Emmanuel lyamulemye
Emmanuel Iyamulemye Niyibigira, gwebasinga omumannya ennyo nga Emmanuel Iyamulemye, Munnayuganda munnasayaansi ow’eby'obulimi, munabizineensi era omukungu mu kampuni emu, nga yeeyali akulira Uganda Coffee Development Authority (UCDA) ekivunaanyizibwa ku by'enkulakulana by'emwaanyi mu Uganda n'adizibwa mu ntebe. Nga 17 Ogwekuminoogumu 2021, olukiiko olufuzi olwa UCDA lwamulonda ku kisanja eky'okubiri eky’emyaka etaano mu kifo ky’alimu kati. [1]
Obuvo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Iyamulemye Munnayuganda mu buzaale. Alina diguli mu sayaansi w’eby'obulimi, okuva mu yunivasite etamannyikiddwa. Diguli ey'okubiri mu Sayaansi w'Ebirime yamuweebwa Wageningen University, mu Budaaki . Yagenda mu maaso n’afuna Diguli Ey'okusatu mu Sayaansi W'eby'obulimi okuva mu yunivasite y’emu. Diguli ye Ey'okubiri mu By'okudukanya Bizineensi yamuweereddwa Uganda Martyrs University.[1]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Webwatukira mu Gwekuminoogumu 2021, obumanyirivu bwa Iyamulemye mu by'emirimu gyadira ddala emabega okusuka emyaka 15. Okumala emyaka 2, ng'atikiddwa eby'okusoma, yaliko akulira pulogulaamu eyali etubuula omuceere gwa NERICA mu Uganda, ng’awagirwa ekitongole ky’Eby'emere n’Eby'obulimi.[1]
Oluvannyuma yamala emyaka egiwerako, ng’omukwanaganya w’enteekateeka z’eggwanga ku nteekateeka bbiri ez’enkulaakulana, ezaatandikibwawo Omukago gwa Bulaaya ne Gavumenti ya Uganda nga bakwatidde wamu okusitula embeera z’obulamu mu Bitundu By'omuukiikakkono bwa Uganda. [1] Enteekateeka y’okuzzaawo Eby’obulimi mu Bukiikakkono bwa Uganda, eyali ebalirirwaamu obukadde bwa ssente za Bulaaya 20 ne Karamoja Livelihoods Programme (KALIP), ng'ebalirirwaamu obukadde bwa ssente za Bulaaya 15, yatambula wakati wa 2010 ne 2016. [2]
Iyamulemye yasooka kulondebwa ku by'okubeera nga y'Akulira Eby'emirimu mu UCDA mu 2016. [3] Mu 2021, olukiiko lwa UCDA lwazza obuggya endagaano ye okumala emyaka emirala etaano, okusinziira ku birungi ebyava mu kisanja kye ekyasooka. [1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 Patricia Mukyala (17 November 2021). "UCDA reappoints Dr. Emmanuel Iyamulemye Niyibigira as Managing Director". Idea House News. Archived from the original on 26 November 2021. Retrieved 26 November 2021.
- ↑ ChimpReports (9 October 2012). "KALIP/ALREP: GOU And EU: Improving Lives Together". ChimpReports.com. Kampala. Retrieved 26 November 2021.
- ↑ "Uganda: Coffee exports increase from new plantings". Food Business Africa. 8 January 2017. Archived from the original on 26 November 2021. Retrieved 26 November 2021.