Enkola z'Obukulembeze ennungi(Pro-people methods of work)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusinziira ku Charles Muwanga mu ntabaganya nnyingi mu kayo kano naddala mu Africa mulimu abantu bangi bannakigwanyizi abenyigira mu bikolwa ebigotaanya enkulaakulana. "Ebikolwa ebigotaanya enkulaakulana"(Subversion oba subversive acts)birina okufuulibwa ekyokukunganga abantu buli mukulembeze oba n'abakulu babimanye era babyewale.

Ate era waliwo we kyetaagisa okukola ku "bakiwagi abagufuula omuze okwenyigira mu bikolwa ebigotaanya enkulakulana"(the Subversive elements).

Ebikolwa ebigootanya enkulaakulana byetaaga okuteekawo enkola ey'okukunga buli omu abakulu n'abato okuviira ddala nga mabujje , okubyewala n'okwenyigira mu kubirwanyisa. Ebikolwa ebyo byeyorekera mu:-

a) Kwetundako obutunzi ettaka mukifo kyokulikozesa okukola obugagga.

b) Butaawula kibi na kirungi, obutaawula mulabe wo ku mukwano gwo, obutaawula mulabe wo n’oyo afuba okwekulaakulanya era gw'oyinza okuyigirako; obutamanya njawulo wakati w’omulabe n’akuwabula.

c) Kusosola mu buwangwa oba mu mawanga mu madiini ne mu mbeera y’abantu.

d) Obuli bwenguzi, obukenuzi, n’obulyake.

e) Okwagala ennyo okwegyalabya n’obulamu obwokudiibuda

f) Enkwe , enge n'empiiga

g) Okwonoona banno ggwe oganze

h) Butafaayo oba okwesuulirayo ogwannaggamba ku byaliwo, ebiriwo, oba ebinajja.

i) Obwannakyemalira, okwemanya, emputtu, n’obutayagala kuwabulwa oba kugambwako.

j) Obutayagala kubangulwa mu bya nkulaakulana

k) Obutayagala buwangwa na ggwanga lyo oba okukola ebikolwa ebikyayisa eggwanga lyo abo ab’amawanga amalala.

l) okugyereegerera abalala bye bakoze

Buri buwangwa, buli ggwanga, na buli kitongole kiba n’amateeka n’ebiragiro oba enneeyisa eyeetaagibwa okwolesebwa abantu abalimukuweereza eggwanga oba ekitongole kyonna kibe kya gavumenti oba kyabwannannyini.

Enneeyisa eno bannabyabufuzi abettanira enkyukakyuka (ba revolutionary leaders) ezifa ku mbeera y’abantu naddala abo abagoberera enkola ya “Nakalyakani gye bayita “revolutionary disciple and methods of work” ate mu bitabo ebitukuvu mwebaagikoppa naddala mu Baibuli tugiyita empisa z’ekikirisitu “(Christian virtues) ate abalala bagiyita empisa mu kukola (work ethics).


Okwawula omulungi ku mubi


Mu "ebyobufuna"(Political economy), obulungi oba obubi bw’omuntu tekikwata ku ndabika ye wabula ki kyayagaliza abalala oyo ayagaliza omulala ekirungi gyali ate oyo amwagaliza ekibi aba mubi gyali. Okwawula ow’omukwano n’omulabe kyetaagisa okwawula ebikolwa ebibi ku bikolwa ebirungi.

Ssi buli muntu akusekera nti abeera mulungi era ssi buli mukwano gwo nti aba mulungi: waliwo abantu abatusekerera betubera nabo naye nga tebatubuulira kyetweetaaga kuwulira kyokka batugamba ekyo kyebalowooza nti kyetwagala so ng’ate ebiseera ebimu by’oyagala ssi byebiba biyinza okuyamba omuntu omulungi akugamba ekyo kyewetaaga okuwulira olw’obulungi bwo ate omubi akugamba ekyo kyoyagala okuwulira olwobulungi bwe. Ow’omukwano tayinza kuduulira yadde okukola ebikolwa ebyenkwe gyoli. Bwoba ne mukwano gwo n’akuduulira oba nga yenyigira mu bikolwa ebyenkwe gyoli oyo aba mulabe wo. 


