Empisa ez'Obuntu(Morals)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Empisa ez’Obuntu (bulamu)


Okuyigiriza abaana empisa kitandikira ku nneeyisa ya muzadde oba omukuza .Ebika by’abazadde oba abakuza abasangibwa mu "entabaganyabantu"(human scociety) ey’akakyo kano bya mirundi esatu. Waliwo :

(a) Omuzadde oba Omukuza omwekkiriranyi(Permissive parent).

Omuzadde ono yeesuulirayo gwa naggamba mu nkuza y’omwana era tatendeka mwaana kuba “mulowooza omugobansonga” (dialectical thinker) kubanga aleka omwana okukola buli ky’ayagala nga bw’ayagala awatali kumukomako, kumulaga, kumuwabula, na kumubuulirira yadde okumuyigiriza engeri y’okwetuukira ku kituufu enneetengerevu. Omukuza ono talaga mwana nsonga lwaki enneeyisa emu tesaanidde. Omwaana ono akula mubambaavu era nga by’asanga by’akola oba by’ayogera, awatali kusengejjamu.

(b) Omuzadde oba Omukuza Nakyemalira (Authoritarian Parent).

Ono naye tatendeka mwama kuba mulowooza omugobansonga olw’okuba ye kyasalawo tekiwakanyizibwa era tekiddibwaamu ne bwe kiba nga kikyaamu. Ebiseera ebisinga teyebuuza yadde okuwuliriza abalala era takkiriza mwana kuwa nsonga ze ku kintu kyonna.

Omwana akuliziddwa mu mbeera eno akula atya okusalawo ku lulwe era aba tasobola kukozesa bwongo bwe nga yetengeredde ,olw’okuba obwongo buba bwalemesebwa okukulaakulana mu busobozi obwo nga muto.Omukuza ono era tayawula kiyitibwa kutulugunya na kubonereza mwana ate era talowooza nti okwogeza obukambwe obusukkulumye buli bbanga nakyo kikolwa kya kutulugunya , ekiyinza okwonoona embeera z’omwana ez’obuntu n’akula nga yetya oba munyiikaavu.

(c) Omuzadde omugobansonga(Authoritative or dialectical Parent).

Omuzadde omgugobansonga y'oyo agoba ensonga mu nkuza y'omwana . Omuzadde omugobansonga tabab mwekkiriranyi ate era takola bukambwe na kutulugunya mu nkuza ya mwana. Buli ky'akola agezaako okulaba nga annyonnyola omwana lwaki kigasa omwana era awuliriza omwana okubaako ky'agamba oba okuwa ensonga ze nga tannakola kusalawo ku kintu kyonna , yadde okubonereza omwana oyo awatali kumala ku manya lwaki omwana akoze ensobi.

Omuzadde omugobansoga tabonereza mwana mu busungu yadde mu ngeri ey'okumutulugunya.

Ekintu ekikulu ekisinga okuba eky’ebbeeyi ku muzadde omugobansonga kwe kuba ng’amanyi nti ebintu ebikola obulamu biri bisatu :

• Omubiri

• Omwoyo , ne

• Omulengera (mind) ogusibuka mu bwongo.


Omukuza ono aba akimanyi nti okugunjula omwana kulina okugoberera ebintu ebisatu ebyo.

Omukuza ono ayigiriza bulungi omwana, awatali kumutulugunya :

• Okukola n’obutalera ngalo

• Okufuga embeera z’ebirowoozo bye enkyankalamu (controlling netagive emotions”

• Obuyonjo

• Okumanya n’okusinza Katonda ng’amulaga ekibalo ky’obutonde eky’ekyewuunyo nga kirimu obukkafu nti waliwo namugereka ali emabega w’ekibalo kino.

• Endya ennungi. Ntegeeza emmere erimu ebiriisa ebirungi eri omubiri

• Okukola dduyiro (physical exercise) ; omwana muleke afune ekiseera eky’okuzannyako ne banne . • Okumulaga omukono gwa Katonda ogw’amaanyi oguli mu kibalo ky’obutonde, okutandika n’ obwengula.

• Okukulaakulanya enkola za mulengera (mental processes) ezimuyamba okumanya n’okutegeera; okwekebejja(observation) ekintu , okwekenneenya(analysisi) , n’okwefumiitiriza (critical thinking). Omwana ono alina okumanya enjawulo wakati w’okusegeera n’okutegeera awamu n’okusengeka ebirowoozo (logic).

Omuzadde oba omukuza ono aba atendeka omwana okukozesa obwongo nga yetengeredde okusobola okusalawo ekituufu era ekisaanidde. Buli ky’akola ekikwata ku mwana, amuwa ensonga ezitegeerekeka lwaki akikoze ate era n’omwaana n’amuwa ekyagaanya okuwa ensonga ze yadde zawukana n’ezize ,olwo n’alyoka asalawo eky’okukola ekisaanidde. Omukuza ono buli kintu akyekenneenya okuva ku nsonda ez’enjawulo n’alyooka asalawo. Ensonda emu y’endowooza ye , ensonda endala y’endowooza y’omwana(ey’abalala) , ensonda ey’okusatu y’embeera ebaawo. Buli kintu ekikolebwa kiba kirina kuva mu kukubaganya birowoozo wakati w’abantu ababiri oba okusingawo. Omuntu omu si y’asalawo yekka ate era okusalawo kulina kuva ku kwekenneenya mbeera nga bw’eyimiridde oba ensonga ez’enjawulo eziriwo.

Omwana yetaaga okutendekebwa okulaba nga buli ky’asegeera akyekenneenya okuva ku njuyi zonna asobole okukitegeera. Okusegeera (sense perception) kiri waggulu wa kutunula; okusegeera kitegeeza okukozesa emu ke sensa (senses) zo ettaano nga amaaso agalaba , ennyindo ey’okuwunyiriza , olulimi olw’okulega(taste), olususu olw’okukwatako(touch) ,n’amatu agawulira(hearing). Okusobola okutegeera ekyo ky’osegedde , kiteekeko sensa zo ezisigadde ennya .Ekiddirira okusegeera kuba kutegeera.

Amasomero, amatendekero n’abakuza b’abaana bonna ,okutwalira awamu, balina okuyigiriza omwana engeri y’okulowoozaamu egoba ensonga(enoonya amazima /ekituufu) ng’anoonya enjawulo eri mu bintu ebifaanagana ate n’anoonya obumu bw’ebintu ebitafaanagana, asobole okwawula ekibi n’ekirungi, omulabe n’owomukwano, ekikyamu n’ekituufu , n’okuvumbula ekibalo ne sayansi ali mu butonde..

Omwana atendekebwa okuva mu buto okuba omugobansoga kimwanguyira okweyunira “enkola eya sayansi”(the scientific method) okunoonyereza ku buttonde oba embeera mu ntabaganya.

Omuzadde omwekkiriranyi (permissive parent) n’omuzadde nakyemalira (ataddibwamu) tebateekawo mbeera ekuza baana nga bagunjufu . Omuzadde omugobansonga yekka y’asobola okukuza omwana nga teyemotyamotya, wa mpisa ate nga mukujjukujju. Omwana atendekebwa omukuza omugobansonga buli kintu akyekenneenya ku njuyi zonna, kungulu n’ebuziba, mu kwefumiitiriza era tamala gakola kintu nga takyefumitirizzaako oba okwebuuza ki ekinaakivaamu.

