Enkwa Ebivu, n’ebiwuka ebirala by’ewale awamu n’endwadde zebireeta ku Ddundiro lyo
==Enkwa Ebivu, n’ebiwuka ebirala by’ewale awamu n’endwadde zebireeta ku Ddundiro lyo== [Prevent Ticks and diseases on animal farms] Endwadde ezireetebwa enkwa awamu n’ebivu kye kizibu ekikyasinga okubobbya asalunzi baffe emitwe mu Ssemazna wa Africa n’okusingira ddajla wano e Uganda. Abalunzi bangi basigadde kulunda lwa nnaakolantya n’abandi okubuviiramu ddala ne beesogga emirimu emirala ng’emberebezi eva ku ndwadde ezireetebwa olunnabe lw’enkwa n’ebivu. Mu bizibu ebingi ebireetebwa enkwa n’ebivu mu malundiro gaffe mwe muli bino wammanga, Ente ezimu zilwawo okujja ku musalo oba n’obutajjira ddala nga kino kiviira ddala ku ndwadde ezireetebwa ebivu eziyitibwa Nagana Ensolo zaffe naddala nga tezifuniddeewo bujjanjabi era oluusi ne bwe ziba zibufunye, naye obulwadde obwo buzisinza amannyi. Emirundi mingi ente zikoozimba ne bwe ziba zifunye obujjanjabi, kino kisinga kulabikira mu bulwadde bw’ekivu. Ente eyo bw’ogitunda tosobola kugigyamu ssente zimala kubanga ebeera ekoozimbye nnyo.Endwadde ezimu nga Nagana ez’ebivu tezitera kuggwa mu nte wadde ebeera ejanjabiddwa era enkomerero ya byonna oba olina okugiggyawo. N’olwekyo ekiba kisingako kwe kwewala ebivu ku ddundiro lyo. Tulina ebika bisatu eby’enkwa ebisinga okutawaanya amalundiro gaffe e Uganda, era bye bino. Enkwa Emmyukirivu Eno enkwa ebeera mmyukirivu era y’ereeta omusujja ogw’amakebe [ECF], nga guno guleetera ente ebbugumu ery’amannyi mu mubiri n’okuzimba ensanjabavu, era ebiseera ebimu ente singa tejjanjabibwa mangu eyinza okuffa. Bw’ebeera ejjanjabiddwa ebiseera ebisinga ssente ezigijjanjaba ziyinza okusinga ezigivaamu ng’etundiddwa, anti amata geesala bw’eba ng’ebadde ekamwa.
Enkwa Embalabala Enkwa eno ebeera n’amabala ameeru, amaddugavu oba kiyite amagondogondo era kino kye kigituumisa erinnya eryo. Eno enkwa ya mutawaana nnyo era ereeta omusujja gwa bika bibiri; Omusujja gw’obusa obukalu n’omusujja gw’okufuka omusulo ogw’omusaayi. Enkwa eya Bbululu Eno enkwa tetera kulabikalabika naye nayo ya mutawaana, ereeta omusujja gw’omusulo gw’omusaayi’’ Ebivu Bibeera biwuka nga bifaanana enswera naye byo binene.Bino bya mutawaana nnyo kubanga bireeta endwadde mu bantu wamu ne mu bisolo. Mu bantu bireeta obulwadde obuyitibwa Mmongoota ate mu nsolo ne bireeta Nagana. Nagana bulwadde bwa nte nga bwe bugikwata yonna ekenena, esala amata, oluusi eyinza okufa. Singa olaba obumu ku bubonero bw’ezimu ku ndwadde waggulu, fuba okutegeeza omusawo w’ebisolo omutendeke akuli okumpi nga bukyali. Wabula waliwo amakubo amalungi g’oyinza okuyitamu okwewala endwadde ezo zinnamutta ng’oyita mu kuziyiza ebivu, enkwa n’ebiwuka ebirala ku malundiro gaffe . Ekkubo erisinga okuyitibwamu, ly’ery’okukozesa eddagala ly’ebisolo wonna mu ggwanga. <ref: www.wwf/lvceep> Joyce Nanjobe Kawooya