Ennyanja Bunyonyi
Ennyanja Bunyonyi, ''ekifo ewasinganibwa ebinyonyi ebingi wabula nga biri mu sayizi ntono'' mu mubukiika kkono bwa bugwanjuba bwa Uganda wakati wa Kisoro ne Kabale,[1] okulinaana ensalalo salo ne Rwanda. Ennyanja eno yatekebwako ku ssente za Uganda ez'akapaula ka 5,000/- mu 2004 okutuuka mu 2009 wansi w'ekiwandiiko ekyali kigamba nti ''Ennyanja Bunyonyi wamu n'ettaka eryetoloddewo eriterezeddwa obulungi".[2] okunoonyereza kw'abanasaayansi kulaga nti eno eriko obuwanvu bwa mita 40 nga za fuuti 130 ,[3][4][5][5], wabula ebiwandiiko ebiragirira abalambu wamu n'abatuuze abagyetolodde bagamba obuwaanvu buno busingako, nga buli mu mita 900 nga ze fuuti 3,000, ekiyinza okugifuula ennyanja ey'okubiri muzisinga okubeera empaanvu mu mu kuka wansi mu Afrika. .[6][7][8]
Tawuni mu mbalama zaayo kuliko Kyevu ne Muko, ng'ate obuzinga bwayo 29 kuliko akazinga kebaakozesa nga okubonererezangako abantu wamu n'aka Bushara.
Enkula yaayo
[kyusa | edit source]Ennyanja Bunyonyi kifo ekisinganibwamu amazzi mu Disitulikiti y'e Kabale mu kiromita musansu nga ze mayiro 4.3 mu bugwanjuba bwa tawuni ye Kabale.[9] Y'emu ku zisinga okubeera engazi ate empaanvu ku nnyanja esatu ezisinga okubeera entono, nga endala kuli Ennyanja Mutanda ne Nnyanja Mulehe munsozi za Kigezi ezisinganibwa mu bitundu bya Nile basin.[3]
Ennyanja eno yakolebwa emyaka nga 18,000 egiyise nga kino kyava ku muliro ogwali guva munsozi nga guno gwaziba ekiko ekyali mu nsozi za Ruchiga okulinaana ekyalo kyebayita Muko kati mu bukiika ddyo bwa bugwanjuba bw'akasongezo k'ennyanja.[10] Omukutu ogufulumya amazzi okuva mu nnyanja eno mutono nnyo nga nago guli ku Muko nga gukulukuta okuyingira mu lutobazi lwa Ruvuma, eno mu kukyuka kuyiga mu muga Ruhezaminda, ne gukomekerera mu nnyanja Mutanda. Ennyanja eno eriko kiromita 22 obuwanvu ne kiromita mukaaga obugazi nga obuwaanvu buli ku mita nga 1973.[3] Yeetoloddwa ensozi ezituuka ku buwaanvu bwa mita 600 wagulu w'ennyanja.[10][11]
Obusinza obusinga okumannyikwa Main islands
[kyusa | edit source]Akampene (Akazinga kebaabonerereza ngako)
[kyusa | edit source]Abakiga baatera nga okuleka abawala abataali bafumbo wabula nga balina embuto ku kazinga kato akatono bafireyo enjala oba bawuge okutuuka ku lukalu naye nga bano baali tebalina bumannyirivu buwuga.[12] Kino baakikola nga kuteeka ntiisa mu balala, mungeri y'okubalaga obutakola kintu kyekimu.Omusajja eyali talina nte kusasula muwala kumujja wabwe kugenda kumuwasa, yali asobola okugenda ku kazinga kano ne y'egirayo omwuwala.[12] Enkola eno baalekerawo okugikozesa kuntandika y'ekyasa ekya 20.[12]
Bwama ne Njuyeera (Akazinga ka Sharp)
[kyusa | edit source]Mu 1921, omumisaani okuba mu Bunereza Leonard Sharp yajja mu kitundu kya Uganda, nga mu 1931 yatandikawo ekifo webaali bajanjabira obulwadde bw'ebigenge nga kaseero ako nga bali ku kazinga Bwama okutaali nga bantu.[13] Ekanisa, abalwadde webaali babeera n'ekyalo wamu n'eddwaliro byazimbibwa, wabula Sharp ye n'agenda okubeera ku kazinga ka Njuyeera ekitegeeza nti eno waali ngayo ebisulo by'abazungu, oluvannyuma lw'ennyumba y'abasawo entono eyalinga nga eya taata wa Sharp mu Shanklin, nga kati woteeri eyitibwa ''The White House Hotel''. Ensonga y'okujanjaba obulwadde bw'ebigenge yali yabwanakyewa , nga okutandikawo ekifo ekirimu abantu abasanyufu nga webabeera, kyali kijja kusikiriza abantu abalina ebigenge, nga kino kyali kyakubagya mu bantu gyebaali bayinza okusiigira banaabwe obulwadde buno.[14]
Enkolagana yaayo n'ebisolo ebyetoloddewo
[kyusa | edit source]Nga ogyeko ebinyonyi by'okumazzi, ebika by'ebisolo ebitono ebisinganibwa mu mazzi byebisinganibwa mu munsozi ez'esuliridde ku nnyanja eno. Amazzi gaayo gaategekebwa mungeri y'okubeera nga omuka ogusibwa guli kubuwaanvu bwa mita musanvu, nga ze fuuti 23.[3]
