delhi University mu Buyindi, Wakhweya yaddayo eka n’afuuka omu ku bakulira disitulikiti mu Uganda abaasooka nga 5 Ogwomwenda 1960 mu kiseera ky’obufuzi bw’amatwale ga Bungereza.[5] Uganda bwe yafuna obwetwaze okuva ku Bungereza, Wakhweya yafuuka omuyambi w'omuwandiisi w'eggwanika mu gavumenti ya Milton Obote.[5] Kino kyatandika okulinnya amangu mu mirimu gya Wakhweya mu ggwanika lya Uganda. Yakuzibwa n’afuulibwa omuwandiisi omubeezi mu ggwanika nga 4 Ogwekkuminoogumu 1965, omumyuka wa Gavana eyalondebwa mu Bbanka ya Uganda mu 1968, era n’alondebwa ku bwa Minisita bw’eggwanika nga 1 Ogwoluberyeberye 1969.[4] Oluvanyuma lw’okuwamba gavumenti mu bukambwe mu 1971 okwakulemberwa Idi Amin, Wakhweya, nga n’abawandiisi ab’enkalakkalira bonna bwe baali mu ekiseera ekyo, yalondebwa Idi Amin nga Minisita w’ebyensimb mu nfuga eyali yakatondebwawo, Wakhweya gye yaweebwa omulimu gw’okutebenkeza ebyenfuna bya Uganda, ebyali bigenda byonoonebwa amangu olw’ensaasaanya ya gavumenti ennyingi, okugaana okuweebwa ensimbi okuva mu mawanga amalala oluvannyuma lw’okuwamba gavumenti, n’obutaba na bamusigansimbi okuva ebweru w’eggwanga.

Okuva mu ggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu kukyala kwe yalina e London, Great Britain, ku ntandikwa y'Ogwoluberyeberye 1975, Wakhweya yalangirira okulekulira kwe era n’ava mu kabineti ya Idi Amin nga 20 Ogwoluberyeberye 1975.[6] Wakhweya yavumirira Idi Amin era n’alaga nti akavuyo akaali mu gavumenti ya Idi Amin nti kaakosa nnyo eby’enfuna [6] n’obutaba na busobozi bwonna kusikira bwa minisita w’ebyensimbi mu Gavumenti ya Idi Amin ey'omuntu omu.[7] Baamufuna ng'agamba nti "Kiba ggeyeena okubeera mu Uganda. Siyinza kulowooza ngeri bantu ba bulijjo gye bakyasobola okugenda mu maaso olw'ebbula ly'ebintu ebyangu ebikulu mu bulamu n'ebbeeyi y'ebintu okulinnya. Uganda eyolekedde akatyabaga k'ebyenfuna. Oba amaanyi g'ebyenfuna mu nsi ezaamanyi gajja kuwaliriza Amin okukyusa enkola ze oba wajja kubaawo obwegugungo mu ggwanga olw'obutali bumativu bw'abantu."[8] Oluvannyuma Wakhweya yasindika obubaka eri Idi Amin ku nkomerero ya wiiki ng’alangirira mu butongole okulekulira n’okuwang’anguka okuva mu Uganda.[8] Mu kiseera we yaviira mu ntebe, Wakhweya ye yali minisita wa kabineti asinga okumala ebbanga mu gavumenti ya Idi Amin era ye yasembayo okusigalawo mu kabineti ya Amin eyasooka.[7]

Olwava mu Uganda ne gavumenti ya Idi Amin, Wakhweya n'ebyo bye yayogera ku butabeera butebenkevu mu by'enfuna bya Uganda, Gavumenti ya Uganda yabyegaana. Radio Uganda yagenda ku mpewo ng'elangirira okuwanganguka kwa Wakhweya ng'etegeeza nti, "Eby'enfuna bya Uganda birungi nnyo okusinga eby'amawanga amalala mangi. Okugenda kw'e London tekugenda kumuyamba n'akatono kubanga e Bungereza nayo waliyo akatyabaga ke by'enfuna". Nga 23 Ogwoluberyeberye 1975, nga wayise ennaku ssatu bukya Wakhweya addukira e London, Idi Amin yagamba nti agenda kukyala mu Bungereza okuyamba abantu b’e Wales, Scotland, ne Northern Ireland okufuna obwetwaze, wadde ng'okufaananako n’okutiisatiisa kwe okwetaba mu lukiiko lw’abakulira Gavumenti ya Commonwealth mu 1973 e Ottawa, Canada oba okwetaba mu Mbaga y’Omumbejja Anne ne Mark Phillips, okutiisatiisa kuno temwavaamu kalungi.[9]