Okuyigiriza omwana empisa kintu kikulu nnyo mu nkuza y’omwana . kyokka abazadde bangi olw’okuba bakulidde mu mulembe ogusuuliridde enkuza yaffe ey’ennono , tebamanyi ngeri ya kuyigiriza baana mpisa. Abazadde abamu abasomyeko naddala abo abalina ku ssente , balowooza nti ensimbi ze balina zimala okufuula abaana baabwe ab’obuvunaanyizibwa nga bakuze. Tutera n’okuwulira abazadde abamu nga boogera nti :nze nabonaabona, siyinza kukkiriza mwana wange kubonaabona”. Abazadde nga bano balowooza, okuyigiriza omwana okukola , naddala emirimu gy’obulimi n’obulunzi, n’okukola emirimu gy’awaka nga okwoza engoye , ebibya, okusaawa olujja, okweera n’okusiimuula enju oba okuwaata , okusaniika emmere n’okugabula abagenyi, kuba kumubonyabonya. Nedda si bwe kiri !! Mu butuufu abaana ab’omulembe guno abamu tebamanyi na kwaniriza bagenyi !

Okuyigiriza empisa y’engeri ey’okuyamba abaana okuyiga enneeyisa eyetaagisa n’okutuuka ku kusalawo okwetaagisa . Okutendeka omwana mu mpisa kimuyamba okufuga embeera ze ez’obuntu, obukkakamu, okufa ku balala n’okutegeeragana nabo.

Okuyita mu kuyigiriza empisa okutuufu , abaana bayiga engeri y’okweyisaamu awaka , mu ntabaganyo, n’entabaganya omuli obulombolombo , ennono, obukwakkulizo, amateeka n’ebiragiro ebirina okugobererwa.

Okuyigiriza omwana empisa kitandika ddi ?

Okuyigiriza omwana empisa kikolebwa okuva mu buto bwe , anti baalugera nti : “akaakyaama amamera !” Okuyigiriza omwana empisa kutandika nga muwere nga omusitula, n’omuyimbira, n’omusekeramu, n’okumunywegera.

Oluusi osanga omuzadde ng’aboggolera n’omwana omuwere, ng’alowooza nti tekimukosa , gamba okumuboggolera nti : “totukaabirira !”oba webake mangu  ! mu kifo ky’okukozesa ebigambo ebiseeneekerevu nga “sirikawo baby!” oba obuyimba obwebasa abwere.

Abazadde abamu balowooreza mu kuyigiriza mwana empisa nga bamaze kulaba bubonero bwa mpisa mbi nga akuze amaze n’okuwaganyala. Omwana wo tayigirawo ki ky’asaanidde kukola . Olina okukimusomesa n’okumulaga engeri gy’alina okukolamu ebintu okutandika n’okumulaga omukwano n’okufiibwaako nga yakazaalibwa .

Okusinzira ku kwekennenya okuzze kukolebwa abantu ab’enjawulo ku baana, omwana waatuukira ku myaka omukaaga egitandikikirwako okusoma mu “pulayimale” okuva lw’azaalibwa ayita mu nkyukakyuka satu.

Kino kitegeeza okuyigiriza omwana empisa kulina okugoberera enkyukakyuka zino essatu nga tanntwalibwa ku ssomero (singa tuba tukitutte nti atandika okusoma ku myaka mukaaga) .Ebkyukakyuka zino essatu wano katuziyite mitendera gy’enkyukakyuka omwana gy’ayitamu ng’akula okutuuka ku myaka omukaaga nga tali ku somero naye ali na bazadde n’abantu abalala ababeera mu maka mw’aba akuzibwa. Gino gy’emitendera okuva nga yakazaalibwa:

a) Ebbujjenyi (ebujje eggenyi):

Okuva omwana lw’azallibwa okutuuka ku myezi 24 myaka ebiri omwana ka tumuyite “ebbujjenyi” ekiteggeeza “ebbujje eggenyi ku nsi.” Omutendera guno guba gwa kunoonya “bwesigwa” eri abantu oba omuntu ali n’ebbujje lino. Singa omuzadde alema okulaga obwesigwa eri ebbujjenyi lye omwana ayinze okukula n’aba nga tasobola kukola mikwano oba okuba n’enkolagana eziwangaala mu bulamu bwe obwo mu maaso.Okusiga okwesiga wakati w’omwana n’omuzadde we kitandika amangu ddala nga ya kazaalibwa okuyita mu mwaka ogusooka ng’azaaliddwa.

Omuzadde yenna oba omukuza omugunjufu alina okumanya nti ekikolwa eky’okusiga empisa ey’obwesigwa mu mwana “ebbujjanyi” kibeerawo okuyita mu kumunywegera, okumwogerera ebigambo ebiseeneekerevu wakati mu mukwano , okumusekeramu oba okumumwenyeza , okumuyimbira obuyimba obuseenekerevu, n’okumubudabuda , omuli okumufaako nga waliwo ekimukyankalanyizza nga okumuyonsa oba okumuwa amata nga enjala mu biseera ebigere, okumunaazako olubugumubugumu, okumukyusa engoye mu biseera ebigere oba amangu nga yeyonoonye n’okumuwa obujjanjabi mu obwetaagisa mu bwangu ng’alwadde.


Okufiibwako n’omukwano ebimuweebwa abazadde oba abakuza ng’akyali bbujjenyi kye kisiga embeera ey’obwesigwa n’okwagala mu bulamu bwe kyokka kino tekiva ku bazadde bokka wabula n’abantu abalala nga ab’emikwano, ob’oluganda abalala nga bajjajja, bakkojja, bassenga bakizibwe, baliranwa , aboluganda abako n’abemikwano.


Abaana baba n’engerekera y’okujjukira (instinct of memmory) engeri gye baayisibwa nga bakyali mabujje n’omukwano oba obutafiibwako obwaliwo mu buto bwabwe. Omwana bw’ayisbwa obubi nga muto kiyinza okweyorekera mu buyisayisa obubi n’embeera enkyankalamu ng’akuze n’afuuka ekyambika eri abazadde n’entabaganyabantu mw’ali yonna kuba aba muzibi okukkakanya ebirowoozo olw’embeera embi  gye yayitamu nga muto.


b) Ebbujjeze (Ebujje erikuze) .

Omuto ebbujjeze , ekitegeeza ebbujje erikuze atandikira ku myaka 2 okutuuka ku myaka 4 era wano omuto ayigira ku bazadde be empisa ez’enju mwali n’empisa ez’etabaganyo , n’obusobozi okukulakulanya okwekenneenya n’okwefumiitiriza omwana bw’azaalibwa nabwo nga omuntu. Mu mutendera gw’ebbujjeze omuzadde ayanguyirwa okusomesa omwana ebikolwa nga okuwuliriza n’okugondera abakulu awatali nnyo buzibu. Ekintu omwana ky’asooka okuyiga wano y’enjawulo wakati w’ekibi n’ekirungi.


