Jump to content

Engeri y'okufuuka Omukulembeze omukambwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Episode tableOmuzannyo How to Become a Tyrant oba giyute Engeri y'okufuuka Omukulembeze Omukambwe bwe buzannyo obwawandiiibwa nga bwegoberera mu vidiyio ya Netflix obwanyumizibwa Peter Dinklage . [1] Ekitundu kyabwo kyesigamiziddwa ku kitabo ekitali mu buwandiike ekyafulumizibwa mu 2011 ekimanyiddwa nga The Dictator's Handbook: Why Bad Behavior is Almost Always Good Politics . [2]

Bwaddirirwa obuzannyo obulala obwegoberera nga bwafulumizibwa mu nkola y’emu, era nga nabwo bwanyumizibwa Dinklage, nga bwatuumibwa How to Become a Cult Leader, nga bwafulumizibwa nga 28 Ogwomusanvu 2023.

Nga 14 Ogwekkuminogumu 2023, Akazannyo ka How to Become a Mob Boss kaafulumizibwa.

Omunyumya agamba nti buli muntu ayagala amaanyi ag’enkomeredde okukyusa ebyalo nga bw'ayagala era n’agenda mu maaso n’okunnyonnyola engeri amaanyi ng’ago gye gayinza okufunibwamu n'okukuumibwa. Obuzannyo obuwandiike nga bwegoberera bugenda mu maaso n'okwekenneenya ebikwata ku bulamu bwa bannakyemalira ab'ebyafaayo nga Adolf Hitler, Saddam Hussein, Idi Amin, Joseph Stalin, Muammar Gaddafi ne famire ya Kim .

Template:Episode table

Omuzannyo guno gwakolebwa David Ginsberg, Jake Laufer, Jonas Bell Pasht, Peter Dinklage ne Jonah Bekhor. [4] Ekitongole kya Bungereza ekikola ku kugabanya firimuekya British Board of Film Classification kyawa satifikeeti ya ‘15’ ku muzannyo guno. [5]

Omuzannyo guno gwafulumizibwa ku Netflix nga 9 Ogwomusanvu 2021. [6]

Engeri abantu gyebagifunamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Omuzannyo "Engeri y’okufuuka Omukulembeze Omukambwe" gwayogerwaako bulungi. mu firimu za Rotten Tomatoes, gulina okukkirizibwa kwa bitundu 100 ku 100 okusinziira ku kwekennenya kwa mirundi 5, n'obubonero 5.5/10. [7] Ku firimu za IMDb, erina obubonero 7.7/10. [8]

Omuzannyo guno gwasiimibwa nnyo olw’okukozesa ebifaananyi eby’edda n’ebifaananyi ebirina obulamu, ate nga era gulimu amawulire era nga gukuuma ebifananyi ebiddugavu. [9] [10] Joe Keller ow'omukutu gwa Decider yawandiika nti "[d]wadde nga tooni y'omuzannyo guno yali ya kyewuunyo, Omuzannyo How To Become A Tyrant gulaga ebyafaayo ebirungi ku ngeri bannakyemalira ab'enjawulo gye baatuuka n'okusigala mu buyinza." [2] Shreshta Shulka ow'omukutu gwa Digital Mafia Talkies yasiima omuzannyo guno olw'okugatta n'obuyiiya bwagwo okulungi okutuukibwako ng'okutabula wamu ebifaananyi ebirina obulamu, obutambi obw'obulamu obutuufu, n'enfumo eziraga ensisnkano z'omukulembeze ez'enjawulo n'enkomerero okutuuka ku butuukirivu." [11]

Ensonga eyookuvumirira omuzannyo "How to Become a Tyrant" yali yakwogera kitono nnyo ku Mao Zedong, eyafuga China nga nnakyemalira okuva mu 1949 okutuuka mu 1976. Olw’omulimu Mao gwe yakola mu kaweefube wa Great Leap Forward ne Cultural Revolution – byombi byavaamu obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa –, kyali kisuubirwa nti yandibadde n’omulimu ogw’amaanyi mu muzannyo guno okusinga okwogerwako kyokka. [12] Jim Shannon yeemulugunya nti omuzannyo guno gulina okuweebwa ekifo ekinene eri entiisa ezaakolebwa ku bannansi ba China" ku mulembe gwa Mao Zedong. [13] Okugatta ku ekyo, abeekenneenya baavumirira omuzannyo guno olw’obutabaamu bannakyemalira abalala ab’omu kyasa eky’amakumi abiri okuli Pol Pot, [10] Chiang Kai-shek, [14] Augusto Pinochet, n’abalala. [13]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.tvinsider.com/1004781/how-to-become-a-tyrant-netflix-peter-dinklage/
  2. 1 2 https://decider.com/2021/07/13/how-to-become-a-tyrant-netflix-review/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "Keller" defined multiple times with different content
  3. https://www.imdb.com/name/nm12748933/
  4. https://deadline.com/video/how-to-become-a-tyrant-trailer-netflix-peter-dinklage-historical-docuseries/
  5. https://www.bbfc.co.uk/release/how-to-become-a-tyrant-q29sbgvjdglvbjpwwc01mzixntk
  6. https://www.radiotimes.com/tv/documentaries/how-to-become-a-tyrant-release-date-netflix/
  7. https://www.rottentomatoes.com/tv/how_to_become_a_tyrant
  8. https://www.imdb.com/title/tt14832996/
  9. https://www.newindianexpress.com/magazine/2021/Jul/18/how-to-become-a-tyrant-movie-review-a-tale-of-six-dictators-2330931.html
  10. 1 2 https://www.ottplay.com/review/how-to-become-a-tyrant-review-a-crash-course-on-tyranny-and-villainy-from-the-20th-century/ee52ac2965511 Cite error: Invalid <ref> tag; name "Gomez" defined multiple times with different content
  11. https://dmtalkies.com/how-to-become-a-tyrant-summary-review-2021-docu-series-peter-dinklage/
  12. https://www.washingtontimes.com/news/2021/aug/19/netflix-whitewashes-historys-greatest-tyrant-mao-z/
  13. 1 2 https://www.newsletter.co.uk/news/politics/netflix-show-how-to-become-a-tyrant-is-sweeping-maos-mass-murder-under-the-carpet-says-vocal-china-critic-3694713
  14. "How to Become a Tyrant (Netflix)". History Nerds. July 22, 2021. Retrieved November 6, 2024.