Ensimbu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Ensimbu bwe bulwadde obutaataganya omuyungiro gw'amagumba mu mubiri. Obuzibu buno biyinza okuvaamu obuvune mu magumba wabula ekibuleeta tekimanyiddwa bulungi.[1]

Ekiviirako obulwadde bw'ensimbu tekimanyiddwa wabula abamu bagamba nti obuzibu buno buva ku muntu okufuna obuzibu ku bwongo, okukubibwa ennyo ekisusse n'ebirala. Abaana abamu basobola okufuna obuzibu buno singa bafuna obukosefu nga bazaalibwa. Abantu abalina obulwadde buno batera kulabibwa ku kwekuba bigwo n'okwesika. Omuntu ne bw'aba ali ku nju waggulu, asobola okuvaayo ne yekkata wansi obulwadde obwo nga bumukutte.

Ensimbi egambibwa okuba ng'eva ku ku kukosebwa kw'obutoffaali bwongo. Omuntu alina Obulwadde buno atera okufuna okusanyalala. Omuntu alina Ensimbu asobola okukeberebwa omusaayi nga bakozesa ekyuma ekimanyiddwa nga Electroencephalogram mu lulimi lw'Ekinnassaayansi.

Mu 2013, Abantu abakunukkiriza obukadde abiri mu bubiri baazuulibwa nti baalina obulwadde bw'Ensimbu era nga ku bano ebitundu kinaana ku buli kikumi baali mu nsi ezikyakula. Mu 2003, Omuwendo gw'bantu abafa obulwadde bw'Ensimbu gweyongera okutuuka ku bantu 116000 okuva ku bantu 112000 abaafa mu 1990. Mu nsi ezikyakula obulwadde buno businga nnyo mu baana ate mu nsi ezaakula obulwadde buno businga nnyo mu mabujje ne mu bakadde. Mu bitundu ebimu abantu abalina ensimbu balina obukwakkulizo obubateekebwako nga obutakirizibwa kuvuga bidduka okutuusa nga bafunye obujanjabi.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Epilepsy