Wakhweya yasikizibwa Moses Ali ku bwaminisita bw'ebyensimbi. Okusinziira ku Amnesty International, ab’enganda za Wakhweya abaai bakyali mu Uganda baasibibwa, batulugunyizibwa, era ne battibwa oluvannyuma lw’okudduka n’okuva muggwanga, mu ngeri efaananako n’okutulugunya n’okuttibwa kw’abooluganda lwa Joshua Wanume Kibedi oluvannyuma lw’okuva mu ggwanga n’okuvumirira Idi Amin omwaka ogwali gwakaggwa.[10]

Emirimu gye oluvannyuma lw'okuwanganguka

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’okuwangangukira e London, Wakhweya yasenguka n’agenda e Washington DC, gye yatandikira obulamu mu buwanganguse mu Amerika.[4] Emirimu gye mu Amerika yagitandikira mu Bbanka y’Ensi Yonna era ng’abeera mu kibuga Vienna ekya Virginia. Yaweereza ng'omukugu mu by’enfuna mu Bbanka y’ensi yonna okuva mu 1975 okutuuka mu 1977 era nga y'akulira eby’okuwola ensimbi mu Sudan okuva mu 1977 okutuuka mu 1978.[4] Oluvannyuma lw’okukola emirimu gye mu Bbanka y’ensi yonna, Wakhweya yalondebwa okubeera omukungu omukulu mu by’enfuna mu kakiiko k’amawanga amagatte akavunaanyizibwa ku by’enfuna mu Afrika mu 1975 n’agenda e Addis Ababa, Ethiopia, nga tannatuuka nokudda mu Uganda mu 1979, gye yakolera mu mirimu gya gavumenti egy’enjawulo okutuusa lwe yawummula emirimu gya gavumenti.[11]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakhweya yawasa Christine Namataka nga 11 Ogwokusatu 1961. Baazaala omwana omu omuwala Dr. Angela Maria Wakhweya n’abaana mukaaga ab’obulenzi okuli Anthony, Richard, Stephen, Andrew, David ne Emmanuel Junior.[4] Wakhweya yali Mukatoliki obulamu bwe bwonna ne mukyala we. Wakhweya era yali muzannyi wa mizannyo omunyiikivu, ng’azannya omupiira ne ttena mu bulamu bwe obwoluvannyuma.[5]

Wakhweya yafiira ku myaka 64 nga 11 Ogwekkuminoogumu 2001. Yafuna ekirwadde kya ssukaali ekimunafuya ekyamuletera okusannyalala era nga tasobola kwogera ku ntandikwa ya 2001. Okukkakkana ng’omutima gusirise, mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala mu Kampala, Uganda. Wakhweya yaziikibwa mu Bunyinza Parish ku kyalo kye Butiru mu Disitulikiti y’e Mbale, Uganda.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Uganda's finance ministers since independence".
  2. ↑ "Uganda Minister Named". The New York Times. 21 July 1976. Archived from the original on 3 December 2018. Retrieved 14 October 2018.
  3. ↑ "Uganda Cabinets Since Independence". Ugandans at Heart. 5 September 2009. Archived from the original on 12 March 2011. Retrieved 22 October 2018.
  4. 1 2 3 4 5 6 "Africa Who's Who". Africa Who's Who (in Lungereza). 1981. ISSN 0261-1570. OCLC 231044235. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":110" defined multiple times with different content.
  5. 1 2 3 Dickie, John; Rake, Alan (1973). Who's who in Africa; the political, military and business leaders of Africa. London: African Development. ISBN 978-0-9502755-0-5. OCLC 815829. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":24" defined multiple times with different content.
  6. 1 2 "Uganda's Fourth Year Under Idi Amin Filled With Fear". Jet Magazinge. 13 February 1975. Archived from the original on 24 March 2020. Retrieved 3 December 2018.
  7. 1 2 African Policy Information Center of the African-American Institute (1975). "African Update: Monitoring economic and political developments around the Continent". Africa Report. 20: 19. Template:ProQuest. {{cite journal}}: |last= has generic name (help)
  8. 1 2 "Economy of Uganda 'is near collapse'". Rand Daily Mail. 21 January 1975. Retrieved 23 October 2018.
  9. ↑ "I'm on the way to the UK, Amin tells the Queen". Rand Daily Mail. 24 January 1975. Retrieved 24 October 2018.
  10. ↑ Amnesty International Report (26 September 1979). "The Death Penalty" (PDF). Amnesty International Report.
  11. ↑ Walker, Patrick (2009). Towards Independence in Africa: a District Officer in Uganda at the End of Empire (in Lungereza). London: I. B. Tauris & Co. ISBN 978-0-85771-744-3.