Enneyisa esobozesa enkulaakulana mu byobufuna bw’eggwanga


Enneyisa ennungi mu bantu bannaffe eyitibwa morality oba good morals oba virtues ate bweba ekwata ku bitongole by’abakugu (professional organizations) nga abasawo, abasomesa, abasirikale, n’ebirala and eyitibwa etiika (ethics) oba etikeeti (etiquette). Banabyabufuzi ab’enkyukakyuka bbo bajiyita “enkola ez’enkyukakyuka” (Revolutionary methods of work). Bino byonna wamu byebitegeeza enneyisa ennungi oba discipline.

Enneyisa ennungi yeetagisa mu buli kitongole okwewala obusambattuko. Enneyisa ennungi y’eyo egoberera ennungi y’eyo egoberera ebyobuwangwa ebitakontana na mateeka, egoberera amateeka n’ebiragiro ebiteekebwawo olw’obulungi bw’abantu bonna abali mu ggwanga oba ekitongole kyonna, awatali kufa ku ggwanga oba diini ya muntu. Eno ye nkola ey’enkyukakyuka kubanga ebeera nkola ereetawo enkyukakyuka ennungi.

Enneyisa ennungi yeetagisa okusobozesa okukuuma ebyobufuzi ebirungi mu ggwanga. Ebyobufuzi ebirungi byetaaga obuntubulamu, obugumiikiriza, obukkakkamu amazima, obwenkanya, obutasosola nakwawulayawula mu bantu olw’amadiini, obuwangwa, enkula, enfuna oba kiraasi; ekisa, okutya Katonda, n’ebirala.

Enneyisa embi tugitunuulira mu ngeri za njawulo; waliwo enneyisa embi mu byobufuzi mubyenfuna ne mu ntabagana n’abantu abalala. Enneyisa embi mu byenfuna esinga kweyolekera mu bunyunyunsi, obukenuzi, obulyake n’obuli bw’enguzi.

Mu byobufuzi mulimu okukozesa obubi obunyinza obwa nnanfuusi, okwawulayawula mu Bantu, obukambwe, okwemanya, obutagambwako, n’okutiitibya abantu abamu ate abalala n’obasuulirira okutwalira awamu obutagondera nfuga ya mateeka.

Okusobola okwanganga enneeyisa ezisobola okudobonkanya enkulakulana nga zibadde ziketteddwa wateekwa okubaawo obukulembeze obutambulira ku kukukwasisa empisa n’okuteeka amateeka n’ebiragiro mu nkola nga bikozesa:

(i) Enkola z’ebyobufuzi (ii) Enkola z’obukulembeze


"Enkola z’ebyobufuzi mu kukwasisa empisa"

                   (Political methods) 

Nga wabaddewo enneeyisa egootaanya empisa, amateeka, n’ebiragiro mu nzirukanya oba enkola y’emirimu mu ggwanga munnabyabufuzi oba omukulembe yenna asaanye okusooka yettanire nnyo “okubuulirira” ng’atuula n’oyo aba akoze ensobi oba aba yenyigidde mu kikolwa kyona ekyokugootaanya n’amunnyonnyola ensobi ye ng’ayita mu:

• Kuyigiriza

• Kusinziira kun kola ya demokulasiya

• Kwenyigiramu kw’abantu bonna


(i) Okuyigiriza

Okuyigiriza kuno kubabaawo kuyita mu nkiiko oba okukunga abantu. Guno gwe mutendera ogusooka mu kutereeza omuntu akyamye ng’omukulembeze asooka okuzuula oba ddala omuntu kyeyakoze yabadde akitegeera bulungi so si kutandikira ku kubonereza oba ku kugugumbula muntu lwekikolwa ekikyamu. Kyetaagisa omuntu ono asooke annyonnyolwe ekibi kyekikolwa kye eri abantu alalala awamu n’okukkaatiriza nti yadde ng’ekikolwa ekyo akikoze muntu wamugaso nnyo eri sozayate era bwakola ebikolwa ng’ebyo sozayate eba eddirira.

