Enkulaakulana y'Entabaganya(the Development of Society)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusinziira ku Muwanga Charles , ebyafaayo by'entabaganyabantu (human society), byafaayo bya nkulaakulana mu sayansi ne tekinologiya(entondeka y'ebikole).Munnabyabufuna (Political economist) yenna ajja kukutegeeza nti "buli sayansi ne tekinologiya lwe bikulaakulana entabaganya nayo eba ekulaakulana. Entabaganya ezze ekulaakulana okuyita mu nsengekera zino:

(i) Ensengekera y'ababisi

        (the Primitive system). 

Eno yali ntabagana ya babisi (primitive society).Wano omuntu teyalina tekinologiya yenna oba tekinologiya yali wa wansi ddla nga ebyokulywa akung'aanyiriza bikung'aanyirize ku miti era yasulanga ku miti oba mu mpuku kuba teyalina tekinologiya yenna asobola kulima oba okuzimba omw'okusiisira(shelter).

Oluvannyuma yatandika tekinologiya eyasooka n'akozesa ebiti n'amagumba nga ebyokulwanyisa.

(ii) Ensengekera y'Obuddu

         (the slave system)

Eno yali ntabaganya ya buddu(Slave society).Olw'okuba tekinologiya yali agenda akulaakulana omuntu n'asobola okuyiiya tekinologiya ow'okulima n'okuzimba ,wajjawo ekyefaananyirizaako obukulembeze ,era ebibinja ne birwaanagana entalo , olwo abo be bawambye ne bafuuka baddu okubakolera mu malimiro awatali kusasulwa.

(iii) Ensengekera y'abataka

        (the feudal society)

Abaddu beerwanako ne bafuna obuweerero okufuuka ab'ebibanja nga balimira ku ttaka ly'abo abaali babalinako obwa nnanyini kyokka nga balina okusula abaloodi b'ettaka(landlords) obusuulu n'envujjo.

Olw'okuba bano baalina ku buweerero, abaloodi n'abaserafu abamu baafuna ekyegaanya okuteeka obwongo bwabwe ku magezi ag'omutwe n'okunoonyereza ku butonde , ekintu ekyayongera okukulaakulanya sayansi ne tekinologiya era ne kivaamu bannamakolero n'omulembe gw'abo abakolera omusaalwa n'empeera.

(iv) Ensengekera ya Sitakange

       (the Capitalist system)

Ensengekera ya sitakange mu Bulaaya yalimu okukulaakulanya ennyoo sayansi ne tekinologiya n'okuvumbula ennyanguyirizi(machines) ez'amalimiro n'amakolero amanene. Omulembe guno gwali gukolera ku Bakapitoola , abo abalina obwa nnannyini ku bikola n'ebikozesebwa abaakozesanga abakozi olw'empeera n'emisaala.

Entabaganya ya sitakange(the capitalist system) erimu ebirungi bingi n'ebibi bingi ddala omuli n'obutali bwenkanya mu nsasula y'empeera n'emisaala awamu n'obwannamukwakkula (primitive accumulation) nga bwe tunaalaba oluvannyuma.

(v) ensengekera ya bannakalyakaani

          (the socialist system)

linda ebinaddako wano !!