Jump to content

Ensengekera y'Obusimu(the nervous system)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ensengekera y’obusimu

     (Nervous system).

Ensengekera eno ekung’anya n’okukola ku bubaka okuva mu kentero z'omubiri(the body senses) okuyita mu busimu (nerves) n’obwongo era n’egamba emifumbi okwesika (contract) okuisobola okuleetawo ebikolwa eby’omubiri.

Ensengekera y’obusimu ebaamu obwongo, emiraatira gy’obubaka obaomuyitiro gw’obubaka(spinal cord), amaswanso g’obusimu(nerves) ne sensa z’omubiri ettano ng’amaaso, amatu. Olususu, olulimi .

Ensengekera eno eyingiza , eweereza n’okulungamya obubaka okuva mu mubiri munda ne wabweru w’omubiri . Obwongo bwo n’emiraatira gy’obubaka(spinal code) bye bikola ensengekera y’obusumu eyo mu makkati, so ng’ate ensengekera y’obusimu ey’amabbali ebaamu ebitundu bya sensa byonna n’obusimu bwonna obugatta emiraatira gy’obusimu ku bitundu by’omubiri byonna .Bivudde mu Kitabo "Essomabiramu" ekya Muwanga Charles