Jump to content

Empisa ku mizigo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Emizigo

Mikwano gyange mwenna abasoma bye mpandiika muli mutya yonna gye muli? Bwe muba muli bulungi mukama yeebale. Leero katutunuulire emizigo bwe gituttattanidde abaana wamu n’abantu abatali bamu. 1. Abantu ababeera ku mizigo buli omu aba yeefaako yekka nga ali ku lulwe era balina enjogera egamba nti emizigo gye gibagatta singa si ekyo tewandibadde amanya munne. Kino kye kitandikira ddala okuleeta obutali buntu bulamu ku mizigo. 2. Kino kireetedde abantu ku mizigo okutambulira mu nsi ejjudde ebintu ebitali birungi, obutaagalizagana, okuwaayiriza , okukonjera, okweyingizaamu emitima gye bayita egy’eddogo, sitaani abeera abatawaanya anti bakeera kufuuwa mmindi, ennyombo teziggwa ku mizigo, obutemu, obulyazamaanyi, okuyombayomba, ettima, enge, obukyayi, obutaba na mutima musaasizi, wamma ggwe buli mbeera yonna etewa muntu ddembe ebeera ku mizigo. Obuseegu bujjula emizigo nga buli agamba nti nze ku mizigo siswala kuba tekuli ammanyi okupakasa kwe kwandeeta ku mizigo so ne bwenkola ki tewali antiisa. Katulabe obuyisa yisaobwetimbye emizigo: 1. Okuyombayomba 2. Eddogo 3. Okufuuwa emmindi 4. Obuseegu 5. Obubbi 6. Omutima ogutasaasira 7. Obutalumirirwa bantu 8. Okubba engoye 9. Okukaayanira waya kwe baanika engoye 10. Okutambulira mu ttawulo ku makya 11. Okuyombera Amanda ku ssigiri 12. Okubba emmere nga munno alese enkota y’ettooke wa bweru nookongolako eminwe. 13. Okukaayanira ebbaafu 14. Okukaayanira ebinaabiro 15. Okunaaba ebiragala noobireka mu kinaabiro nga gyoobeera bonna balwadde. 16. Okussa amazzi mu kinaabiro omuntu naamala okukola olugambo so nga abalala baagala okunaaba. 17. Obwana okufulumafuluma buli wamu abazedde ne bayombera obubi buno nga buli omu agamba nti obo ssi bwa mwana wange. 18. Okutumbula leediyo nga abalala beebase. 19. Okwesittaza abalala nga mmwe muli mu ssanyu mu nju yammwe ne mwerabira nti bye muliko byandibadde bya kyama mu nju yammwe naye abamu mwetikka amayumba. 20. Okubba empale abakyala mweddeko 21. Okukaayanira abasajja ku mizigo. 22. Okuwemula kususse ku mizigo 23. Okusabiriza wamu nookweyazika ku mizigo kusukka 24. Okusaba emmere ku muliraano kusukka. 25. Okusindika obwana ewa muliraanwa mga emmere eyidde bugende bulye kiswaza ku mizigo. 26. Okubba amamnda ku ssigiri ya munno kikyamu. 27. Okugeya abantu ku mizigo kisukka. 28. Abamu batuula ku madaala ne bagey buli ayitawo. Bannaffe mweswaza mutuyambe. 29. Abakyala abaanika obugoye mu kinaabiro eky’okumizigo kiba kibi kuba kiba kya lukale. 30. Abaami abakeera okufuluma ebweru nga muli mu ttawulo mweswaza ate mwattu mudda ne mu luggya ne munyumya emboozi. Ho ho ho ho kifu nnyo. 31. Abalyazaamaanya bannyini mayumba nammwe mweddeko. 32. Bannyini mayumba abaduula, abavuma abapangisa nammwe mweddeko kuba singa tewayagala ssente tewandigazimbye kufuna bagapangisaako. 33. Abafumbira mu mayumba munda muyambe bannammwe kuba kiba kikyamu okufumba ewuwo ne banno ne balya by’ofumbye nga biyita mu mukka oguva ewuwo. 34. Abakomawo nga batamidde ne beetikka enju kiba kikyamu nnyo. 35. Abali ku mizigo temweyisa nga bwe mwagala kuba yadde muli ku mizigo mulina gye muva. Mweyise nga abantu balamu. Sirina gwe njagadde kunyiiza naye tuzimbe eggwanga. Abatabikola mwebale nnyo ababikola mweddeko.