Jump to content

Endagakintu eyamatenkane(Isotope)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Isotope NiCuZn

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Endagakintu eyamatenkane oba vampawengwa (Isotopes) buba buziba obulina omuwendo gwa konta (protons) gwe gumu naye nga omuwendo gwa nampa(neutrons) gwa njawulo.

Kino kitegeeza nti endagakintu(element) eza matenkane eba nkula ez’enjawulo ez’endagakintu y’emu. Ebyokulabirako Kaboni 12 ne kabon 14 zombi ndagakintu za matenkane ez’endagakintu eyitibwa kaboni, emu nga erina nampa 6 ate endala nga erina nampa 8.

Vampawengwa oba vampa kiraga nti wariwo okuva kwa nampa. Nampa eri mu kuva okuzibikira amatenkane y’ekola vampa oba endagakintu eyamatenkane (isotope).

Endagakintu (obuziba oba atomu ez’ekika ekimu) bwe zibaamu obuziba bwe bumu nga ziviiriddwako nampawengwa zazo ezimu kye kikola vampawengwa ez’enjawulo mu endagakintu.