Jump to content

Eng Abner Nangwale

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eng Abner Nangwale (Yazaalibwa mu 1932 – 17 Ogwoluberyeberye 2013) yali Munnayuganda munnabyabufuzi era mmemba ku lukiiko lwa Uganda People's Congress. Yaweereza nga Minisita w’Ebyemirimu mu bukulembeze bwa Pulezidenti Milton Obote okuva mu 1980 okutuuka mu Gwomusanvu 1985.[1] Nga Minisita, Nangwale yagaziya kaweefube wa gavumenti okuwa abayizi Bannayuganda okusoma okw’obwereere, okwa bonna.[1] Nangwale yakulembera okuzimba amatendekero amapya agawerako agatendeka abasomesa (TTC), kati agayitibwa Parents Teachers Colleges (PTCs), okutendeka abasomesa abapya mu Uganda.[1]

Nangwale yazaalibwa Bukigai, esangibwa mu kati eyitibwa Disitulikiti y’e Bududa, mu 1932.[1] Yalondebwa okubeera omubaka wa Palamenti ya Uganda akiikirira e Ssaza lya Manjia, nga tannalondebwa Pulezidenti Obote ku bwa Minisita w’Ebyemirimu mu 1980.[1]

Nangwale yafiira mu makaage e Bududa, Uganda, nga 17 Ogwoluberyeberye, 2013, ku myaka 80. [1]

Ebujuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 Odeke, Julius (2013-01-18). "Obote's ex-works minister, Eng Abner Nangwale has died". The Independent (Uganda). Archived from the original on 2014-05-31. Retrieved 2013-01-29.