Jump to content

Ensaasi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ensaasi kimu ku bivuga ebiwerekera engoma

Ensaasi, kimu ku bivuga eby'ennono mu buwangwa obwenjawulo mu ggwanga Uganda.ebikuba ebivuga ebitera okuyitibwa shakers. Ensaasi okusobola okuvaamu eddoboozi enyenyenyezebwa nga aginyeenya akutte mu kitundu ekiwanvuyirivu ekiringa obulago. Wadde ensaasi kivuga ekisangibwa mu buwangwa obw'enjawulo mu Uganda, ensaasi zisinga kukozesebwa nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda mu masekkati ga Uganda kwossa ne Busoga mu buvanjuba bwa Uganda. Ensaasi ezeyambisibwa okuwerekera engoma, ziteera kubeera za nnabansasaana nga ziba bbiri era oyo azijjamu eddoboozi eriwerekera engoma akwata ensaasi emu buli mukono olwo naanyenya nga engoma bwezivuga. [1] [2] [3] [4]

Enkula n'endabika

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensaasi mu butonde ziva ku kirime ekiringa ekiryo okuva ensujju, ebita oba endeku. Endeku ebeera n'omubiri ogulinga ogwekita era nga erimu ekituli okuva ku mumwa gwayo okutuuka mu ntobo. Endeku gyegenda ekka okuva waggulu okutuuka ku ntobo gyekoma okugejja. Okusobola okufuna eddoboozi okuva mu nsaasi munda waayo muteekebwamu empiki, obuyinja obutonoto, embira oba obusiiti. Ensaasi oluusi ziteekebwamu obuti ku mumwa okusobola okwanguyiza oyo azinyeenya okuzijjamu eddoboozi.ga Enkula y'ensaasi, obunene bwayo kwossa n'omutindo gwebyo ebiteekebwa munda bisalawo nnyo ku mutindo n'obunji bw'eddoboozi eriva munsaasi. [5]

Mu bitundu by’omu masekkati, obuvanjuba kwossa n’obukiikakkono bwa Uganda, Ensaasi zeeyambisibwa mu kufulumya maloboozi mu ngeri ey'omujjirano era kino kiva ku mpiki oba amalanga agaba munda muzzo. Amaloboozi agava mu nsaasi gakola ekitundu kyamaanyi ku mudigido oguba mu bivuga eby'ekinnansi. [6]

Omugaso ogw'obuwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensaasi kimu ku bivuga ebitabula mu miteeko gy'ebivuga eby'ekinnansi nga engoma, amadinda, adungu, entongooli nebirala ebigwa mu ttuluba eryo. Ensaasi ziyambako mu kuzimba omudigido okutambulira ebivuga ebirala. Ensaasi era zikozesebwa mu mikolo wamu n'okusinza okwenono, okuwerekera amazina, obulombolombo wamu, n’ebijaguzo eby'enjawulo. [7] [8]

Mu kunyeenya Ensaasi bbiri zikwatibwa emu mu buli mukono olwo nezinyenyezebwa mu ngeri enteketeeke okusobola okuvaamu eddoboozi eggenderere. Ensaasi ziyinza okunyenyezebwa mu ngeri ey'ekimpowooze oba ku musinde ogudduka eenyo okusinziira ku ddoboozi ly’oyagala n’envuga y’oluyimba. Eddoboozi erikolebwa ensaasi liwa ekirungo n'ekinogezi ekyenjawulo mu bivuga. [9] [10] [11] [5]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.face-music.ch/instrum/uganda_instrumen.html
  2. Ramsey, Gordon P. (2024), Ramsey, Gordon P. (ed.), "Percussion Instrument Group", The Physics of Music: Integrating the Technical and Artistic Aspects of Creating Music (in Lungereza), Cham: Springer Nature Switzerland, pp. 233–262, doi:10.1007/978-3-031-53507-9_8, ISBN 978-3-031-53507-9, retrieved 2025-02-19https://link.springer.com/chapter/10.1007/978-3-031-53507-9_8
  3. (1–10). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  4. {{cite book}}: Empty citation (help) https://books.google.co.ug/books?hl=en&lr=&id=Tc5RCwAAQBAJ&oi=fnd&pg=PA179&dq=ensaasi+instrument&ots=2VmU0BKgEe&sig=DSS2UtAqDUyWxyWpEKv2Xm75heA&redir_esc=y#v=onepage&q=ensaasi%20instrument&f=false
  5. 1 2 (82–96). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help) https://www.cambridge.org/core/journals/yearbook-for-traditional-music/article/abs/music-as-dance-and-dance-as-music-interdependence-and-dialogue-in-baganda-baakisimba-performance/9EA8A4DEA042B1AA445B18A2A5A94968 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  6. {{cite web}}: Empty citation (help) https://trillionlooks.store/product/shaker/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.newvision.co.ug/news/1253729/music-baganda-cd-launched
  8. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.ugandasafaristours.com/uncategorized/ugandas-traditional-musical-instruments.html
  9. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.proquest.com/openview/271244fb515e054a01124b43ff52fa07/1?pq-origsite=gscholar&cbl=18750&diss=y
  10. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.proquest.com/openview/38b6c777b5b7db80da27ebcad3f1d2b3/1?pq-origsite=gscholar&cbl=18750
  11. {{cite web}}: Empty citation (help) https://www.proquest.com/openview/9e885a707e99260a/1?pq-origsite=gscholar&cbl=2327