Jump to content

Enkulungo y'Ensi (The Planet Earth)

Bisangiddwa ku Wikipedia
enkulungo y'ensi

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Enkulungo y’Ensi (Earth) – Eri mu kkala Satu , eya  :

(i) Bbululu. Bbulula eraga ekifaananganyo ky'olubaale olwa bbululu mu semayanja, waluyanja, emigga, n'ennyanja.

(ii) Kitaka .Kitaka alaga kkala y'ettaka

(iii) Kiragala. Kiragala alaga oentababimera(vegataion), omuli ebimera nga omuddo n'emiti egya buli kika.

Ensi y’enkulungo ey’okusatu okuva ku njuba Muwanga era ye yokka eri mu kifo eky’ekibalo ekya waggulu ekisobozesa ebiramu okubeerako. Kuno naffe abantu kwe tubeera.


Obutonde bw’enkulungo y’Ensi

Nga bwe guli mu bwengula, n’ensi erina ensengekera yaayo n’amateeka g’obutonde kwetambuliza ebigiriko. Amateeka g’Obutonde agakwekuddwa era galaga nti obutonde ku nsi busengekeddwa na kibalo kya waggulu nnyo bwe buti:

(i) Empalirizo esikira ku Nsi. (Earth’s gravitational force).

Ng’empalirizo esikira mu njuba bw’esika enkulungo eziri mu kyebulungulo ky’enjuba, n’empalirirzo esikira ku nsi esikira ku nsi buli kintu kyonna ekiri mu kyebulungulo kyayo (its field) mu bwengula nga n’omwezi gw’ensi mw’ogutwalidde. Eno mu bufunze y’eyitibwa ensika y’ensi (Earth’s gravity).


(ii) Nampewo (Earth’s atmosphere). Eno ye bbulangiti y’empewo eyebulungudde enkulungo y’ensi. Era empalirizo esikira ku nsi y’eyamba okukuuma bbulangiti ya “nampewo’ omuli ebirungo by’emikka egy’obulamu (empewo) nga yebulungudde ensi. Enkulungo ezitaliiko bulamu zeebulunguddwa ekiyitibwa bbulangiti ya “namikka” (planatory atmosphere).

(iii) Ekifo eky’ekibalo. Ensi y’enkulungo yokka mu nsengekera y’enjuba Muwanga eri mu kifo eky’ekibalo okuva ku njuba okusobozesa embeera z’obulamu okubaawo. Enkulungo y’ensi era yebulunguddwa nampewo atabikiddwa mu bipimo by’emikka ebyekibalo ekituufu ebikola empewo esobola okubeezaawo obulamu.

(iv) Omugendo gw’Enkulungo y’Ensi. Ng’ojjeko okwetoloola enjuba Muwanga ennaku 365 (buli mwaka), ate era enkulungo y’ensi yetoloolera ku kisiisi (axis) oba obutuuliro bwayo essaawa 24 okusobozesa buli katundu ku nsi okufuna ebbugumu n’obunnyogovu ebitali bikalaamufu, ekintu ekirala ekiyamba okukuuma obulamu ku nsi.