Jump to content

Empuku ya Kiwumulo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Omulyango oguyingira mu mpuku ya Kiwumulo
Amateeka n'ebiragiro ku mpuku ya Kiwumulo

Kiwumulo Cave, era emanyiddwa nga Kalaya Cave, kifo kya byabuwangwa ekisangibwa mu bizinga bye Ssese,mu disitulikiti y'e Kalangala,Yuganda.[1] [2] Empuku eno kirowoozebwa nti ye yasibukamu ebika ebisoba mu 50 eby'Obwakabaka bwa Buganda.[3] Empuku y’e Kalaya ya Jjaja Kiwumulo oba Semuggala. [4] [5] Empuku eno ya kikka kye Nkima (Enkima), nga kino kye kimu ku bika 52 ebiri mu Buganda.[4]

Empuku eno ekola ng’ekifo abatuuze b’omu kitundu abanoonya awokuwummulilamu,okusaba, n’okukwatagana ennyo ne katonda,era emirundi mingi banywa omwenge ne taaba.[4] Ekifo kino era kikola ng’ekiggwa ky’ennono, nga kitegeka emikolo egy’enjawulo egy’ebyobuwangwa egyakolebwa ebika eby’enjawulo.[3] Kiteeberezebwa nti empuku eno ekola ng’ekifo ekisembayo emyoyo gya bajjajja wegy’iwummulira.[3] Era kirowoozebwa nti kifo kya kuwonya era empuku eno erina ebisenge bibiri ng’entono y’efuluma atte ennene ng’eyingira mu mpuku. [5]

Ebintu eby’edda

[kyusa | kolera mu edit source]

Empuku eno erimu ebintu eby'ekinnansi nga amafumu, enkazaluggya n'olugoye lwo lubuggo.Empuku eno ekuuma omuliro nga mulamu munda emisana n’ekiro.[4] [5]

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Steadfastsafaris (2019-02-04). "Memorable encounter of sweet experiences at Ssese Islands - Steadfast safaris" (in American English). Retrieved 2023-12-02.
  2. Myuganda (2019-05-20). "Why you need to visit Ssese Islands in Kalangala district | My Uganda" (in American English). Retrieved 2023-12-02.
  3. 1 2 3 "Art and Craft". Sinyaland (in Lungereza). Retrieved 2023-12-02.
  4. 1 2 3 4 "Magical night on island resort". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-12-02.
  5. 1 2 3 "Ssese Islands Official Website, Traveler Information & Guide". Ssese Islands (in American English). Retrieved 2023-12-02.