Jump to content

Enid Origumisiriza

Bisangiddwa ku Wikipedia

Enid Origumisiriza munnabyabufuzi mu Uganda . Ye mubaka w'abakyala mu Disitulikiti y'e Kabale mu paalamenti ya Uganda . Yawangula ekifo kino mu paalamenti mu 2026 ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu Uganda mu 2026 . [1] [2] Ayagala nnyo okuweereza abalonzi be okukendeeza obwavu mu kitundu kye. [3] Yawangula akamyufu ka NRM n'afuna obululu 53,713, n'awangula Catherine Atwakiire Ndamira, eyafuna obululu 47,246. [4] [5]

Obuyigirize n’obuvo bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Enid Origumisiriza yazaalibwa ku kyalo Kashumurizi mu Disitulikiti y'e Kabale . Yasomera mu ssomero lya Bishop Kivigyere Girls' School. Oluvannyuma yeegatta ku Kigezi High School for Ordinary and Advance level studies ne yeeyongerayo mu National Teachers' College, Kabale. Enid Origumisiriza yatikkirwa diguli eyookubiri mu by'enjigiriza okuva mu Bishop Barham University. Yakolera mu Kigezi High School ng’omusomesa era omusomesa omukyala omukulu. [2].Yali mukulembeze okuva dda , ne mu kiseera kye yali mu ssomero lya siniya , Yali Deputy Head Girl. Mu National Teachers’ College, yali ssentebe w’ekibiina kya Christian Union. Oluvannyuma mu bulamu bwe, ya kulembera ebibiina by’abakyala bingi. Naye okuyingira mu byobufuzi mu ngeri ekakasa yatandika mu mwaka gwa 2019.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Admin, A. P. N. (2025-07-07). "Kabale Erupts in Support as Hon. Enid Origumisiriza Atuheire Launches Bid for MP Seat". African Pearl News (in American English). Retrieved 2026-02-08.
  2. Nantaba, Lukia. "Enid Origumisiriza Announces Comeback Bid For Kabale Woman MP Seat". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-08.
  3. AKATUKUNDA, BARHAM (2023-12-29). "Former Kabale Woman MP contestant Origumisiriza clarifies on re-entering the race in 2026". Western Uganda's Biggest News Website (in American English). Retrieved 2026-02-08.
  4. Tugume, Godfrey (2025-10-23). "Kabale Woman MP Atwakiire Nominated as Independent, Vows to Uplift Households". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-02-08.
  5. Ahimbisibwe, Nelson (2025-11-18). "Politics: Kabale heats up as 2026 MP campaigns kick off". New Vision. Retrieved 2026-02-08.
  1. Admin, A. P. N. (2025-07-07). "Kabale Erupts in Support as Hon. Enid Origumisiriza Atuheire Launches Bid for MP Seat". African Pearl News (in American English). Retrieved 2026-02-08.
  2. 1 2 Nantaba, Lukia. "Enid Origumisiriza Announces Comeback Bid For Kabale Woman MP Seat". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-08.