Ebbujjeze liyinza okuyigirizibwa aba okukulakulana mu mpisa ezisookerwako okuyita mu kumukungiriza n’okumukangavuulamu ekitonotono awatali kumuboggolera nnyo. Eky’okulabirako ebbujjezi bwe liba lizannyira ku swiki y’amasanyalaze oba nga likoleeza ebipapula ku sigiri , oyinza okuliboggoleramu katono ol’olumu nti : Kale vva ku muliro mangu . Gujja kukwokya! Oba vva ku masanyalaze gajja kukuba!” . Bwe liddamu okukikola oyinza okulikubamu akayi ku bugalo . Wano oba ayiga nti ebikolewa ebimu bibi oba bya bulabe kyokka bw’akola ekirungi mukungirize nga omwebaza omuzzemu amanyi okukola ebirungi .


c) Omutoola(yetoola) . Ku myaka 3 okutuuka ku 5 , omuto aba yetoolatoola nga ayagala okukwata ku kino na kiri , ensonga lwaki mmuyise mutoola (eyetoolatoola) . Wano era olina okulaba engeri gy’osigamu empisa ennungi , n’okumulaga ekibi nga omukangavvula oba katugambe ng’omuboggoleramu ekisaanidde olw’olumu naye bw’akola ekirungi nga okuyimba akayimba mukungirize nga omulaga nti ayimbye bulungi kino kimulaga nti ky’akoze kirungi.

Omwana ono ajja kutandika okwewala ekyo ekimugaaniddwa kuba aba afunye okumanya nti kibi oba nga yewala kubonerezebwa ate atandika okukola ebirungi oluusi okufuna okusiimibwa n’okukungirizibwa okuva eri omuntu omukulu oba omuzaddewe.

Bw’oba osize ensigo ey’obwesigwa mu mwana ng’akyali bbujjenyi olw’okuba aba akwesiga era nga taba mu kutya ng’akulabyeko , atandika okukubuuza kino na kiri kuba engerekera y’obuntu(human instinct) emusikiriza okunoonya okumanya . naye singa omukyunya n’okumuboggolera buli kasobi k’akola aba akutya ng’akulabyeko era ne kyeyandiyagadde okukubuuza akyesonyiwa mu buto bwe. Abato mu mutendera gw’omutoola yadde betoola baba bakyataaga okubalaga ekibi n’ekilungi basobole okukulakulanya obusobozi bwabwe okwawula ekibi ku kirungi , kibayambe okukola okusalawo okutuufu ku lwabwe mu biseera ebyo mu maaso n’ebiriwo. Wano tandika okukozesa obugero n’emizannyo okubatunuza mu mpisa ey’okukozesa obwongo eky’okulabirako obugero lwa “wakayiima omugezi” oba obukunizo obw’enjawulo.Edda abazadde mu maka amaganda nga batuuza abaana akawungeezi ne babanyumiza engero , ebisoko , n’ebikwate awamu n’okubayimbiramu obuyimba obuyigiriza naye kati kino abazadde abasinga tebakyakikola.

Okuyita mu bugero, obuyimba, ebisoko n’ebikokyo , abaana omuli n’abatoola batandika okutunuzibwa mu mpagi z’enneyisa ez’obuntu nga obwesigwa , obuvumu, okwagala, okuyamba, okusiima, okusonyiwa , okwekuuma ,okwewa ekitiibwa n’okuyamba abalala .

d) Omutooto (yetoolatoola) . Guno gwe mutendera ogumuyingiza mu myaka 6 .

Omutooto kiggwayo nti “omutendera gw’okwetoolatoola” . Okwetoolatoola kirimu okwagala okukwata ku kino na kiri mu ngeri ey’okwagala okuyiga oba okunoonyereza. Okwetoola n’okwetoolatoola kuyinza n’okubaamu okwonoona ebintu eby’omugaso n’okukwata ku by’obulabe nga eby’obutwa, ebissi, n’olwekyo ebintu ng’ebyo bisibire wala ate omwana omuwe eby’okuzannyisa ebiyigiriza ebiwera okusobola okukulakulanya engerekera y’obuntu ey’okunoonyereza.

Abazadde abamu baboggolera abaana abetoola oba abetoolatoola nga babayita balala ob anti baddalu ekintu ekinafuya n’okukonzibya engerekera y’abaana baffe okunoonyereza n’okweyunira enkola eya sayansi(the scientific method). Abazadde oba abantu abakulu bangi omwana w’abaako ky’amubuuza , balowooza abamalira biseera oluusi ne bamuboggolera mu kifo ky’okubaako kye bamuddamu. Kino kye kimu ku bikonzibya obwakalimagezi mu baana aba afirika ne bakula nga sibakujjukujju ate nga beetya oba batya okubuuza kye batamanye neb we baba batandise okusoma.

Okumanya eby’obuwangwa n’ebyafaayo byaffe.

Omuntu atamanyi gy’ava tayinza kumanya gy’alaga ate era omuntu atamanyi buwangwa bwe tayinza kub na kwetegeera kutuufu. Okumanya eby’obuwangwa kye kimu ku bifuula omuntu omugunjufu nga ogasseeko ebirala bye tugenda okulaba mu katabo kano kyokka essira terisaanye kulimalira ku kino kyokka mu kuyigiriza abaana obugunjufu mu nsi ey’akakyo kano.

Obutayigiriza baana ba ggwanga bya buwangwa bya ggwanga lyabwe , yadde nga obayigirizza ebintu ebirala byonna ebyetaagisa mu bulamu , kibaleka bagunjufu ba kibogwe. Mukuyigiriza abaana obuwangwa bwabwe kyetaagisa n’okunokoolayo obuwangwa obulala obufaananamu n’obwabwe n’okubalaga we bwawukanira kino kibasobozese okuwa abantu b’obuwangwa obulala ekitiibwa ng’abantu nabo abalina obuwangwa bwabwe n’obutatiisibwatiisibwa bye bakola na neeyisa yabwe nga obadde obakyalidde oba nga bakukyalidde mu nsi eno ey’okutabagana.

Wano mu buganda bwe twogera ku buwangwa bwaffe tuba tutegeeza :

(i) Obulombolombo bw’ekiganda. Obulombolombo ge mateeka agafuga eby’obuwangwa n’ebyo omuntumulamu by’ateekwa okukola.Eby’obuwangwa birimu engeri ebintu oba ebikolwa eby’obuntu eby’enjawulo gye bikolebwamu. Wano omwana alina okuyigirizibwa :

 Bulombolombo ki obugendera ku mikolo gy’ekiganda nga okwanjula , embaga, okukungubaga oba okuziika, okwabya olumbe, okwalula abaana, okwalula abalongo , amatikkira ga Kabaka, okukyaza Kabaka, okukyalira Kabaka, okusinza Katonda , njawulo ki eri wakati w’okusamira n’okusinza oba wakati w’ebyobuwangwa n’okusamira.Omuntu asaanidde amanye obulombolombo buno asobole okwerobozaamu obutagoberere obwo obutali bwa kitegeevu ku mulembe guno ogw’obutangaavu. Eky’okulabirako edda nga semaka bamala ennaku ana nga tebannaba kumuziika. Wano okiraba nti baali nga balinda ba luganda abako n’abemikwano okuva ebuule n’ebweeya okutuuka ate nga tewaaliwo ntambula za mulembe nga ziriwo kati. Tewali nsonga lwaki tugoberera akalombololmbo kano.

 Bulombolombo ki mu kukola ebyo waggulu obusaanye okudibizibwa olw’ebizuuliddwa mu sayansi n’enkulaakulana ey’omulembe ?

(ii) Empisa .Empisa z’engeri ennungi omuntu gy’alina okweyisaamu mu banne. Wano kyetaagisa omuntu okumanya enjawulo wakati w’omuntu n’ensolo endala asobole okwewala okweyisa nga ekisolo eri Bantu banne.

(iii) Ennono oba ensibuko y’empisa n’obulombolombo bwaffe awamu n’ebintu ebyakolebwanga edda nga tebinnakyuka.

