Empeekera

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Empeekera bye bigambo ebisukka mu kimu nga bigendera wamu kyokka nga birina amakulu ge gamu. Ebiseera ebimu empeekera esobola okuwa amakulu amajjuvu ate olulala netagawa.

EBIKA BY'EMPEEKERA: EMPEEKERA Y'ERINNYA; Bino byebigambo ebisukka mu kimu nga bisengekeddwa era nga bigendera wamu naye nga biyimiriddewo mu kifo ky'erinnya. N'olwekyo empekera esobola bulungi okukola emirimu gya mannya esatu egimanyiddwa mu sentensi. Kwekugambba; i) Ekitundu ekikozi ii) ekitundu ekikolebwako. iii)Ekitundu ekiganyulwa mu kikolwa. okegeza; omukulu w'essomero yayise abayizi.