Ensengekera ya kitegabbugumu(The greenhouse system)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Muwanga !! Olw’okutaataganya ekibalo kya Katonda eky’obutonde , Ensi yaffe eri mu nkyukakyuka mu mbeera z’obudde olw’okuba nga obungi bwa kaboni-bbirokisayidi mu nampewo bweyongera buli olukedde olw’omuntu okutaataganya ensengekera za Katonda(Devine systems).


Ensengekera ya Kitegabbugumu y’engeri Katonda gye yateekawo ebbugumu eriva ku njuba okutegebwaamu era ne liyingizibwa “ggaasi za kitegabbugumu” (greenhouse gases) ezisangibwa mu nampewo.


Ssinga tewaaliwo ggaasi za kitegabbugumu, ebbugumu eriva ku njuba lyonna lyandibadde lizzibwaayo mu bwengula, kino   ne kireka Ensi nga nyinyogovu nnyo obutasobozesa bulamu kubeerako. Kyokka ate ebbugumu eritegebwa okusigala mu nampewo w’Ensi bwe liyitirira era kireetawo okwonoona embeera y’obudde omuli n’ebbugumu okuyitirira ennyo ku nsi . Walina kubeerawo  bbugumu  lya kigero eryetaagisa ku Nsi nga Katonda bwe yakiteekateeka oluberyeberye.


Ekirabika okuva mu bifaananyi ebiweerezebwa ebibulungulo (satellites) ebisindikibwa mu bwengula awamu n’okunoonyereza kiraga nti omuzira oguli ku nsi guli mu kumerenguka olw’olubugumu olweyongera bulu olukya , semayanja zeyongera okujjula, n’ensengekera z’embeera z’obudde zigenda zikyuuka.

Amazzi ageetagibwa ebiramu, omuli n’abantu , gafuuse ga kkekwa , embuyaga , kikung'unta , ne kibuyaga bigenda byeyongera mu maanyi n’enziring'ana. Eddungu likyayinza okweyongera okugaziwa olwo ensi kigizibuwalire okulima emmere egimala. Kino kyetaagisa okukyusa enneeyisa okuziiyiza obungi bwa kaboni-bbiri-okisatyidi mu nampewo.


Ekigendererwa kya Namugereka mu kitegabbugumu


Okufananamu n’ekiyumba ekigerere (greenhouse) omukulizibwa ebimera , mu mbeera engere , ggaasi mu nampewo w’ensi zikuumira enkulungo y’Ensi ku tempulikya ez’ekigero.


Emigendo gy’enjuba (sun’s rays) bwe giyingira mu nampewo (earth’s atmosphere) , amasoboza (energy) , gayingizibwa ggaasi za kitegabbugumu. Ekitundu ku masoboza ag’enjuba kyokyesa (kibugumya) ensi oba enkulungo ate ekirala ne kizzibwayo (reflected back) mu nampewo.


Ggaasi za kitegabbugumu(green house gases) zisobola okukuuma ekigero kyazo okuyita mu nfulumya n’ennyingiza ey’obutonde okuva mu bintonde ebiri ku nsi , ebiramu n’ebitali biramu. Eky’okulabirako kwe kuvunda kw’ebiramu (organic decay ) okuvaamu kaboni-bbiri-okisayidi(carbon-dioxide) . Okukola ku woyiro ne ggaasi ez’obutonde (natural oir and gas) , kitondekawo metani. Ebibira n’emiddo bitondeka nayitulaasi-okisayidi (nitrous oxide).


Abantu bwe batataaganya ensengekera ezenkanyankanya ggaasi eziri ku nsi, nampewo, bulangiti ya ggaasi ezitega ebbugumu, ataataaganyizibwa.