(iv) Emizizo. Emizizo ky’ekintu ekizira okukola era gugenderako ekibonerezo kubanga buli kintu kya muzizo kigenderako ekiyinza okukutuukako singa oba okikoze. Eky’okulabirako omwana omuwala okulinnya omuti , okusekerera omuntu,n’ebirala.

(v) Okumanya obutonde n’okubukuuma. Omuzadde oba omukuza yenna alina okukuliza omwana mu mbeera emuyigiriza ekifo ky’Ensi yaffe mu bwengula n’emigaso gy’ obutonde bw’Ensi obw’enjawulo nga ekitangaala ekiva ku njuba(emmunyenye), emigga, ennyanja, entobazi, emyala, enzizi, ensozi, ebiwonko, ebibira, ettaka.

Abaganda ab’edda okusobola okukuuma obutonde bw’ensi beyambisanga emizizo n’ebitiisatiisa nga okugamba nti omuti guno oba guli gwa musambwa tegutemebwa oba ekibira ekyo tebakitemamu miti. Kati ffe abaliwo mu mulembe gw’obuyivu tuyinza n’okulimbulula ebirimbo ebyo naye ne tugenda mu maaso n’ekyobuwangwa eky’okukuuma obutonde bwensi nga tukozesa ebyobugagga omuli n’ebibira mu ngeri eteri ya kyeyonoonero.

(vi) Okumanya n’Okusinza Katonda. Ng’abuazungu tebannaba kujja wano twalina eddiini ey’ekiganda ekkiririza mu Katonda ow’obwanaminigina era nga nkakasa katonda ono y’omu n’owabazungu lwa kuba buli buwangwa bumuwa erinnya lya njaulo. Eddiini eno teyali ya kusamira yadde okuwongera emyoyo gy’ekizikiza. Omuganda owedda yakkirizanga nti Katonda gy’ali era y’ali emabega w’obwengula bwonna obuluke mu nduka ey’ekibalo ne sayansi ebya waggulu ddala.Yadde waliwo abasamirira emyoyo emirara abaganda bangi basinzanga Katonda ow’obwanamunigina(monolithic God).

Omuzadde oba omukuza okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe okugunjula omwana alina okubeera omugunjufu.

Ebyobuwangwa kye kimu kubyawula omuntu ku nsolo endala kubanga kino kikolwa kya bwakalimagezi.Kyokka nabyo biyinza okwetaagisa okutambulira ku mbeera eba eriwo.Eky’okulabirako, ku mulembe guno kyetaagisa okuyigiriza abaana baffe emisoso n’empisa ez’ekijjulo ekyo ku mmeeza kyokka ate ne tutasuulirira kubayigiriza misoso na mpisa za kijjulo ekyaffe ekiganda.


Okumanya n’okwewala ebikolwa eby’Empisa Ensiwuufu

Bwe twogera ku mpisa embi tuba tutegeeza:

(i) Obutayagala oba obutamanya kukola mirimu n’okwagala ebirungi by’otakoleredde

(ii) Obutafuga mbeera zo za buntu.(zirambuluddwa mu maaso)

(ii) Okuba n’Obuyisayisa nga:

• Okwerumaluma

• Okuyombayomba

• Okulwanalwana

• Okusosonkereza

• Okuboggolaboggola

• Obuteyonja

• Obujama

• Obutasaasira balala

• Okuduula n’okukudaala

• Okwerowozaaako/okwefaaako wekka

• Okweronda. Kuno kuvaamu Obubbi

• Okutulugunya abalala

• Obutasonyiwa

• Obuteenenya nga okoze ensobi

• Obwannanfuusi

• Okuvuvuba abalala

• Enkwe, enge ,n’empiiga

• Okuwayiriza n’okulimba

• Obutayagala kukola

• Obulogo

• Okusekerera oyo afunye enkenyera oba okuddirira mu bulamu bwe

• Obutasaasira

• Okusanyuka ng’omulala oba abalala bali mu buzibu


(iii) Emputtu, obutagambwako, n’obutawuliriza.


Waliwo abazadde abakuza abaana baabwe nga tebagambwako. Abazadde bano batera kuba abazadde abekkiriranyi (permissive parents), tebawabula mwana era tebagumiikiriza muntu mulala kugamba ku mwana yadde akoze ensobi.

Ekiva mu kino omwana akula alina emputtu nga ne bw’omugamba okukola oba obutakola kintu takyusaamu. Obutayagala kugambwako n’emputtu nazo njuyi bbiri ez’ekinoso kye kimu.

Okukuza omwana nga tawabulwa yadde okugambibwako(okuwabula tekitegeeza kumukyunya oba kumuboggolera mu bukambwe) mu ngeri etali ya buwaze oba etali ya kuboggola si kirungi n’akatono kubanga ne bw’aba afunye omulimu oba nga afumbiddwa oba awasizza aba muzibu nnyo okuwabula oba okugambako kubanga kino akitwalirawo nga ekya ekivve, okumuyisaaamu amaaso era ne kimuleetra okwetya n’okutabagana obulunyi n’abo b’abeera nabo. Bw’aba afuuse omukulembeze abeera nakyemalira.

Omuzadde oba omukuza alina okulaga omwana nti okuwabulwa n’okugambibwako kintu kirungi omuntu mw’ayinza okuyita okumanya ekituufu oba okulongoosa mu by’akola ku lw’obulungi bwe. Kino kitegeeza nti okutendeka omwana okwagala okuwabulwa , kuba kumuyigiriza kuwuliriza.

Kyokka waliwo abo oba oyo ayinza okwefuula nti akuwabula naye nga ebigendererwa bye bya kukuwabya. Omuntu oyo aba mulabe wo . Omulabe wo omumanya otya ? Aba mujerezijerezi ate bw’ayogera takuwa kyagaanya nawe kubaako ky’oyogera era aba muvuvubi mu ngeri ey’okuwa abalala ekifaananyi nti gwe tolina ky’amagezi ky’oyinza kwogera . Ekituufu kiri nti buli muntu asaana okuweebwa ekyagaanya yennyonnyoleko oba awe endowooza ye alyoke awabulwe nga kirabika nti ddala awabye.

Omukuza w’omwana yenna asaana amanye enjawulo wakati w’okuwabula n’okukyunya. Oyo akyunya munne buli bbanga aba amwogerera ebigambo ebimulaga nti talina kumanya, taliyiga , musiru, yamutamwa, eno nga mw’atadde n’okumujerega mu ngeri emu oba endala ate nga eno tamuwuliriza.

Kino kikolebwa nnyo bakazi bajja ku baana be batazaala naye oluusi n’abakyala abamu bakikola ku baana be bazaala bennyini, naddala nga basowaganye ne babba babwe, ekiruyi ne bakimalira ku baana oba omwana , naddala oyo asinga okufaanana ne kitaawe mu ndabika, nga bwe babalaamiriza nga bwe batajja kubaamu magezi nga bakitaabwe.

Ennaku zino osanga omuzadde nga alaamiriza omwana we n’ebigambo nga bino: “nja kkukonkona ettwe kyaana ggwe”, “ontamye gwana ggwe” , “nja kkufuntula nkumalemu emputtu” . Eno si nkuza nnungi.

Omuzadde nga ono aba atulugunya mwana, yadde ye aba alowooza nti amugunjula. Era kino oluusi okiraba nga omuzadde abonereza omwana mu busungu n’amukuba buli wamu n’omuggo mu mugongo, ku mutwe nga eno bw’asamba .