(ii) Demokulasiya atambulira mu bukulembeze obwa wakati

Ebintu ebikulu ebiri mu demokulasiya akolera kubukulembeze obwawakati mulimu obukulembeze obutambulira ku nkola ya demokulasiya n’obukulembeze obuva ku ntikko okukka wansi. Demokulasiya bwe bukulembeze obwesigamizibwa ku bantu ate okuba nga buva wakati kitegeeza nti obuyinza bwonna buva ku ntikko emu okusinziira ku bwetaavu bwa’abantu.

Kino kinnyonnyolwa na kuba nti kigezaako okufuula okuwabula, okuwakanya, n’okwemulugunya kw’abantu okuba ekibondo ekisobola okujjawo okunyigirizibwa n’okunyunyunta ebifumbekedde sozayate.Demokulasiya asinziira ku bukulembeze obwa wakati atuuka ku kino ng’akozesa

(a) Obukulembeze obukolera ku buvunanyizibwa obw’awamu

Obukulembeze buno okusobola okubaawo kyetaagisa okubaawo obufuzi obuva mu Bantu okuviira ddala wansi okutuuka waggulu ng’ekigendererwa kwe kunokolayo ebyetagisa okukolako ebikulu n’engeri y’okubissa munkola. Kino kiyamba okuba nga ebirowoozo bya buli muntu biteekebwako essira olwobwetaavu bw’okujjawo obwannakyemalira n’obunafu bw’abo abali mu bukulembeze. Kiyamba okusigala ku mulamwa olw’okuba nti ebigendererwa n’ebiruubirirwa by’ekitongole by’ekebejjebwa okuyita mukuteesa n’okukkanya.

(b) Abatono okugendera ku ky’abanji kyebasazeewo.

Okusobola okukuuma obumu n’okuteeka ebisalibwawo mu nkola abatono basaanye okugondera ekisalibwawo abangi. Kino kiva mu kuba nti emiramwa bwe giteesebwako mu nkiiko oluvannyuma giba girina okubaako okusalawo okuyita mu kalulu mu nkola eya demokulasiya okusobola okutuuka kukukkaanya. Kyokka abo abawakanya ekiba kisalidwawo n’ebiteesebwako baddembe okubiwakanya mu lukiiko. Bwebaba bakakasiddwa nti babali mu butuufu kyokka abo abasing obungi baagaanyibugaanyi okukkiriza ensonga zaabwe, basobola n’okwongera yo ensonga zaabwe eri emutendereza egyawaggulu mu bukulembeze.

c) Abali wansi okugondera abakulembeze baabwe.

Ekigendererwa kya kino kwe kulaba nga abo abali wansi tebasuulirira bisalibwawo baki waggulu waabwe n’okulwawo okubiteeka mu nkola. Ab’awansi bayinza okuwakanya endowooza eyawukana ku yabwe nga bayita mu nteekateeka ennambulukufu okunnyonnyola ensonga zaabwe kyokka balina okugenda mumaaso nebateeka mu nkola ebiragiro nga bwe balinda okudibwamu kubutalibumativu bwabwe.

(b) Okutegeela ensobi oba okulaga abalala ezaabwe

Kino kiyamba okujjawo obutafaayo, ensobi oba okuva kun kola y’omulimu gwo. Kino oyinza okukituukako ng’oyita mu kw’etunulamu ggwe wennyini mwebyo byozze okola, okuyita mu mukwano gwo, oba okuyita mu lukungaana oluyitiddwa okuyita n’okugonjoola ensonga.

Okulaga omuntu ensobi ze mu lujjudde (open criticism) kirina kukolebwa ng’engeri endala zonna ziremye era wano omuntu ategeezebwa mu lujjudde nti ssinga taakyuuse ajja kkolebwako ng’amateeka bwegalagira (administrative) sso si mu ngeri ya byabufuzi (politically).

