Akayanja ka Kabaka.



Akayanja ka Kabaka, nnyanja eyasimibwa n'emikono ng'esinganibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Ennyanja eno y'emu ku bifo eby'obulambuzi ebisinga etuttumu mu kibuga era etambulirako ebyafaayo eby'amaanyi naddala eri Abaganda n'obwakabaka era yamugaso eri eby'obuwangwa.[1][2] Ye nnyanja esinga okubeera enene nga yasimibwa na mikono.[3]
Ebyafaayo by'enyanja ya Kabaka
[kyusa | kolera mu edit source]Ennyanja ka Kabaka yasimibwa mu biseera by'ekyasa kyae 19 ku biragiro bya Kabaka Mwanga II eyali owa Buganda, obwakabaka mu Uganda eriwo kati. Okusimwa kw'enyanja eno kwaliwo olw'okusika omuguwa kw'ani alina okubeera mu buyinza okwaliwo wakati wa Mwanga n'aba Kulisitaayo beyali afuga. Enyanja yasimwa okuwereza ng'ensimbuko y'amazzi agakozesebwa n'okutumbula eby'okwerinda by'olubiri lwa Kabaka.[3][4][5]
Enkula yaayo n'ebigisinganibwaako
[kyusa | kolera mu edit source]Ennyanja ya Kabaka eriko obugazi bwa yiika 200 nga zino ze sikweeya kiromita 0.8, ng'erina obwanvu bwa mita 4.5 okuka wansi. Enzizi ez'obutonde n'amazzi g'enkuba agakulukuta geegayiwa amazzi mu nyanja eno. Enyanja esinganibwa mu bitundu eby'esuliridde ebali wa Kampala ebya Lubaga.[6]
Ebikolebwako n'omugaso
[kyusa | kolera mu edit source]Enyanja ya Kabaka erina emigaso egy'enjawulo eri abantu abagyetolodde. Ekola ng'ensibuko y'amazzi agakozesebwa mu kufukirira ebimera byabwe n'ebyetaago ebyabulijjo. Ennyanja eno era kifo kyabulambuzi, ng'esikiriza abantu b'omukitundu n'abalambuzi abakolerako ebintu ng'okuvugirako amaato, okuwumulirawo, n'okutambulirawo nadala kumbalama.[7][1]
Omugaso eri eby'obuwangwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ennyanja ya Kabaka erina emigaso egy'amaanyi eri eby'obuwangwa n'ebyafaayo eri abantu mu Uganda, nadala mu bwakabaka bwa Buganda. Eno ettwalibwa okubeera akabonero k'ensibuko y'obwakabaka, ng'era ekozesebwa mu mikolo egy'enjawulo nadala ku bikujuko by'obuwangwa eby'omugaso. Akakwate k'ennyanja eno n'obwakabaka bwa Buganda n'abakulembezze b'obuwangwa ky'ongera okulaga omugaso gyekalina eri obuwangwa.[1]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijjuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/kabaka-s-lake-his-highness-mwanga-s-positive-legacy-1549042
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=uhlinBM3mQ4
- 1 2 https://www.ganyanasafaris.com/blog/kabaka-lake-the-largest-man-made-lake-in-uganda/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-11. Retrieved 2024-06-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-07-15. Retrieved 2024-06-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Kabaka's Lake: his highness Mwanga's positive legacy". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-06-15.
- ↑ https://www.bwindiugandagorillatrekking.com/kabakas-lake/