Omuzadde omugunjufu yewala okubonereza omwana mu busungu. Bw’oba osunguwadde nnyo sooka otambuleko okkakkane olyoke omubonereze mu mbonereza ey’ekigero nga tokikola mu busungu. Ababonereza abaana mu busungu batera okukomekkereza nga bali ku poliisi n’amakomera kubanga bayita we balina okukoma ne batuusa obuvune oba okutta abaana babwe ebiseera ebisinga nga tebakigenderedde.


(iv) Okuwemula n’okumokkoola


Abaana bayiga ebintu bingi okuva mu baana bannabwe , naddala abo abava mu maka agataliimu bakuza bagunjufu , agalimu abazadde abagwenyufu. Okusooka omwana buli kigambo ky’awulidde banne nga boogera naye bw’akimokkoola oba bw’akikubawo , bambi nga tamanyi nti kya buwemu.

Omuzadde oba omukuza yenna nga abadde awulidde omwana ayogera ebigambo bino , tomuboggolera oba okumukayukira , wabula mubuuze ani gwe yabiwuliriddeko era bw’aba amukubuulidde oba nedda , mutegeeze nti ebigambo ebyo tebiyisibwa mu kamwa , bya buwemu, era abaana ab’empisa embi be babyogera.

Abaana abato bayanguwa nnyo okumanya ekibi era ne bakivaako, singa baba nga babuuliriddwa nga bakyaali bato. Kyokka bw’otabagaana kumokkoola bigambo bya buwemu nga bakyaali bato, we bavubukira kiyinza okuba ekizibu okubajjamu obuwemu; n’obugwenyufu , anti akaakyama amamera. Waliwo ebintu ebyangu okwogera eri abaana kyokka ebintu ebikwatagana n’okwegadanda, omuli obuliisamaanyi, olumu biyinza okuzibuwalira abazadde. Ebigambo nga ebyo bikozesebwa mu misomo gya sayansi n’okusomesa endwadde z’ekikaba kyokka nga tebikozesebwa mu kwogera kwa bulijjo . Nga sinaba kweyongerayo njagala okukkatiriza nti nga omuzadde oba omukuza omugobansonga , omwana muyigirize okubikka ku bigambo ebiyinza okuba ebyobuwemu nga kibadde kimwetaagisa okubikozesa , aleme kumokkoola bigambo omuntu mulamu by’atayisa mu kamwa mu njogera eya bulijjo. Bino wansi bye bimu ku bigambo ebiyinza okubikka ku bigambo ebinene, ebizibu okwogera mu bantu mu bulamu obwa bulijjo:

 (a) Ebitundu by’ekyaama omuto muyigirize okubiyita:

• Obusajja • Obukyala • Ssusu • Oba abiyite  : “ebitundu by’ekyama”

  (b) Okugenda mu toyireeti (Kabuyonjo) muyigirize okukozesa ebigambo:

• Okweyamba • Okufuuyisa(omusulo) • okufuka • okupita • okwetaawuluza

(c) Okutawaaza omwana omuto  oyinza okumutandisa n’okukiyita; 

• “Okunaaba susu”.

(d) Bbi muyigirize okumuyita:

• Obubi • Kazambi • Empitambi , oba • bbi

(e) Ekikolwa eky’okwegadanda wakati w’ekisajja n’ekikazi , nga kibadde kyetaagisa , gamba nga omwana akubuuzizza sseggwanga  eba erinnyira  enseera ky’eba ekola  , mugambe nti kino kikolwa kya  “kwegatta” era oyinza n’okumugamba nti ebisolo bwe byegatta  ne bizaala , singa aba akubuuzizza omwana gy’ava. Mugambe abaana abato tebakkirizibwa kwegatta. Kikolwa kya bikulu byokka. Wano nno oba omuyigiriza sayansi awatali kumuwemula.Kyokka mutegeeze nti Katonda ye mutonzi wa buli kintu era y’asobozesa ekito okuzaalibwa nga ekikazi n’ekisajja  ebikulu byegasse.

(e) Obutuuliro oyinza okumuyigiriza okukiyita:

• ebbina • akabina • ekikugunyu • amakugunyu

Manya :Ebigambo byennyini eby’oluganda ebitegeeza ebintu ebyo waggulu biwaawaza amatu era omwana omuto singa tomuteerawo kibibikkako ye ajja kulowooza nti bye bisaanidde okwogera mu bantu . Mutendeke okukozesa ebyo , bw’anatuuka mu masomo ga sayansi aga waggulu ajja kuyiga ebituufu byennyini (ebitayisika mu kamwa) naye ng’amaze okukitegeera nti tebyogerebwa mu Bantu oba tebiyisibwa mu kamwa.



Otendeka otya omwana Empisa ?


Ky’olina okusooka okumanya nti ggwe wennyini olina okuyigiriza omwana. Omwana bw’oba tomuyigirizza mpisa akula tamanyi si lwakuba nti bwe buzaale bwe naye lwa kuba tomuyigirizanga ngeri ya kweyisaamu mu bintu n’embeera ez’enjawulo.

Okwesuulirayo ogwa nnaggamba mu kutendeka omwana kuba kwetimawa ggwe wennyini kubanga empisa tezijja kujja zokka mu mwana wo .1 Obukodyo obw’okuyigiriza omwana empisa bunji ddala naye obumu ku bbwo mulimu :

• Okulaga obuvunaanyizibwa . Ggwe wennyini laga omwana okwagala n’okufaayo nga omuyigiriza, omuwabula , kyokka nga tomukyunya yadde okumutulugunya mu ngeri yonna. Kino olina okukikola mu bukkakkamu naye wabaawo lw’olina okukkaatiriza nga olagira n’obuyinza.

• Nga omuzadde olina okumanya enneeyisa n’enkula ya buli mwana wo kinnomu. Kino kikuyamba okumanya engeri ki ey’okukwataganyamu embera zabwe n’obutakosa mbeera zabwe za buntu nga obayigiriza empisa.

• Beera kya kulabirako eri abaana bo. Wewale ebikolwa ebitali bya buntu nga okulwana, okuyomba, okuloga, okusamira, okusooza, okuwemula, okukabawaza abato , obutafa ku balala, obukambwe, obutasinza Katonda, okuwaayiriza, enkwe , enge n’empiiga awamu n’ebikolwa eby’obukambwe nga okutulugunya n’okutta.

• Weyunire Katonda mu buli kibaawo mu bulamu bwo , ekibi n’ekirungi.

• Nywerera ku mazima


  Tusobola tutya okuteeka empisa obulungi mu baana ? 


 Tewekkirirranya . Laga bulungi ekikomo n’ebiragiro , nga we kyetaagisa okugamba nedda , eba nedda ate we kyetaagisa okugamba ye eba ye kyokka nga owa ensonga ezitegeerekeka.

 Ebiragiro n’okuwabula birina kukolebwa mu kulaga obuvunanyizibwa kyokka mu kukkaatiriza mu bukkakkamu , awatali kuboggola , okusinziira ku myaka gy’omwana. Omwana ali wansi w’emyaka ekkumi osobola okumugamba : Tosalanga kkubo nga oli wekka .Omutiini oyinza okumugamba nti wegenderezanga ng’osala ekkubo ; tunula kukkono otunule ku ddyo ate era otunule ku ddyo , bwe waba tewali kidduka kijja olyoke osale .

