Enfulula y'ebiswa mu nimiro

Bisangiddwa ku Wikipedia

ENFULULA Y'EBISWA MU NIMILO[kyusa | edit source]

Abantu bangi batya nnyo ebiswa mu nimiro era bwebityo ne bibajjoga so nga ate byangu bya kutta.

Mpozi ebiswa bino bizibu nnyo ku banga bikuuma enkuyege enkuyege zino bye biwuka ebikyasinze okusumbuwa omulimi kubanga zirya buli kirime na daala ebyo ebirina obutititi nga kasooli, muwogo nebirala.

Naye nsaba okutegeza oyo yena abonabona n'enkuyege nti sooka ononye ebiswa ebirimu enkuyege naddala ezo ezemitwe eminene bwomala okuziga genda ku duuka eritunda edagala ely'ebirime obuze atunda eddagala eritta ebiswa naye ze nakozesaako lye bayita Tamiddo ono ye abita nnyo lwakuba wa beyi nene naye ne bwofuna Tafugo naye mulungi waliwo ne roketi naye mulungi.

enkozesa

Kasita omala okugula eddagala ero nga otegeka amazzi nga gawera okusinzira ku biswa byoyagala oku fufula n'ofuna enkumbi nakadomola aka lita tanno awo n'lyoka ogenda munimiro.

Ebiseera ebisinga otema wagulu gye kisembera nononya ekituli ekinene era nga kiwanvu okuka munda ekyo nosooka n'oyiwa mu amazzi agawera lita tanno oluvanyuma notabula eddagla eryo lyewaguze ku duuka era mu kaddomola eko akalita etano otabule miluzi 20 mu kadomola ako oluvanyuma oyiwe mukituli ekyo olwo obikeko etaka liri lyewatenyeko