Enock Ssebaggala
Enock Ssebaggala (yazaalibwa 28 ogw'omusanvu 2000) muzannyi wa mupiira wa Uganda ow'ekikugu era azannya nga muzannyi wa makkati mu Vipers SC mu liigi ya Uganda Premier ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda . [1] [2] [3]
Omulimu gwa kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Express FC
[kyusa | kolera mu edit source]Ssebaggala emipiira gy’abakulu yagitandikira mu Express FC, emu ku kiraabu za Uganda ez’ebyafaayo, gye yazannyira sizoni nnya n’okuzannya emipiira 42 egya liigi ya Uganda Premier. [4]
NEC FC
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'omunana 2023, Ssebaggala yeegatta ku NEC FC, n’aleeta obuyiiya bwe mu makkati mu kiraabu eno. [4] Sizoni ya 2024–25 yalaga nti yeewuunyisa nnyo; yakola kinene nnyo mu kuyamba NEC FC okumalira mu ky'okubiri mu liigi ya Uganda Premier. [5]
Vipers SC
[kyusa | kolera mu edit source]Mu gw'omusanvu 2025, Ssebaggala yamaliriza endagaano ey'emyaka ebiri ne Vipers SC, bakyampiyoni ba Uganda Premier League, n’afuuka omuzannyi owookubiri kiraabu eno gwe yagula mu katale ako. Yatongozeddwa nga "midfield maestro" er'agenda okwambala omujoozi nnamba 8 . [6] [7] [8]
Omulimu gw’ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Ssebaggala yasookera mu nsi yonna ey'abakulu mu Uganda Cranes mu 2025 mu mupiira gw'omukwano ogwaggwa ne Gambia amaliri ga ggoolo 1-1 . Era yalondeddwa mu ttiimu ya Uganda mu mpaka za African Nations Championship (CHAN) ezali zigenda okutegekebwa mu August 2025. [9] [10]
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Engule za NEC FC (2024–25):
- Omuwuwuttanyi asinga mu sizoni eno
- Omuzannyi w'abazannyi asinga mu sizoni eno [11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Isabirye, David (2025-07-12). "Vipers is my new home, midfielder Ssebagala revels after NEC switch". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-08-19.
- ↑ "Family legacy fuels CHAN dreams for Uganda duo Ssebagala and Usama". Family legacy fuels CHAN dreams for Uganda duo Ssebagala and Usama (in British English). Retrieved 2025-08-19.
- ↑ "Enock Ssebagala". Uganda Premier League - Official Website (in American English). 2000-07-28. Retrieved 2025-08-19.
- 1 2 "Welcoming Enock Ssebagala to the NEC FC Family - NEC FC" (in American English). 2023-08-29. Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Ssekyanzi, Richard (2025-06-20). "NEC Midfielder Enock Ssebagala Completes Move to Vipers SC". SportsNation (in Lungereza). Archived from the original on 2025-12-22. Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Club, Vipers Sports (2025-07-12). "Midfield maestro Ssebaggala signs for Vipers SC". Vipers SC Official Website (in British English). Archived from the original on 2025-08-03. Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Abdusalam, Kigozi (2025-07-13). "Transfers: Ssebaggala Signs for Vipers SC". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Mabuka, Dennis (2025-07-13). "Midfield maestro Ssebaggala signs for Vipers SC - Africa Top Sports" (in American English). Archived from the original on 2025-07-23. Retrieved 2025-08-19.
- ↑ "Family legacy fuels CHAN dreams for Uganda duo Ssebagala and Usama". Family legacy fuels CHAN dreams for Uganda duo Ssebagala and Usama (in British English). Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Sports, Pulse (2025-07-28). "CHAN 2024: Ugandan Stars Enock Ssebagala and Usama Arafat Carry Family Legacy". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). Retrieved 2025-08-19.
- ↑ Kironde, Baron (2025-06-03). "NEC Awards: Jacob Okao Named Best of 2024/25". SportsNation (in Lungereza). Archived from the original on 2025-12-23. Retrieved 2025-08-19.