Jump to content

Ennono za Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ennono za Uganda mulimu engero ensonge n'ennono endala okuva mu nsi ya Africa Uganda. Zitambuza amakulu n'ebyo ebyaliwo okuva mu mulembe ogumu okudda mu mulembe omulala.[1] Mu buwangwa, engero ensonge zino zaasiga empisa n’enneyisa ennungi eby'afuganga enzikiriza n'enneyisa mu bantu ba Uganda. [2]

Obukiikakkono bwa Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Engero ensonge okuva mu Bukiikakkono bwa Uganda mulimu olugero lwa Mighty Angwech, [3] Obufumbo bwa Wakayima, ne Omukozi w'engatto n'enkima. [4] Zaasomesebwa ku Yunivasite y'e Kyambogo ne ku Ssettendekero wa Makerere . [5] Ekika ky'Abaacholi engero zaabwe ensonge baziyita ododo pa Acholi ekitegeeza "Engero z'Abaacholi" era ezimu ku zo zirimu emboozi nnyingi ezikwata ku bumyu ne wakayima mu nsiko.[6]

Obuvanjuba bwa Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekibiina ky'Abateso mu Buvanjuba bwa Uganda, kirina engero ensonge ez'ebyafaayo nga Oduk omuwanguzi. Yakulemberamu abantu b’e Teso okuva e South Sudan okutuuka mu Buvanjuba bwa Uganda okukkakkana nga batuuse mu Buggwanjuba bwa Kenya. [7] Mu kika ky’Abagisu, okukomolebwa kw’abasajja, okumanyiddwa nga Imbalu, mukolo ogumanyiddwa ennyo ogutegekebwa buli mwaka ogunyumya n'ate emboozi y'Abagisu ey’abalenzi okusajjakula okufuuka abasajja. [8]

Buggwanjuba bwa Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Buggwanjuba bwa Uganda, engero ensonge zisangibwa mu Banyoro, Banyankole, Bachiga, [9] n’ebibiina ebirala. Mu Bunyoro emboozi ey’ebyafaayo eyogerwa ku Batembuzi abatandiikawo Obukama bwa Bunyoro. Engero zaabwe zinyumya ku bakatonda baabwe ab'omuggulu n’ensi ey’abafu. Eggulu lyakulemberwa Ruhanga ate ensi ey’abafu oba ku nsi yafugibwa omugobe eyasuulibwa okuva mu ggulu. [10]

Mu Masekkati ga Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Buganda, engero ensonge nga olwa Nambi ne Kintu zinyumya emboozi nti edda ennyo, Kintu ye musajja yekka eyali mu Uganda . Yalina ente emu. [11] Waggulu mu bw'engula mwalimu obwakabaka nga kabaka waabwo ayitibwa Ggulu . Yalina abaana abalungi ab’obulenzi n’abobuwala abalungi ennyo abaali baagala ennyo okulaba musoke. Lumu, batabani ba Ggulu baayita mwannyinaabwe Nambi abeegatteko bazannye wansi wa musoke. Baali tebamanyi nti ettaka musoke gye yali aggwera yali Uganda . Baatya nnyo, anti Nambi ne bannyina baali tebaalabangako musajja. Nambi n’omutima gwe ogw’ekisa yasuubiza Kintu okudda okumufumbirwa okumugyako ekiwuubaalo. [11] Engero ensonge endala eza Buganda mulimu emboozi ya Walukaga omuweesi, Mpobe omuyizzi, ne Kasanke akanyonyi akatono akamyufu. [11] [12] Engero ensonge endala mu Buganda z'ogera ku Bawakayima, Bawango, Obumyu n'ebisolo ebirala eby'omunsiko era olumu ku lugero olusinga ettutumu lwe lwa Wango ne wakayima.

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.combonimissionaries.co.uk/index.php/2018/06/26/uganda-lango-culture-old-is-gold-fr-lawrence-ogwang/
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/recording-uganda-s-cultural-folktales-1577756
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-08. Retrieved 2026-01-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://ugandapeopleandculture.wordpress.com/tag/ugandan-folk-tales/
  5. http://dissertations.mak.ac.ug/handle/20.500.12281/10323
  6. https://www.jstor.org/stable/2934780
  7. https://artsandculture.google.com/asset/oduk-the-conqueror-teso-community-shujaa-stories/1AGdzgNoL114EA
  8. https://www.bwindiugandagorillatrekking.com/tag/legend-of-bagisu/
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-08. Retrieved 2026-01-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://ugandapeopleandculture.wordpress.com/tag/ugandan-folk-tales/
  11. 1 2 3 https://digital.library.upenn.edu/women/baskerville/king/king.html
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-08. Retrieved 2026-01-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Template:Uganda topics