Jump to content

Enjawuzo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Enjawuzo (Range)


Omwawuzo oba Enjawuzo (range) eraga emiwendo engeri gye giriraaniganye mu mugereko gwa kalonda. Okuzuula enjawuzo, kola okwawuza wakati w’omuwendo ogusingayo n’ogusembayo mu omugereko gwa kalonda (in a set of data). Yawula omuwendo ogusembayo okuva ku muwendo ogusingayo mu mugereko. Ka tulabe kino nga bwe kikola:


Zuula enjawuzo y’emyaka mu bazannyi b’omupiira ku kyalo Lyamutundwe, singa oba oweereddwa emyaka buli muzannyi gy’alina bwe giti 23, 48, 44, 20, 39, 34, 35, 25, 28, 32, ne 37


Si kikulu oba omugereko guno ogusenkeka buto nga wano oba nedda:

48, 44, 39, 37, 35, 34, 32, 28, 25, 23, ne 20.


Enjawuzo ey’emyaka gy’abazannyi bano eba emyaka 48 – 20 = emyaka 28.


Ekikunizo: Kati zuula enjawuzo y’omugereko gw’emyaka gy’abakadde bano abali ku kyalo

Mbizzinnya: {82, 60, 72, 77, 81, 80, 61}.

Ekibazo: Zuula omuwendo ogusembayo (the smallest) n’ogusingayo (the largest) mu mugereko guno. Okutuuka ku njawuzo yawula omuwendo ogusingayo obunene n’ogusembayo obutono.


Wano giba 82 ne 60. Enjawulo ya 82 ne 60 eri 82-60 = 22 .


N’olwekyo enjawuzo eri emyaka 22.