Endwadde y’Obulangula

Bisangiddwa ku Wikipedia

Obulangula (Trachoma)[[1]] ndwadde y'amaaso ereetebwa obuwuka obuyitibwa Chlomydia trachomatis. Obulangula bufuula eriiso okuba nga likambira era nga lisala, ekireetawo obulumi era n'okulwala kw'ekitundu ekibikka ku liiso, sinakindi n'okuzibira ddala amaaso. Obuwuka obuleeta endwadde eno busobola okusaasaanyizibwa singa amaaso gakwataganako n'ebintu ebirina akakwate konna ku maaso oba ennyindo y'omulwadde.

Obulwadde buno businga kusaasaanira mu baana okusinga abakulu. N'ebirala ebisaasaanya obulwadde buno kuliko obujama(obucaafu) obw'amazzi ate n'obwa kaabuyonjo (ttooyi). Ekirala kwe kubeera mu bifo eby'olukale (abantu abangi ennyo).

Engeri mwe tuyinza okuyita okweziyiza Obulangula ze zino: okukozesa amazzi amayonjo ate n'okufuba okukendeeza ku muwendo gw'abo ababulina nga bajjanjabibwa. Kino kiyinza okukolebwa nga wateekeddwawo okujjanjaba kw'abalina obulwadde buno, omulundi gumu, oba okujjanjaba abantu bonna abasangibwa mu bitundu obulwadde buno gye bumanyiddwa ennyo.

Obujjanjabi bwa Trachoma kuliko eddagala erimiribwa obumiribwa mu kamwa eriyitibwa Azythromycin oba eritonnyezebwa ku maaso eriyitibwa Tetracycline. Kyokka singa obulwadde buno buba bumaze okuleeta enkovu ku bususu obubikka eriiso, olwo amaaso ago gaba geetaaga okulongoosa, okusobola okutereeza obukoowekoowe ate n'okutangira amaaso okuziba.

Ebibalo biraga nti abantu obukadde kinaana (80M) balwadde balina Obulangula mu nsi yonna. Obulwadde buno businga kukwata baana ne kuddako abakazi, olw'okuba nti bo babeera nnyo n'abaana okusinga abasajja. Era obulwadde buno buviriiddeko abantu abawererako ddala, obukadde bubiri mu emitwalo abiri, okuziba amaaso