 Laga obuyinza we kisaanidde nga okozesa ebigambo ebyetaagisa era oyigirize abaana bo okuteeka amaaso ku muntu awamu n’okukkaatiriza okuba abauliriza abalangi . Oyinza okugamba omwana : Teweemanyiiza kwogera nga oboggola  ! oba Toboggolera banno !! !Ki ku bino ekisingako okutuuka ku kigendererwa ? Oyinza okuba nga omugaana kwemanyiiza kuboggola kyokka nga nawe omugambye oboggola.

 Okulaga omwana okusiima kwo ng’akoze ekirungi n’okumuwabula ng’akoze ekitali kya buntubulamu , okusinziira ku myaka gye. Wewale okubonereza omwana ku buli kasobi k’aba akoze ate era wewale okumuboggolera , okujjako nga ddala kyetaagisa.

 Omwana muyigirize nti buli ekikolebwa kirina ekikivaamu nti era kyetaagisa okukola okusalawo okulungi obutejjusa .

 Bayigirize empisa ennungi nga ggwe wennyini weyisa bulungi. Musabe oba mwebaze Katonda ng’enju.


Okwewala Okukyojjanya omwana (child abuse)

Okukyojjanya omwana (child abuse) kuba kumutulugunya (torture) , olumu ne kimuviirako n’okufa. Okukyojjanya omwana kitegeeza ekikolwa kyonna ekiteeka obulamu bwe mu katyabaga oba okukosa obulamu bwe obw’omubiri, omwoyo n’obwongo(mulengera).Okukyojjanya omwana kulimu :

a) Okukyojjanya omubiri (Physical Abuse )-. Kino kitegeeza obuvune bwonna obutuusibwa ku mubiri nga tebuvudde ku butanwa.

b) Okumukabawaza(Sexual Abuse). Kino kitegeeza ekikolwa eky’obukaba kyonna ekituusibwa ku mwana , mu bikolwa oba mu bigambo, omuli okumukwata, okumweyambulira, okumuwemula oba okumukwatirira.

c) Okumulagajajjalira . Kino kitegeeza obutawa mwana byetaago bye bya bulamu(physical needs). d) Okukyojjanya embeera z’obuntu(Emotional Abuse). Kino kitegeeza enneeyisa oba ekikolwa kyonna , ekikosa enkulaakulana y’omwana eya mulengera n’entabagana mu bantu banne. e -

Engeri y’okutereeza omwana alimu embazuulu 

Okuteeka empisa mu mwana ow’embazuulu kyetaagisa obumalirivu wakati mu kumukulaga okwagala. Mu butuufu bw’oba olina abaana kkumi na bataano oba abaana basatu buli omu sooka omanye embeera ze olyoke olabe gy’omwang’nga okumutendeka mu mpisa , wakati mu kwagala . Waliwo oli nga mu buzaale bwe ava mangu mu mbeera ate omulala nga mukkakkamu oba musirise ate omulala nga wa mbazuulu. Ky’olina okukola:

 Kwe kumanya ekintu buli mwana wo ky’asinga okutekako essira mu bulamu bwe

 . Omwana ow’embazuulu buli lw’omuboggolera , okumukuba oba okumukangavvula tekirina kye kimukyusaako okutuuka nga ozudde ky’asinga okwettanira .Ayinza okuba nga ayagala nyo okulaba omupiira ku TV . Bw’oba oyagala okumujjamu ettumba , TV gisibire mu kisenge kyo okumala ekiseera ekigere , okutuusa ng’akoze ky’oyagala okumutereeza.

 Eri buli mwana wo yogera mu bukkakkamu . Tomukayukira oba okumuboggolera.

 Twala ebiseera oyogere nabo nga obayigiriza mu ki ky’obasuubiramu. Tebamanyi okutuuka nga obayigirizza. Edda bassenga baabuliringa abaana abawala ate bataata abato oba abakulu ne babuulirira abalenze naye kati abantu bonoonefu, n’awe wennyini taata w’omwana wo omulenzi oba omuwala wenyigre mu kumubuulirra okuba omweteefuteefu mu buli mbeera ,omuli okweteekerateekera n’obufumbo . Bintu bingi by’oyinza okubuulirira omwana wo ku bufumbo ebiteetagisa kuwemula yadde ekigambo ekimu , ng’abamu bwe balowooza.Eky’okulabirako empisa, okwekuuma ababi, okwekwasa Katonda , okukola , n’obutazaala baana omuntu b’otetegekedde bye bimu ku bintu omuzadde yenna by’ayinza okubuulirira abaana be.

• Wuliriza abaana bo nga balina ebibaluma era obongeremu amaanyi okukola ekyo.

• Fuga obusungu bwo.Bw’oba omuzadde atasobola kufuga busungu many anti toli mugunjufu kimala .. Okufuga obusungu kyetaagisa okukozesa omubiri gwo, obwongo ne mwoyo wa Katonda, ebisatu ebikola obulamu obujjuvu. Okuba nga oddiridde mu bulamu bwo eri Katonda kya kabi nnyo nga okulekera awo okwefumiitiriza mu bulamu bwo era kya kabi nnyo nga obutejanjabisa ndwadde za mubiri oba endya embi. Kyetaagisa okumanya obukulu bwa Katonda mu bulamu buuno mu kifo ky’okuteeka essira mu kukkusa omubiri n’ebyokulya, eby’amasanyu , oba amagezi ag’o mu mutwe byokka. Okufuga obusungu kyetaagisa okwewummuza, okusaba essaala, okukola dduyiro, okulya ku bibala, enva endiirwa n’emmere enganda okwongereza ku masala amalala era otambuleko ne mikwano gyo awali embeera ekusobozesa okunyumya n’osekamu.


Okusiga Empagi ez’Obutabaganyi mu baana


Abazadde oba abakuza balina okwewala ebintu ebiziiyiza omwana okukulaakulanya obutonde bwe obw’obutabaganyi ne bantu banne. Okusobola okufuula omwana omutabaganyi omuzadde oba omukuza yenna erina okusiga empisa zino wammanga mu baana be:


(i) Obujagujagu

Obujagujagu mugatte gwa maanyi ga mubiri , obukyamufu, obubuguumirivu, n’okutegeera okwembagirawo (intuition).

Amaanyi mu mubiri gakusobozesa okukola emirimu gyo egyabulijjo ate obusobozi bwa mulengera (mental skills) bukuyamba okukola ku bizibu by’osanga mu bulamu.

Obujagujagu bweyolekerawo mu bato n’abavubuka kyokka okukaddiwa kukendeeza obujagujagu..

Yadde nga obujagujagu buyinza okuba obuzaale , omuzadde , oba omukuza ayinza okuteeka omwana we mu mbeera emufuula(emuyigiriza ) omujagujagu ng’amubuulirira n’okumulaga engeri ebintu gye birina okukolebwamu n’okweyisaamu mu mbeera ez’enjawulo , ekyokulabirako okumuyigiriza okwetuma,okukola emirimu egy’enjawulo, okwaniriza n’okugabula abagenyi, okukubiriza enkiiko, okunokoolayo ebitono.


(ii) Okwekakasa oba okwekkiririzaamu

Sitegeeza kwematira .Omuntu eyekkiririzamu y’oyo atemotyamotya. Okwekkiririzaamu,, okwekakasa , okukkaatiriza byeyolekerawo mu muntu abirina.

