Emmanuel Obbo
Emmanuel Obbo, AJ (yazaalibwa nga 7 mu October wa 1952), omusumba w'Ekikatoliki omunayuganda era abadde Ssaabalabirizi w'e Tororo okuva nga 2 January 2014. [1] Emabegako yawerezaako nga Omulabirizi w’e Soroti okuva mu mwaka gwa 2007 okutuuka mu gwa 2014. [1] Y'omu kubammemba b’ekibiina ky’abaminsani abatume ba Yesu.
Obuto bwe n’obusaselodooti
[kyusa | kolera mu edit source]Obbo yazaalibwa nga 7 Ogwekkumi 1952 ku kyalo Nagoke, Ggombolola y'e Kirewa mu Disitulikiti y’e Tororo, mu kitundu ky'eBuvanjuba bwa Uganda . Yatuuzibwa ku bwafaaza nga 13 Ogwekkuminebiri 1986. Yaweereza nga Faaza mu Ssaza ly'e Tororo okutuusa nga 27 Ogwomukaaga 2007. [1]
Ng'Omusumba
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa okuba Omusumba w’e Soroti nga 27 Ogwomukaaga 2007 era n’atukuzibwa ng’omusumba e Soroti nga 6 Ogwekkumi 2007 nga yatukuzibwa Omusumba Erasmus Desiderius Wandera, Omusumba Emeritus ow’e Soroti, ng’ayambibwako Ssaabasumba Denis Kiwanuka Lote, Ssaabasumba w’e Tororo ne Ssaabasumba James Odongo, Omusumba omuyambi ow’e Tororo. [1]
Nga 2 Ogusooka 2014, Obbo yalondebwa okuba Ssaabasumba w’e Tororo [2] era mu kiseera kye kimu n’alondebwa okuba Omusumba ow'ekiseera ow'e Soroti. Yatuuzibwa ku bwa Ssaabasumba nga 1 Ogwokusatu 2014. [3] Okuva mu Gwomusanvu 2019, ye Ssaabasumba wa Tororo era nga ye Musumba ow'ekiseera owa Soroti. [1]
Olukangagga ku ngeri Abasumba gy'ebazze baddiringana
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 David M. Cheney (9 July 2019). "Archbishop Emmanuel Obbo, A.J.: Archbishop of Tororo, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 27 July 2019. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1336246/bishop-emmanuel-obbo-tororo-archbishop
- ↑ https://www.tororoarchdiocese.org/index.php/about/archbishop
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]
Ensibuko n’obusaserdooti/obuwereza bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Obbo yazaalibwa nga 7 Ogwekkumi mu 1952 ku kyalo Nagoke, Kirewa Sub-county, mu Disitulikiti y’e Tororo , mu bukiika kkono bwa Uganda of Uganda . Yatikibwa obwafaaza nga 13 December mu1986. Yaweereza nga Faaza mu Ssaza ly'e Tororo okutuusa nga 27 ogwomukaaga mu 2007.
Ng'omulabirizi
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa okuba Omulabirizi w’e Soroti nga 27 ogwomukaaga mu 2007 era n’atikibwa ng’omulabirizi w'e Soroti nga 6 Ogwekkumi mu 2007 Omulabirizi Erasmus Desiderius Wandera, Omulabirizi Emeritus ow’e Soroti, ng’ayambibwako Ssaabalabirizi Denis Kiwanuka Lote, Ssaabalabirizi w’e Tororo ne Ssaabalabirizi James Odongo, Omulabirizi omuyambi ow’e Tororo. [1]
Nga 2 ogwoluberyeberye mu 2014, Obbo yalondebwa okuba Ssaabalabirizi w’e Tororo [2] era mu kiseera kye kimu n’alondebwa okuba Apostolic Administrator wa Soroti. Yatuuzibwa ku bwa Ssaabalabirizi nga 1 ogwokusattu mu 2014. [3] We bwatukidde mu October wa 2025, ye Ssaabalabirizi w’e Tororo era nga mu kiseera kye kimu nga ye Apostolic Administrator e Jinja. [1] [4]
- 1 2 David M. Cheney (9 July 2019). "Archbishop Emmanuel Obbo, A.J.: Archbishop of Tororo, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 27 July 2019.
- ↑ Vision Reporter (3 January 2014). "Bishop Emmanuel Obbo New Tororo Archbishop". Retrieved 27 July 2019.
- ↑ David M. Cheney (2019). "Archdiocese of Tororo: Archbishop Most Reverend Emmanuel Obbo, A.J., PhD". Kansas City: Roman Catholic Archdiocese of Tororo. Retrieved 27 July 2019.
- ↑ Reporter, Kalisho (2025-10-29). "Pope Leo XIV Appoints Archbishop Emmanuel Obbo as Apostolic Administrator of Jinja Diocese". Kalisho Info (in American English). Retrieved 2025-10-29.