Jump to content

Endagakintu ez'enkyusabuziba(Chemical elements)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Boron

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Endagakintu era ekiyitibwa endagabuzimbe y'embeera eraga ekintu okuva mu buziba bwakyo okukyawula ku bintu ebirala byonna. Buli kintu ekiri kirina obutonde obwo ku ngulu (physical nature) n'obutonde obw'obuziba(atomic nature)okukyawula bu bintu ebirara byonna. Kino kye kivaamu emiramwa :

(i) Endagabuzimbe(obw'ebuziba)

(ii) Endagakintu okusinziira mu buzimbe bw'obuziba bwakyo obw'ebuziba.

Amannya g'enkyusabuziba mu luganda , n’ensibuko ey’olulattini.Zino z'endagabuzimbe ez'enkyusabuziba ez’Oluganda ezaava mu Lulattini:

• Aluminaamu (aluminum) (akabonero Al kava mu kya lulattini alumen)

• Antimoniya (antimony) (akabonero Sb kava mu ky’olulattini stibium)

• Bereriyaamu(beryllilium) (akabonero Be kava mu ky’olulattini Beryllus)

• Bisemuusi (bismuth) (akabonero Bi kava mu ky’olulattini bisemutum)

• Bboroni (boron) (akabonero B kava mu ky’olulattini Baurach ekiva mu kya Buperusi Borax))

• Kadimiyaamu(cadmium ) (akabonero Cd kava mu ky’olulattini Cadmus)

• Seziyaamu (caesium) (akabonero Cs kava mu ky’olulattini Caesius)

• Kalisiyaamu (calcium) (akabonero Ca kava mu ky’olulattini calx)

• Kaboni (carbon) (akabonero C kava mu ky’olulattini carbo)

• Seriyaamu (cerium) (akabonero Ce kava mu ky’olulattini ceres)

• Kkopa (copper ) (akabonero Cu kava mu k’olulattini cuprum)

• Kopenisiyaamu(copernicium) (akabonero Cn kava mu linnya ly’olulattini Copernicus)

• Zaabu (gold ) (akabonero Au kava mu ky’olulattini aurum

• Yindiyaamu (indium ) (akabonero In kava mu ky’olulattini indigo)

• Kkalwe(iron) (akabonero Fe kava mu ky’olulattini ferrum

• Fuloliini (fluorine) (akabonero F kava mu ky’olulattini Fluor)

• Galiyaamu (gallium ) (akabonero Ga kava mu ky’olulattini Gallia)

• Jemaniyaamu (germanium (akabonero Ge kava mu ky’olulattini Germania)

• Kafuniyaamu (hafnium) (akabonero Hf kva mu ky’olulattini Hafnia)

• Kasiyaamu (hassium) (akabonero Hs kava mu ky’olulattini Hassia)

• Kolumiyaamu(holmium) (akabonero Ho kava mu ky’olulattini Holmia)

• Pulambiyaamu (lead) (akabonero Pb kava mu ky’olulattini plumbum)

• Lutetiyaamu (lutetium) (akabonero Lu kava mu ky’olulattini Lutetia)

• Manganeezi (manganese) (akabonero Mn kava mu ky’olulattini Magnetum)

• Makyule (mercury) (akabonero Hg kava mu ky’olulattini hydragyrum (okuva mu kirala Mercurius))

• Neputuniyaamu(neptunium) (akabonero Np kava mu ky’olulattini Neptunus)

• Najeni(nitrogen) (akabonero N kava mu kya lulattini nitrum-genes)

• Osimiyaamu(osmium) (akabonero Os kava mu kya lulattini osme)

• Paladiyaamu (Palladium)(Akabonero kaba Pd. KIva mu kya lulattini Pallus)

• Fosiferaasi(phosphorous )(akabonero P kava mu kya lulattini phos-phoros)

• Pulatinaamu(platinum) (akabonero Pt kava mu kya lulattini platina)

• Pulatoniyaamu (plutonium) (akabonero kaba Pu. Kino kiva mu kya lulattini Pluto)

• Poloniyaamu (polonium) (akabonero kaba Po .Kino kiva mu kya lulattini Polonia)

• Potasiyaamu (potassium) (akabonero K kava mu kya lulattini kalium (nakyo ekibbulwa mu potassa))

• Ladiyaamu (radium) (akabonero Rakava mu kya lulattini radius)

• Ladoni (radon)(akabonero Rn kava mu kya lulattini radium)

• Lekemiyaamu (rhenium) (akabonero Re kava mu kya lulattini Rhenus)

• Lubidiyaamu (rubidium)(akabonero Rb kava mu kya lulattini rubidus)

• Luseniyaamu (ruthenium) (akabonero Ru kava mu kya lulattini Ruthenia)

• Sikandiyaamu (scandium) (akabonero Sc kava mu kya lulattini Scandia)

• Sirikooni (silicon) (akabonero s kava mu kya lulattini silicis)

• Siriva (silver) (akabonero Ag kava mu kya lulattini argentum)

• Sodiyaamu (sodium) (akabonero Na kava mu kya lulattini natrium)

• Salufa (sulfur) (akabonero S kava mu kya lulattini sulfra)

• Teruniyaamu (tellurium) (akabonero T kava mu kya lulattiini tellus)

• Ttiini (Tin )(akabonero Sn kava mu kya lulattini stannum)

• Tangasiteeni (tungsten) (akabonero W kava mu kya lulattini wolfram)

• Yulaniyaamu (uranium) (akabonero U kava mu kya lulattini uranus)