Emmanuel Lumu
Emmanuel Bijjugo Sajjalyabene Lumu (Omwezi ogwokubiri 1916 – 11 Omwezi ogwekumi n'ebiri 2019) yali munnayuganda omusawo era munnabyabufuzi .
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Emmanuel Bijjugo Sajjalyabene Lumu yazaalibwa mu Mwezi gwakubiri 1916 mu Komamboga mu Uganda. Yeeyali omwana ow'omukaaga ku baana ekkumi aba Mikaili Sajjalyabene ne Hannah Nalwoga. Oluvannyuma lw’okufuna okusoma kwe okw'omutendera ogusooka , Lumu yeewandiisa mu King’s College, Budo mu 1933. Mu 1938, yeewandiisa mu yunivasite ya Makerere . Wadde yayagala kusoma bwa yinginiya, Lumu yateekebwa mu bbanguliro ly'abasawo. Mu nkukutu yagendanga mu bibiina by'obwa yinginiya bweyali tannakwatibwa abaddukanya emirimu. Ng'atikkiddwa mu 1945 ne ddiguli mu busawo, yaweereza emyaka ebiri ng’omuyizi atendekebwa bweyali tannaweebwa mulimu ku ddwaliro ly'Arua ng'omusawo omuyambi. Yazzaako okukolera ku ddwaaliro e Gulu n’oluvannyuma mu ddwaaliro ly'e Mulago mu Kampala.
Omulimu gw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Lumu yaweereza ng'omubaka ku lukiiko lwa 1961 olwa ssemateeka wa Uganda . Yalondebwa okugenda mu paalamenti ya Uganda mu 1962 mu kifo ekikiikirira Kyadondo. Ng'ebula mbale Uganda efune obwetwaze, olukiiko lw'eggwanga lwalonda Lumu okukulembera minisitule y'eggwanga ey'ebyobulamu. Lumu yateebereza nga omukwano gwe ne Kabaka wa Buganda, Mutesa II, gwagatta ku kulondebwa kwe.
N'obwetwaze bwa Uganda, Lumu yafuuka minisita w'ebyobulamu mu kabineti ya ssaabaminisita Milton Obote . Yateeka essira ku kukola enteekateeka y’eggwanga namutaayiika ey’okugaziya obuweereza bw'ebyobulamu mu ggwanga lyonna. Ng'okusinga yeesigamye ku bakozi abakugu, yatumbula enteekateeka y’okutondawo amalwaliro mu bitundu agasindikibwa abalwadde abajulidde mu bbanga lya myaka 10.
Nga 25 Omwezi ogusooka 1971, Idi Amin yateekateeka okuwamba ,n’amamulako Obote n’eyeddiza obuyinza .Yayimbula Lumu wamu n'abasibe b'ebyobufuzi abalala 54 oluvannyuma lw'ennaku ssatu.
Obulamu obw’oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvanyuma lw’okuyimbulwa mu kkomera, Lumu yaggulawo akalwaliro mu Mengo Kisenyi, ke yaddukanya okutuusa mu 1996. Okumala ekiseera yaddukanya ne galagi eyazzangawo n’okuddaabiriza mmotoka enkadde. Okulumirizibwa nti yafuna eby'obugagga mu ngeri etali mu mateeka mu disitulikiti za Kampala ne Mukono byamuleetera okuyitibwa okuwa obujulizi mu kakiiko k’ebyettaka mu 2018 mu kulabikako kwe okwasembayo mu lujjudde. Ng'abomumaka ge bakyakola enteekateeka okujaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 104, Lumu yalwala bweyafuna ekifuba ekikololwa ne lubyamira naafa nga 11 Omwezi ogwekkumi n'ebiri 2019 mu maka ge e Bakuli, mu ggombolola y’e Rubaaga mu Kampala. [1]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs namedlubegalegacy
- Lubega, Henry (December 13, 2019). "Uganda's pioneer Health minister Dr Lumu leaves a lasting legacy". Daily Monitor. Retrieved 12 February 2024.
- Musoke, Kizito (16 April 2012). "Lumu headed the best ever health system in Uganda". New Vision. Retrieved 12 February 2024.
- "Dark memories of 1966 evoked as family, friends celebrate Dr. Lumu's life". The Independent. Uganda Radio Network. 13 December 2019. Retrieved 13 February 2024.
- "Uganda's first health minister passes on". New Vision. 11 December 2019. Retrieved 13 February 2024.
Emirimu ejijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Otunnu, Ogenga (2016). Crisis of Legitimacy and Political Violence in Uganda, 1890 to 1979. Springer. ISBN 9783319331560.