Enduli oba enkolo

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Enduli oba enkolo (Stem))

IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post articles from his Luganda scientific writings.

Enduli oba enkolo (Stem)

Enduli ziyamba okutambuza amazzi n’ebiriisa ebiba biyingiziddwa emirandira okudda mu bikoola, olwo emmere ekoleddwa mu bikoola n’egenda mu bitundu by’ekimera ebirala.

Obutaffaali bw’ekimera obukola kino buyitibwa zayireemu (xylem cells); buno bwe butambuza amazzi ate obutaffaali obutambuza emmere ekoleddwa ne buyitibwa polemu (phloem cells).


Enduli era ziwagira ekimera ne zisobozesa ebikoola okutega omusana ogwetaagisa okukola emmere. Ekikoola wekyegattira n’enduli wayitibwa mpataanya oba noodi (node).

Ekibangiriza wakati w’ebikoola n’enduli kiyitibwa yintanoodi oba ekiwataanya (internode).