Okwekakasa ki kyoli , ki ky’osobola okukola , ne ki ky’oyogera kitegeeza bw’etegefu n’obumalirivu okwang’anga obukunizo obukuweereddwa oba ebibuuzo eby’enjawulo ku mulamwa. Omuntu ey’ekakasa aleetera abalala okumukkiririzaamu. Okwekakasa oba okwekkiririzamu si kwematira kyokka oluusi bwe kuyitirira kuvamu okwematira, okwemanyamanya n’obutagambwako.

Okwekkiririzaamu lwe luta olusooka okwekulaakulunya kyokka kikweetagisa okuba nga wekakasa ekyo ky’omanyi ate ng’osobola okukozesa okumanya okwo okukola eby’amagezi.

Okwekakasa oba okwekirizaamu kutandika na kutendeka mwana kunoonya kumanya nga asoma oba n’omubuulira oba n’okumulaga ebintu eby’enjawulo asobole okufuna obumanyirivu, tekijja buzzi ku bwakyo. Omuntu okwemotyamotya kiva mu kuba na kumanya kutono lwa butafaayo kunoonya kumanya ng’asoma ebitabo oba ebiwandiike ku miramwa egy’enjawulo, akola okunoonyereza ku buttonde oba ne yebuuza ku balala.

N’olwekyo omuzadde laba nga omwana wo omuteeka mu mbeera ekulaakulanya ebyo by’amanyi nga olumu ogenda naye mu bifo ebyenjawulo omuli eby’okuyiga ne mu Bantu b’ayinza okuyigirako ebintu eby’enjawulo.

(iii) Okulaga Obumativu

Omuntu atamatira taba mutabagnyi mulungi kuba buli bbanga aba yerumaruma nga alaga nti tamatidde abo abalala kye basobodde okumukolera . Okuyigiriza omwana okumatira , okufaanana n’okumuyigiriza okusiima kitandika na kumwebaza nga alina ky’akoze n’akimaliriza yadde nga takikoze bulungi nga bwe wandyagadde ate era n’omuyigiriza okwebaza ekiba kimukoleddwa.

Omwana olina okumuyigiriza okumatira.Waliwo abantu abamu ng’ebirowoozo byabwe babiteeka ku buzibu oba ebizibu ebibatuusiddwako ne beerabira nti waliwo n’ebirungi bingi ebibakoleddwa abalala. Omuntu nga oyo omukolera ekintu n’atasiima ng’alowooza nti omukoledde kitono era alwawo okumatira ebimukolerwa abalala oba n’ebyo by’aba yekoledde ku lulwe.

Obutamatira balala bye bakukolera y’emu ku mbeera z’obuntu embi. Okulaga obumativu kitegeeza kusiima, kwebaza n’okuddiza, yadde akatono, anti omuganda agamba nti “akatono kazira mu liiso”. Bw’otamatira bikukoleddwa ne byewekoledde togenda ku bimatira.

(i) Obwesigwa

Tewali muntu ayagala kutabagana na muntu atalina bwesigwa oba atesigika. Obutabaganyi buzimbira ku bwesigwa mu bantu abakolagana mu ngeri emu oba endala.

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuleetawo embeera etali ya bwesigwa oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo. Obwesigwa bwetaagisa nnyo mu kukuuma emikwano n’enkolagana eza buli kika. Obwisigwa kitegeeza okwekakasa nti omuntu gw’okolagana naye mwesigwa oba yesigika oba ali ekyo ky’alaga (integrity).

Obwesigwa bukula buli bantu lwe beeyongera okumanyagana n’abalala .Obwesigwa buva mu nneeyisa eyesigika erimu obwenkanya, amazima, okufa ku balala, n’ebirala.

(ii) Okusiima

Nga bwe kiri ku kumatira , okusiima kiyamba nnyo okunyweeza enkolagana mu bantu. Kino kitegeeza nti obutabaganyi bwetaaga okulaga okusiima ekyo ekikukoleddwa . Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obujjawo nga omuntu akuwadde oba akukoledde ekintu eky’omugaso n’otasiima oba n’otalaga kusiima. Okusiima kuba kulaga nti osanyukidde ekikukoleddwa . Okusiima kiwa abo oba oyo gw’okiraze amaanyi okwongera okukola obulungi.

Singa ekintu ky’otaddeko ebirowoozo byo okukikola kikakasibwa okuba nga kikoleddwa bulungi , oyo akikoze afuna essanyu n’obumativu era ne kimuwa amaanyi okugenda mu maaso n’okukola ebirala ebisingako n’awo. Okusiima era kyetaagisa ng’omuntu abadde alina ky’akukoledde mu ngeri ey’okukuyamba. Okusiima n’okumatira njuyi bbiri ez’ekinusu ekimu.

(iii) Essuubi

Omuntu atalina ssuubi mu bulamu takolaganika naye . Obugunjufu era kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuva mu kuggwamu essuubi oba obutaba na ssuubi mu bulamu. Essuubi eba mbeera ya buntu ejjawo endowooza embi ebaddewo mu bulamu bwo. Essubi kuba kulowooza nti ekiruubiriro kyo kigenda kutuukirira. Omuntu alina essuubi y’aba n’obusobozi okubaako ky’akola okulaba ng’atuuka ku kiruubirirwa kye.

Essuubi liva ku kuba nga waliwo obubonero obukakasa nti ekiruubiriro ogenda ku kituukako. Omuntu atalina ssuubi kizibu nnyo okuzimba n’okukumakuma banne era takolaganika naye.


(ix) Obusaasizi n’Obuyambi

Okuba n’omutima ogusaasira n’oguyamba abalala nga bali mu bwetaavu kikwetaagisa okuoonya engeri ez’enjawulo ez’okuyambamu abantu mu bizibu eby’enjawulo ebibaawo mu bulamu. Kino kye kimu ku bikufuula omutabaganyi omulungi kubanga oba weyunirwa abalala. Ebimu ku bintu ebyetaagisa buli muntu okumanya, kwe kujjanjaba n’okubudaabuda abali mu mbeera ey’obulwadde obw’ebirowoozo oba obw’omubiri , omuli n’abagenda okufa.

Ebiseera ebisinga omuntu gw’olabirira bw’aba ng’alina obulwadde obutawona aba ayagala kufiira waka. Oba omulabiridde waka oba mu ddwaliro , waliwo omuntu omugunjufu by’alina okumanya okusobola okulaba nga omuntu we afa musanyufu n’okukkakkanya obulumi.

Omuntu agunjuse alina okubaako ky’amanyi ku bulamu obw’okulwala n’okufiirwa oba okufa, kireme kumuzibuwalira nga kibaddewo. Si kyangu kulabirira muntu afa oba agenda okufa. Atali mutendeke aba ayagala okuyamba naye alowooza nti ayinza okwogera oba okukola ekintu ekinaayongera okwennyisa okuyi kyokka bw’oba nga ofunye okubangulwa osobola okukola enjawulo mu bulamu bwe obusembayo . Olina okumanya nti:

   (a) Omuntu  abeera mu mbeera ey’okufa aba n’ebyetaago bye bimu n’ebibyo . Kino kitegeeza yetaaga okwagalibwa, okufiibwako, ava mu mbeera ez’obuntu, anyiiga, yetaaga okuzzibwamu amaanyi, okuwona, n’okusinza Katonda.

Omuntu ali mu mbeera ey’okufa ayinza okweraliikirira nti agenda kusuulibwa awo awatali kufiibwako olw’okuba obulwadde bumusazeeko obulamu obwa bulijjo era aba mu kutya okuba nga omubiri gwe gugenda kufuuka yegeyege mu bulumi obutagambika era akungubagira obulamu nga alaba bumugendako. Ayinza okweraliikirira olw’abo b’agenda okuleka emabega naddala b’abadde alabirira nga abaana be bazaala oba abantu be abalala . Kino kimutuusa ku kwogera ku bulamu bw’ayiseemu. Wano olina okumanya nti yetaaga okufiibwaako n’okuwulirizibwa.

