Endingidi

Endingidi kika kya kivuga ekifulumya amaloboozi okuva mu lukoba ezisibiddwa ku muti n'endongo mu Uganda . Endingidi erina akaguwa oba akawuzi kamu akasibiddwa ku muti okuva ku mutwe okutuuka ku kaduli omusibuka amaloboozi nga kano kakoleddwa mu muti kungulu nekusabikibwako eddiba. Eddiba lino ebiseera bingi liggyiibwa ku nswaaswa era ligololwa obuti oba obuuma obukubwa munda waalyo nenduli y'omuti. Olususu olukozesebwa ku ndingidi oluusi bwelutaba lwa nswaswa lutera okuba olw’embuzi ento, endiga oba ttimba. Eddiba eriba ligenda okukozesebwa ku ndingidi lirongoosebwa bulungi era linnyikibwa mu mazzi okumala olunaku lulamba nga terinaleegebwa ku kaduli akakola endingidi. Nga ogyeeko akaduli okuli eddiba ly'ensolo, endingidi era ebaako omuti oguyita mukaduli era kuguno kwekuyita akaguwa akakubibwa okuvaamu eddoboozi era kubeerako n'ekifo awaleegerwa omuguwa oba wuzi eno. Wuzi y'endigidi oluusi ekolebwa mu ddiba ly'ensolo kyokka nga ebiro bino waliwo nabakozesa obuguwa bwa nayirooni era nga mukunyweza akaguwa kano akabaani kateekebwa kunkomerero ya wuzi okusobola okwanguya okufulumya amaloboozi n'obutaleegulukuka.
Okusinziira ku bannabyafaayo, endingidi si kivuga ki nnansangwa mu Ankole wabula kisuubirwa okuba nga kyasibuka mu bukama bwa Bunyoro Kitara ebiro bini obuyitibwa Bunyoro nga mu mwaka gwa 1910. Mu biro ebyo Obukama bwa Bunyoro bwali bukyatwalibwanga obukulembeze obw'enono obutwala abantu abagwa mu Kiti kya "Bantu" abasinga obunji mu buvanjuba Africa. Bannabyabafaayo abamu bagamba nti Endingidi abantu abasibuka mu bwakyabazinga bwa Busoga mu Buvanjuba bwa Uganda era ekivuga kino kiganzi nnyo mu Busoga okusinga mu bitundu bya Uganda ebirala byonna. Kino kyegatta ku bivuga ebirala ebimanyiddwa okuyiiyizibwa e Busofa nga ebigwala ,
Omuzannyi w'endingidi bwaba agiggyaamu amalooboozi oluusi agawereekereza ebigambo ebimumuunye oba ebiyimbe. Mu Busoga endingidi yateranga kukubibwa yokka awatali kugattibwako kivuga kirala naye ensangi zino etandise okulabibwako nga ezanyibwa ng'ewerekerwa eղղoma n’ebivuga ebirala. Mu bantu abasangibwa e Kooki wamu n'Abaziba, endingidi zitera kuzannyibwa bbiri omulundi gumu wamu n’engoma nga bwebagattako n’okukuba mu ngalo. Mu Bakiga n'Abahororo endingidi zikubibwa wamu n’entongooli ezikoleddwa mu mabanda .
Endingidi ekozesebwa mu miziki mu biseera eby'okuwummulamu. Endingidi era ekubibwa mu nnyimba ez’emikolo nga embaga n'emirala.