Ensekkati

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Ensekkati(median))

Gakuweebwa Charles Muwanga !!

Ensekkati

   (Median)

Ensekkati ye namba esangibwa mu makkati g'om,ugereko gwa kalonda(in the middle of a set of data) asengekeddwa mu nziring'an y'enambiso(arranged in numerical order)

Bw’oba osengeka omusengeko gw’emiwendo mu enziring’ana eyambuka (ascending order), ensekkati (=ennamba ey’amakkati) ye namba eba mu makkati. Singa wabaawo emiwendo ebiri egikola amakkati, ky’okola kwe kubaza omugeranyo gyagyo.


Ekikunizo 1: tuzuula ensakkati 3, 9, 5, 7 , 5, ne 2.


Ekibazo: Okusooka osengeka namba zino mu enziring’anya eyambuka:

        2, 3, 4, 5, 5, 7, 9 

Ekiddako saza ku “enamba y’amakkati”:

       2, 3, 4, 5, 5, 7, 9 

Eno y’ensekkati (median), eri 5.

Ekikunizo 2: Zuula ensekkati ya zino:

1, 3, 3, 7, 5, 7, 9, 9

Namba ezo waggulu zisengekeddwa mu nziringanya eyambuka ,n’olwekyo tolina kufaayo ku nsengeka yazo.Wetegereze nti mu musengeko gwa namba guno, ennya n’ettano ze namba ezikola amakkati:

  1, 3 , 3 , 7 , 5 , 7 , 9 , 9

Ky’okola kwe kubaza omugeranyo (omuwendo ogw’ekigero=average) ogwa namba zino ebbiri okusobola okufuna ensekkati.

  7+5 /2= 12/2 = 6 
  Ensekkati eri 6.

Ensekkati y’omugereko oba olukalala lwa namba eba namba eri mu makkati singa namba ziba zisengekeddwa mu nziring’ana eyambuka. Singa wabaawo omuwendo gwa namba ogwa kyegabanya (even number), ensekati kiba kigero (mean) kya namba ebbiri ezo mu makkati.


Ekikunizo 3: singa ebibiina omusanvu ebya Sango P7 School buli kimu kirimu omuwendo gw’abayizi nga bwe nkiraze bwenti: 60, 70, 45, 50, 63, 65, ne 67. Zuula omuwendo ogw’ ensekkati mu baana abali mu buli kibiina kya Ssango P7 School.


Ekibazo: Ky’okola sengeka emiwendo nga bwegidding’ana okuva ku gusembayo obutono okutuuka ku gusingayo obunene oba okuva ku gusingayo obunene okutuuka ku gusingayo obutono.


Okuva ku kisingayo obunene okudda sansi ku kisembayo obutono ky’ekiyitibwa “enziring’ana ekka”(descending order) ate okuva ku kisembayo wansi okutuuka ku kisingayo waggulu kye kiyitibwa “enziring’ana eyambuka”(ascending order).


45 , 50, 60, 63 , 65 , 67 , 70

70, 67, 65, 63, 60, 50, 45


Awo okiraba nti ensekkati eba 63


Okimanyi nti ensekkati ky’ekigeranyo ekisinga okukozesebwa okulaga ebisale by’ebyettunzi ebiri ku katale? Ensekkati eyamba kubanga eriraanye amakkati amatuufu. Kyokka mu kubaza ensekkati y’abaana abali mu bibiina bya Sango P7 School , singa wabaddewo omuwendo gw’ebibiina ogwa kyegabanya nga , 60, 70, 50 ,63 , 65, ne 67 kitegeeza wandibaddewo namba eziri mu makkati bbiri, 63 ne 65 :


50, 60, 63 + 65 , 67 , 70


Wano okutuuka ku nsekkati obaza ekigeranyo (quotient) kya namba zino ebbiri eziri mu makkati bwoti: 63+65 2

= 128 2 = 64

Nga wabaddewo ebibiina mukaaga mu kifo ky’omusanvu, ensekkati eba kigero kya 63 ne 67 ekikuwa ensekkati eya 64, namba eri mu makakti gennyini aga 63 ne 65, namba ebbiri eziri mu makkati.


Kyokka singa okozesa ekibalo eky’ekigero (omugeranyo=annual average) eky’omwaka okubaza ennyingiza y’omwaka (annual income) ey’abatuuze b’e Nabbingo nga muno mulimu abagagga ba binnyonkondo abatonotono ate ng’abasinga ennyingiza yabwe ey’omwaka eri wansi nnyo, abagagga bano ababale obubazi bayinza okukukuwubisa n’olowooza nti omugeranyo gw’omwaka (annual average) ey’abatuuze eri waggulu kyokka nga mu butuufu abantu abasinga obungi mu kitundu beeyaguza luggyo olw’obwavu.


Okusobola okuwa ekifaananyi ekituufu tuba tweyambisa ekibalo ky’ensekkati (median). N’olwekyo ennyingiza y’omwaka ey’ensekkati (median annual income) wano eba ya mugaso okusinga ennyingiza y’omwaka ey’omugeranyo (mean annual income). Mu butuufu oba okiraba nti ennyingiza ey’omwaka ey’ekitundu ky’abatuuze mu Nabbingo esinga eba yenkana ensekkati ey’ekitundu ky’abatuuze ekisigaddewo ate nga ennyingiza y’omwaka y’ekitundu ekisigaddewo eri wansi wa oba yenkana n’ensekkati. Kino tekisoboka kutuukibwako nga osinziira ku nyingiza ya mwaka ey’omugeranyo.