(b) Omulwadde omuyi   yetaaga okulagibwa omukwano okusinga   okuweebwa obujjanjabi bwokka .
Omulwadde ali mu mbeera ey’okufa  yetaaga okulagibwa omukwano   mu kifo ky’essira okuliteeka ku bulwadde obw’omubiri bwokka .   Batera okuva amangu mu mbeera zabwe ez’obuntu nga okunyiiga, okunakuwala, okwesisiwala, n’okutya. Embeera zaabwe zino za buntu ddala era zetaaga okulaga nti zifiibwaako nga kino kitandika na kubalaga mukwano.

Okumukwatako kiyamba okumukkakkanya era abantu banji ababeera mu mbeera ey’okufa bakkakkana ng’ababalabirira babakwatako ku ngalo oba ku mukono oba ne babanywegera.

(c ) Ggwe ajjanjaba kkakkanya embeera zo ez’obuntu 

Yadde kyetaagisa okubalaga nti babadde n’ekifo kya njawulo mu bulamu bwo , kyokka ate bwe wennyika ennyo kiba kyongera okubakola obubi. Balage okwagala naye ate fuga embeera zo ez’okunakuwala, ennyiike, n’okweralikirira zireme kuvaayo nnyo ate kino kyongere okumukosa ebirowoozo.

  (d) Wefeeko

Okulabirira omuntu atagenda kuwona si kyangu era kyangu okwemalira ku muntu ono ate ggwe n’otefaako . Gy’okoma okwefaako gy’okoma n’okubeera omwetegefu okuwa omulwadde wo obujjanjabi obwetaagisa.

(e) Manya obubonero obulaga nti omuntu wo ali mu mbeera ya kufa :

• Atandika obutassa bulungi ; ayinza okussa empola ate n’assa nnyo • Ayogera nti agenda kufa • Afuna obuzibu okumira emmere oba okunywa • Atandika okusegeera ebintu ekifuulannenge (illusion) n’afuna n’ebirabampewo (hallucinations) olwa mutereezabulamu (body metabolism) we okukyankalana. • Yebaka nnyo ate nga tazuukuka mangu , yadde ogezaako okumuzuukusa • Obutayogera oba okuddamu ebimubuuzibwa • Amala ekiseera kiwanvu nga teyenyeenyezza • Emikono, amagulu bitandika okunnyogoga ennyo. • Olususu lufuuka olwa bbululu • Akendeeza okufuka nga ate omusulo guddugaalirira oba gukyusa kkala. • Akanyigirizi k’omusaayi (blood pressure) kadda wansi okuva we kabeera bulijjo. • Okulekera awo okusegeera ne sensa ze . Alekera awo okusenserwa (feeling), okuwunyiriza, oba okulaba naye kigambibwa nti aba akyawulira.

Kyokka omuyi (omuntu afa) atera okusigala nga akyategeera nti waliwo abantu mu kisenge n’okuwuliriza nga mwogera gy’ali ppaka lw’akutuka. N’olwekyo okumwogerera mu ngeri ennungi kimuwa amaanyi yadde nga tolowooza nti akuwulira.

Laba nga wabeerawo omuntu ku lusegere lw’oyo afa kuba aba akyawulira kyokka wewale okukaaba n’emiranga asobole okukutuka mu mbeera etali ya kawereege . Ab’enganda n’abemikawano okubeera omuntu wabwe ku lusegere ng’ataawa bakikole mu mpalo obutakoowa. Kyokka manya nti si buli muntu nti ayita mu bubonero buno bwonna. Okufa kuyinza n’okujja embagirawo oba okuba okw’ekikutuko.

(x) Okwewala Sikimanyinkitye (superstitutions)

Omuntu alowooleza mu sikimanyinkitye aba muzibu nnyo okukolagana naye kubanga buli kintu ekimuyitiriddeko okutegeera mu magezi ge akijuliza nsi ya myoyo egisukkulumye ku bw’omuntu.Obugunjufu kitegeeza kuba waggulu wa ndowooza ya sikimanyinkitye (superstitution). Mu ntabaganya ezikyali emabega mu nkola ya sayansi, buli kintu ekizibu okutegeera kitwalibwa okubaamu emyoyo egisukkulumye ku bw’omuntu (supernatural spirits) era ne kisamirirwa mu ngeri ey’okukitiitiibwa. Ezimu ku nneeyisa eza sikimanyinkitye abantu abateyunira nkola ya sayansi ze beyunira mulimu:

• Okusamirira obutonde nga emiti eminene egyakula ne giwola nga bagamba nti obunene bwago bwa musambwa. Omunti omunene bwe guwomoggokamu ekituli oba omuwaatwa oba ne gufuna ebizimba ebyefaananyirizaako n’ebitundu by’omuburi gw’omuntu, oba ne guvaamu amasanda agavunze olwa kkansa w’emiti nga olwo bagusamiriria nti musambwa oguvaamu n’amabeere oba ogugenda mu nsonga z’abakyaala.

• Okusamirira ebisolo naddala ebirina kkala ezireekana nga enkoko, embuzi, kkapa, embwa, oba ente enjeru.

• Okusamirira ensolo eziri mu mbeera ezitali za bulijjo, gamba nga omusota ogwakula ne guwola, goonya, n’ ebinyonyi nga babiyita mageege.

• Buli kirooto bakirabamu emyoyo egisukkulumye ku bw’omuntu nga tebamanyi nti ebirooto ebisinga obungi, yadde n’ebyo ebitiiisa biva ku kukyankalana kwa mutereezabulamu mu mubiri (body metabolism) nga waliwo ekitaataganyizza entomeggana ya kemiko mu mubiri gamba nga okweraliikirira , ennyiike, okunyiiga . Omuntu avudde mu mbeera y’atera okuloota ebintu eby’enjawulo naddala ebitiisa si lwa kuba nti bibaawo naye enkola z’omubiri ziba zikyankalanye. Ate era ekirooto olumu kiba kifaananyi kya mulengera ku ekyo ky’olowozaako oba ky’oyinza okulowooza nti kiyinza okubaawo.

Obugunjufu kitegeeza kubeera waggulu wa sikimanyinkitye osobole okulaba sayansi mu bintu ebisinga ebigenda mu maaso mu buttonde era mu kifo ky’okubisamirira okozese akalombolombo ka sayansi okubinoonyerezaako , okufuna sayansi ali emabega wabyo.

Omuzadde oba omukuza yenna alina okutegeeza abaana ekituufu nti bye bayita lubaale baali bantu naye nga bakagezimunyu era be bassekalowooleza ba Buganda ab’edda ate ng’abasinga bakozesanga kalombolombo ka sayansi akalimu enkola ya sayansi ey’ekebejja , ne yekenneenya wakati mu kwefumiitiriza okutuuka ku kuvumbula ekituufu. Tewali muntu afa n’asigala nga akyayinza okuyamba abalamu. Buli muntu alina kwerwanako yekka nga mulamu so si kulowooleza mu bajjajja be abaafa.

Kino tekitegeeza nti tetulina kulima bijja bya bajjajja ffe n’abantu baffe abawummula n’okubajjukira olw’ebintu ebirungi bye baakola nga balamu.