Engeri ebintu ebiramu gye byebeezaawo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omuntu alina engeri ez’enjawulo nnyingi z’aganyulwa mu bintu ebirala ebiramu. Ebintu ebyo bituyamba okufuna amazzi g’okunywa amayonjo wamu n’okuvunza ebisaaniiko oba ebicaafu. Mu kiseera kino, kaweefube mu kisaawe kino atunuulira okulaba engeri omuntu gy’asobola okuwaniriramu, okufuga n’okuteekawo amateeka agalwanirira ensonga eno. Waliwo era kaweefube atandise okulaba engeri abantu gye basobola okufuula ensonga eno omulimu oguvaamu ensimbi.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ekirowoozo ky’okulengera nti omuntu okuganyulwa mu biramu ebirala yalengerwa Plato (eyo mu myaka gya 400 BC – nga Kristo tannajja). Omusajja oyo yakikenga nti okutema ebibira n’okubisaanyaawo kiviirako okukulugguka kw’ettaka wamu n’okukalira kw’ensulo z’amazzi. Kaweefube w’ekirowoozo ky’engeri ebiramu gye byebeezaawo mu mulembe guno kirabika kyatandikira ku Marsh mu 1864 bwe yasoomooza abaali bagamba nti ebyobugagga by’omu nsi tebiggwaawo. Kino yakikola ng’abalaga enkyukakyuka y’obugimu bw’ettaka mu bitundu bya Miditerranean. Mu myaka gya 1940 abawandiisi Henry Fairfield Osborn, Jr, William Vogt, ne Aldo Leopold beesowoolayo y’okumanyisa abantu nti okubeerawo kw’omuntu kwesigamye ku bwebungulule bwe. Abalala abazze boogera ku nsonga eno mulimu Paul Sears, Paul Ehrlich ne Rosa Weigert. Bano baalaga obuzibu obuyinza okutuukayo singa omuntu takozesa bulungi ebyo ebimwetoolodde.

Ebyokulabirako[kyusa | edit source]

Ebyokulabirako bino biraga enkolagana y’omuntu n’obwebungulule bwe nga tutunuulira ebyo by’afunamu:

  • Mu kibuga kya New York, omutindo gw’amazzi aganywebwa gwali guserebye nnyo era nga gusse okusinga ku ogwo ogwetaagisa ekitongole ky’Amerika ekikola ku byokukuuma obutonde (EPA). Ab’obuyinza amagezi ge baasala gaali ga kuzzaawo buto ekifo kya Catskill Watershed ekyasengejjanga amazzi agakozesebwa mu kibuga ekyo. Amangu ddala ng’obucaafu n’eddagala ebyayiibwanga mu kifo ekyo bikendedde, amazzi gaddamu okusengejjebwa obulungi era buli kimu ne kiddamu okutambula obulungi okutuuka ku mutindo gavumenti gwe yali eyagala. N’omutindo gw’amazzi aganywebwa gwatuukibwako.
  • Enjoki zeetaagibwa nnyo Gavumenti ya Amerika mu muyungiro gw’okubazisa ebimera. Abalimi ab’amaanyi bangi baleeta enjoki okuva mu nsi endala okuyambako mu mulimu ogwo.
  • Mu China, mu kitundu ky’omuggwa Yangtze, waliwo okunoonyereza okwakolebwa okulaba emiganyulo egifunibwa ng’emiti gitemeddwa okufunamu embaawo n’okulekawo ebibira ebyo okubeera ensulo z’amazzi okufunamu amasannyalaze. Kyazuulibwa ng’emiganyulo gy’amasannyalaze gisingira wala egy’embaawo emirundi 2.2.

Waliwo n’okunoonyereza okulala kungi okukolebwa okugera emiganyulo gy’obwebungule eri omuntu. Tekibuusibwabuusibwa nti obwebungulule bw’omuntu bwe bukuumibwa obulungi, aganyulwa nnyo okusinga bw’akolamu ekyo ekifaanana okumuganyula mu kaseera akatono oba akampi. Kyetaagisa nnyo okulaba nga buli nsi eteekawo ebigobererwa n’amateeka agasobozesa okukuuma obwebungulule bw’omuntu nga tebutaataaganyiziddwa.

Embeera y’Obutonde mu Uganda[kyusa | edit source]

Kaweefube wa maanyi eyeetaagisa mu Uganda okulaba nti amateeka agaateekebwawo okukuuma obutonde n’obwebungulule bw’abantu mu nsi eno bukolebwako bulungi. Gavumenti esaana n’ewa obuwagizi ekitongole kya NEMA yo kennyini kye yateekawo okulaba nti obutonde bw’eggwanga lyaffe bukuumibwa bulungi. Tekibuusibwabuusibwa nti embeera y’obudde ekyuse nnyo mu Uganda. Kyandiba ng’enkyukakyuka esinga obunene evudde ku kuba nti obutonde tebukyafiibwako bulungi kulaba ngeri gye bukuumibwa nga tebutaataaganyiziddwa.