Jump to content

Endagaano ya Nairobi, 1999

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Endagaano ya Nairobi, 1999 yali ndagaano ya mirembe wakati wa mawanga gombi eyassibwako omukono Pulezidenti Yoweri Museveni owa Uganda ne Omar al-Bashir owa Sudan mu Nairobi, Kenya, nga 8 ogwekuminebiri 1999. [1] Endagaano eno yatabaganyizibwa eyali Pulezidenti wa Amerika Jimmy Carter era nga yategekebwa okukugonjoola obukuubagano bwa Uganda mu bukiikakkono, naddala obw’obuyeekera nga bakulembeddwamu eggye lya Lord’s Resistance Army (LRA). [2] [3]

Endagaano eno yava mu nkyukakyuka enzibu mu kitundu ezaali zimanyiddwa mu lutalo lw’obukiikakkono bwa Uganda okuva mu makkati g’emyaka gya 1980. Eggye lya Lord’s Resistance Army, nga likulemberwa Joseph Kony, libadde likola obuyeekera ku gavumenti ya Uganda, nga kigambibwa nti ekibinja kino kyafuna obuwagizi okuva mu Sudan ng’emu ku nsalo. Olutalo luno lwali lufuuse lwa ttutumu olw’obukambwe obwali buyitiridde, omuli n’okuwamba n’okukozesa abaana obujaasi , ekyalufuula olumu ku buyeekera obusinga mu Afrika era obw’ekiseera ekiwanvu. [1]

Gavumenti ya Sudan okuwagira LRA kimu ku nkola ey’okutabangula ekitundu, ng’amawanga ag’enjawulo mu kitundu kino gawagira amagye agavuganya ne baliraanwa baabwe. Uganda nayo ebadde ewagira eggye lya Sudan People’s Liberation Army (SPLA) mu bugwanjuba bwa Sudan, n’eteekawo obuzibu mu kusala ensalo okwali kwetaagibwa okusobola okuteekawo emirembe . [1] [4]

Abakiise okuva mu Gavumenti ya Uganda ne Sudan batuula ku Carter mu Atlanta mu gwomusanvu okuva nga 17paka nga 19 okulaba weebali batuuse okussa mu nkola endagaano ya Nairobi eya December 1999 eyasaba okuzaawo enkolagana wakati w’amawanga gombi. Ekigendererwa kye ndagaano eno kyali kya kuteekawo enkolagana mu bitundu okumalawo obukuubagano mu bukiikakkono bwa Uganda. Endagaano yasaba gavumenti zombi okulekera awo okuwagira ebibinja by’abayeekera ebalwanyisa bannaabwe n’okukola ennyo okulaba ng’emirembe gibaawo mu kitundu . [5] Okusingira ddala, Sudan yakkiriza okukomya okuwa LRA obuwagizi, ate Uganda ne yeeyama okukomya okuwagira SPLA n’ebibiina by’abayeekera byonna mu Sudan. [6] [7]

Endagaano eno era yassaawo enkola z’okulondoola engoberera y’amateeka era n’okuteesa kwe mirembe wakati w’amawanga gombi. Bapulezidenti bombi beeyama okwebuuza buli kiseera n’okussaawo obukiiko obw’awamu okulabirira okussa ku nkola ebyateesebwako mu ndagaano eno. [6] [7]

Endagaano y’e Nairobi bwe yassibwako omukono, waaliwo okusuubira nti endagaano eno egenda okuva amaanyi okugonjoola obukuubagano mu bukiikakkono bwa Uganda. [7]

Okussa mu nkola n’okusoomoozebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Wadde nga mu kusooka waaliwo essuubi ku ndagaano eno, okussa mu nkola kwalimu obuzibu okuva ku ntandikwa. Okusinziira ku munoonyereza we mirembe Patrick Oguru Otto, okugezaako okussa mu nkola endagaano ya Nairobi eya December 1999 kwasanga obuzibu obw’amaanyi era kwagaana okumala ekiseera. [1] Okusoomoozebwa kwalimu enkola ezitamala kulondoolwa, okugenda mu maaso kw’emirimu gy’abayeekera ku nsalo, n’embeera enzibu ey’entalo ezisukka ku nkolagana y’amawanga gombi. [1] [8]

Endagaano eno yalemererwa okutuukiriza ebigendererwa byayo era kyaviirako obukuubagano mu bukiikakkono bwa Uganda okweyongera mu myaka gya 2000 gyonna egyatandika. Ekiseera okuva mu 2002 okutuuka mu 2006 era kyalimu ekitundu ekisinga obunene mu lutalo lwonna, nga LRA yagenda mu maaso n’okukola okuva ku nkambi mu bugwanjuba bwa Sudan wadde nga waliwo obweyamo obutongole obwakolebwa mu ndagaano y’e Nairobi. [8]

Omusika n’enkulaakulana eyaddirira

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuwanguzi obutono obw’endagaano ya Nairobi bwayamba okukimanya nti entalo z’obukiikakkono bwa Uganda zeetaaga okuyingirwamu ebikitundu n’ensi yonna mu ngeri ey’enjawulo. Obunafu bwe ndagaano eno byalaga nti enteekateeka z’emirembe zaddirira,oluvanyuma omuli n’enkola y’emirembe eya Juba , eyagezaako okukola ku bumu ku binafu mu nsengeka eyazuulibwa mu ndagaano ya 1999. [1]

Endagaano eno ekyali ya makulu ng’ekitundu ku byafaayo by’enteekateeka z’okuzimba emirembe mu bukiikakkono bwa Uganda, nga eraga obusobozi n’obuzibu bw’okugonjoola ensonga z’amawanga gombi. Obumanyirivu bwayo bwayamba okutegeera obwetaavu bw’okugonjoola ensibuko eyobutakkaanya buno okusinga obubonero bwokka. [9]

Endagaano ya Nairobi y’emu ku ndagaano z’emirembe eziwerako ezikwata kubukuubagano bwa Uganda mu by’afaayo, eyawukana ku ndagaano ya Nairobi eyasooka eya 1985 wakati w’ekibiina kya Yoweri Museveni ekya National Resistance Movement ne gavumenti ya Uganda eya Tito Okello. [7]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 Joseph Kony Cite error: Invalid <ref> tag; name "conciliation" defined multiple times with different content
  2. Joseph Kony
  3. Joseph Kony
  4. Joseph Kony
  5. Joseph Kony
  6. 1 2 Joseph Kony Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  7. 1 2 3 4 Joseph Kony Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  8. 1 2 Joseph Kony Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content
  9. Joseph Kony