Ebisolo ebisinganibwawo nga birina amagumba kuliko ebikere nga De Witte's clawed frog, Lake Victoria clawed frog ("bunyoniensis" ), African clawless otter ne spotted-necked otter, wabula nga ekikere ekisooka kyokka kyekikyasinga okulabika mu nnyanja eno.[3]Ebika by'ekikula kino eby'emirundi enna eby'ekikula kya Caridina shrimp byebisinganibwa ku nnyanja eno;[15] waliwo n'ebiraga nti bino biyinza okubeera nga biri ne mu Nnyanja Mutanda.[3] Mu kusooka, eno tewali ngayo by'enyanja mu nnyanja eno, naye zi semutundu Clarias liocephalus, Engege, Empuuta, haplochromine cichlids nga zisubuka mu Nnyanja Nalubaale ne red swamp crayfish byebatwalibwayo.[3]
Ebimera by'omumazzi bisinganibwaayo mu bungi nga kuno kuliko ebiweempe, ebitoogo n'ebimuli ekika kya blue lotus.[3]
Obulanbuzi
[kyusa | edit source]Ennyanja Bunyonyi esinga kumannyikwa olw'ebifo byayo ebyakiragala ebigyetolodde wamu n'ensozi nga kuno kusinganibwako ebika by'ebinyonyi ebisoba mu 200. Ekifo kino kigata ebinnyonyi by'okumazzi wamu n'ebinnyonyi ebisengawo. Kino kisikiriza abantu abalina obwagazi bw'okulabana ebinnyonyi. Okugenda ku lutobazi lwa Nyombi okwelolera ku bika by'ebinnyonyi eby'enjawulo. Nga ogyeko okulaba ebinnyonyi, ekifo kirina ebintu ebirala, nga kuno kwekuli okuwuga wamu n'okutambulirako muy lyaato n'okuvuga. Osobola n'okutambula engeedo empaanvu nga bino byonna tebiri ku bya butonde oba ku nyumirwa. N'okunyumirwa eby'obuwangwa mu kaseera bw'obeera otambulira, kuba osobola n'okufuna w'oyimirirako nadala mu kifo webatereka ebintu by'Abakiga ebikadde. Byaterekebwa nga 2022, Ogwekumineebiri nga 8 ku kyuma kalimagezi ekya Wayback ne ku mikutu kya blacksmith. Okusobola okufuna eby'obuwanga ebirala, osobola okulambula ekyalo Bufuka okwongera okumannya Abatwa n'Abakiga.
Ebijjuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://doi.org/10.1111%2Fj.1365-2427.1973.tb00067.x
- ↑ http://www.banknote.ws/COLLECTION/countries/AFR/UGA/UGA0044.htm
- ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 3.5 3.6 3.7 https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-1-4020-9725-6
- ↑ Denny, Patrick (1972). "The significance of a pygnocline in tropical lakes". The African Journal of Tropical Hydrobiology and Fisheries. 2 (2): 85–89.
- ↑ 5.0 5.1 Tibihika, P.D.M.; W. Okello; A. Barekye; D. Mbabazi; J. Omony; V. Kiggundu (2016). "Status of Kigezi minor Lakes: A limnological survey in the Lakes of Kisoro, Kabale and Rukungiri Districts". International Journal of Water Resources. 8 (5): 60–73.
- ↑ https://www.bunyonyi.org/
- ↑ https://lakebunyonyiuganda.com/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Africa-s-second-deepest-lake--Bunyonyi-decreases-by-two-metres/688334-3918038-bvvyj2z/index.html
- ↑ https://www.worldcat.org/oclc/1064481271
- ↑ 10.0 10.1 https://onlinelibrary.wiley.com/doi/10.1111/j.1365-2427.1972.tb00367.x
- ↑ Denny, Patrick (1971). "The Kigezi Lakes, Uganda". In Luther, H.; Rzóska, J. (eds.). Project Aqua, I.B.P. Handbook No. 21. Oxford: Blackwell Scientific Publications. pp. 180–181.
- ↑ 12.0 12.1 12.2 https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-39576510
- ↑ Not a gap year but a lifetime. Katherine Makower. 2008. Apologia Publications, Eastbourne, UK.
- ↑ Island of miracles. Leonard Sharp. 2nd Ed. Battley Brothers Limited, Queensgate Press, Clapham Park, SW4
- ↑ https://doi.org/10.2988%2F0006-324X%282005%29118%5B706%3ACNPRCD%5D2.0.CO%3B2
Ensibuko
[kyusa | edit source]
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | edit source]- https://www.youtube.com/watch?v=459-IrnCR5Y - vidiyo erabika obulungi ng'ekwatagana ku nnyanja Bunyonyi
- http://www.bunyonyi.org - Ekikulambululira Ennyanja Bunyonyi