Emmanuel Karooro
Pulofeesa Emmanuel Karooro (yazaalibwa mu 1945) munnayuganda munnabyanjigiriza mu Uganda, omuddukanya eby’ensoma n’ebyenjigiriza, aweereza ng’omumyuka wa ccansala wa yunivasite y'e Ibanda , ettendekero ery'obwannannyini erisomeseza awamu n'amatendekero amalala aga waggulu mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. [1]
Obuvo bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu kyalo Katungu, ggombolola y'e Bumbaire, mu disitulikiti y'e Bushenyi, awo nga mu mwaka gwa 1945. [2]
Karooro yasooka kusomera ku ssomero lya pulayimale erya Kashenyi Primary School, n’akyusa n’agenda mu Kyamuhunga Primary School ku misomo gye egy'omutendera gwa wansi , n’amaliriza pulayimale ey'omukaaga mu 1957. Ku misomo gye egy'omutendera ogwa wakati, yasomera mu somereo lya siniya erya Mbarara Junior Secondary School (leero eriyitibwa Mbarara High School ). E Mbarara, yali mu kibiina kyekimu ne Yoweri Museveni, pulezidenti wa Uganda okuva mu 1986, era n’omugenzi Eriya Kategaya (4 Omwezi ogwomusanvu 1945 – 2 Omwezi ogwokusatu 2013) eyali omumyuka wa Ssaabaminisita asooka era Minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa mu Uganda. [2] [3] Yakyuka n'agenda mu ssomero lya siniya erya Fardez Secondary School, essomero ery’obwannannyini mu Mbarara, naye n'avaayo oluvannyuma lw'okumaliriza siniya eyokusatu (S.3.) [2]
Kyambogo National Teachers’ CollegeYafuuka omusomesa aweereddwa olukusa ku ssomero lya St. John Fisher School, mu Ibanda. Olwo yava ku by'okusomesa naakola nga kkalaani wa kkooti ku Courthouse mu Munisipaali y'e Bushenyi, okumala emyaka emitono. Oluvannyumma ,mu 1969, yeegatta ku ku ssomero lya sinioya erya Ntare School, okumaliriza siniya eyokuna (S.4), ng'omuyizi eyeewerera. Ng'amaliriza siniya eyokuna (S4) , yeegatta ku ttendekero ly'e Kyambaogo ery'eggwanga ery'abasomesa li Kyambogo National Teachers’ College (nga leero Kyambogo University), gye yatikkirwa ne dipulooma mu busomesa bwa siniya , in 1972.[2]
Mu 1977, yaddayo e Ntare neyeewandiia okusoma omutendera gwa siniya eyokutaano n'eyomukaaga (A-Level) .Oluvannyuma lw’ekyo, yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere, gye yasomera obusomesa, n’atikkirwa ne ddiguli esooka mu busomesa mu 1981. Oluvannyuma, mu 1986, yaweebwa ddiguli eyokubiri ey'obusomesa okuva mu yunivasite yemu. Era oluvannyuma, mu 2004, Yunivasite y’e Makerere yamuwa ddiguli eyokusatu mu nzirukanya y'ebyenjigiriza (PhD-Doctor of Philosophy in Education) . [2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Ebbanga lye eggwanvu ly’amaze mu kisaawe kya Uganda eky’ebyenjigiriza mulimu obuweereza ng’omumyuka w'akulira ettendekero ly’eggwanga ery'abasomesa erya Kabale National Teachers’ College, era ng'omukulu w’ettendekero ly’eggwanga ery'abasomesa erya Kakoba National Teachers’ College (nga leero ye Bishop Stuart University). N'era yaweerezaako ng'omumyuka wa ccansala wa yunivasite ya,Kampala International Universityettabi ery'ebugwanjuba . [2] Mu 2013, yeeyali omukulu ku ttendekero lya Ankole Western Institute of Science and Technology, (AWIST), bweryali terinafuulibwa yunivasite ya Ankole Western University (AWU). [4] Emabegako, mu 2004, Karooro yaweerezaako ng'omubeezi w'omumyuka wa ccansala wa yunivasite ya Bishop Stuart University . [5]
Mu mboozi ey’akafubo n’olupapula lw’amawulire olwa Uganda, The Observer ( Uganda ) Dr. Karooro yasinga kwenyumiriza mu bituukiddwaako bisatu, Omwezi ogusooka 2011 wegwatuukira: (a) okutondawo ennaambika bisomwa (Syllabus )ya dipulooma mu by'enjigiriza oba mu busomesa bwa pulayimale , (b) okukyusa ettendekero ly'abasomesa erya Kakoba okufuuka yunivasite ya Bishop Stuart University, olugendo lweyeyigiramu ennyo (c) n'okutondawo ennaambika bisomwa (syllabus) ya dipulooma mu luswayiri . [2]
Mu Mwezi ogwomunaana 2017, Pulofeesa Emmanuel Karooro yalondebwa okuba omumyuka wa ccansala wa yunivasite y’e Ibanda. [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Katwine, Anna (6 July 2017). "Background of Ibanda University". LinkedIn. Retrieved 15 October 2017.
- Muhwezi, Wilber (9 January 2011). "Dr Karooro wants education system changed". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 16 October 2017. Retrieved 16 October 2017.
- Moses Walubiri, and Anne Mugisa (4 March 2013). "Uganda mourns Eriya Kategaya". New Vision. Kampala. Retrieved 16 October 2017.
- Alfred Tumushabe, and Zadock Amanyisa (8 January 2015). "West Ankole Diocese at a crossroads over location of university project". Daily Monitor Mobile. Kampala. Archived from the original on 16 October 2017. Retrieved 16 October 2017.
- Muhanga, Kyomuhendo (10 May 2004). "Bishop quells Mbarara student strike". New Vision. Kampala. Retrieved 16 October 2017.
- Karenzi, Elly (5 October 2017). "Prof Baryamureeba appointed Ibanda University chancellor". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 16 October 2017.
- ↑ Katwine, Anna (6 July 2017). "Background of Ibanda University". LinkedIn. Retrieved 15 October 2017.
- 1 2 3 4 5 6 7 Muhwezi, Wilber (9 January 2011). "Dr Karooro wants education system changed". Archived from the original on 16 October 2017. Retrieved 16 October 2017.
- ↑ Moses Walubiri, and Anne Mugisa (4 March 2013). "Uganda mourns Eriya Kategaya". Retrieved 16 October 2017.
- ↑ Alfred Tumushabe, and Zadock Amanyisa (8 January 2015). "West Ankole Diocese at a crossroads over location of university project". Archived from the original on 16 October 2017. Retrieved 16 October 2017.
- ↑ Muhanga, Kyomuhendo (10 May 2004). "Bishop quells Mbarara student strike". Retrieved 16 October 2017.
- ↑ Karenzi, Elly (5 October 2017). "Prof Baryamureeba appointed Ibanda University chancellor". Retrieved 16 October 2017.