 Ekigendererwa kyokulaga omuntu ensobi ze (criticism) ssi kumwonona mu balala naye ku muteekamu mutima oguswaala, yetereeze asobole awereze bulungi


e) Bulungi bwa ne Ggawanga Mujje

               (Communal work/Popular Vigilance/Neighbourhood Watch)

Eno y’enkola ey’abantu bonna okwewayo mu kwangaga ebizibu byabwe. Kano kabonero akalaga obusobozi mu kukunga (mass mobilization).


Enkola ez’obukulembeze mu kulwanyisa ebikolwa ebigootanya enkulaakulana

          (Administartive methods of work)

Mu ssomo ly’Ebyofuna waliwo kyebayita okugootaanya enkulaakulana oba ebikolwa ebitabulatabula obumu n’enkulaakulana mu nju, ekika oba eggwanga .Muno mulimu :

o Okusosola oba okukuma enjawukana.

o Okusiga obukyayi

o Okunoonya okuganza ng’oyita mukulimba, okuwereba enziro etc (search for cheap popularity).

o Okwesuuliryo ogwannaggamba (indifference) kubintu ebyetaagisa okukola abalala okubeera obulungi.

o Okutondawo obubondo obusekeetera abalala (formation of cliques)

o Obwannanfuusi

o Obujja n’entondo.

o Obutagambwako, emputtu n’okwemanyamanya.

o Okwagala okukuumira abalala emabega.

Mu kuwumbawumba Mu bukulembeze obwenkyukakyuka waliwo kyetuyita enkola ez’enkyukakyuka oba mulufuutifuuti kyebayita “revolutionary method of works” nga muno mulimu :


1. Enkola ez’ebyobufuzi

      (Political Method of Work)

o Okusomesa (sensitization/education).

o Okubuulira n’ekulabula (caution and counseling)

o Okukangavvula(reprimand)

o Okwatuukiriza (exposure)

o Okutereeza ensobi n’obutali bw’enkanya obuzze bubaawo emabega (correcting the historical injustices/distortions).


2. Enkola z’obukulembeze

      (Administrative methods of Work)

o Okutwala mu kooti oba mu kakiiko akakwasisa empisa.

o Okubonerezebwa mu ngeri egoberera amateeka.

3. Okuyigira ku bikyamu ebibaddewo:

o Okuzza obulamu bwaffe obujja nga tutambulira wamu mu Katonda n'amateeka.

o Okusonyiwa abo abakoze ebikyamu gye tuli ate nga benenyezza.

o N’okwekuba mu mitima netukkiriza ensobi tusobole okugenda mu maaso.


Ebbanga Buganda ne Uganda okutwalira awamu gyeyamala ng’eri mu bufuzi Bungereza ebintu bingi ebyakolebwa obufuzi bw’amatwale okudonbonkanya ebyefuna n’ebyobufuzi bwaffe mu lungereza kyewandiyise “the distortion of colonialism” Muno mwalimu.

i) Okuzimba omusingi gw’ebyenfuna omufunda (narrow economic base). Abangereza baaleka omusingi gw’ebyefuna omufunda ennyo.

ii) Okwawulayawula mu Bantu. Okutambuliza eggwanga mu nkola ezawulayawula mu Bantu okudibanga buwagwa n’amadiini.

iii) Okudibaga obwannannyini n’ekozesa yettaka.

iv) Okuteeka okwemayanya, emputtu, n’obutagambwako mubakulembeze abaddugavu.

v) Obusosoze mu mawanga n’amadiini.

vi) Okkozesa obubi obuyinza, okudiibuuda, obulyake, obuli bw’enguzi, n’obunyunyunsi.

vii) Enkwe (intrigue and formation of cliques).

viii) Embeera y’ebyenfuna n’ebyofunfuzi obukyayi mu batali Baganda ku Baganda oba eri ba Nilotics eri Bantu people.