Entababaganya n'Entababuvobwawamu(Society and Community)
IALI NGO has been authorised by terminologist Charles Muwanga to post this article from his Luganda terminology works on Luganada Wikipedia for free public consumption.
Amakulu g’ebigambo
(i) Entababuvobwawamu(community)
(ii) Entabaganya(society)
(iii) Ensi (Earth)
(iv) Enkulungo(Planet)
(v) Omwezi (moon)
(vi) Okusengeka=okuteekateeka mu ngeri ey’ekibalo
(vii) Sabasengekera (Supersystem)
(viii) Sebasengekera(suprasystems)
(ix) Ensengekera (systems)
(x) Semawanga(supranational)
(xi) Ensengekera za entababutonde(ecological systems)
(xii) Ensengekera z’ebiramu(living systems)
(xiii) Ensengekera z’ebitali biramu(nonliving systems)
(xiv) Ensengekera eza wansi(subsystems)
Okwanjula: Ensengekera y’Obwengula n’Ensi
Okusobola okumanya ekifo ky’eggwanga lyo mu nkulaakulana y’Ensi osaana onnyonyoke emiramwa gy’Entababuvobwawamu n’Entabaganya .
Era kyetaagisa okumanya emitendera enkulaakulana y’Entabaganya ku nsi mwezze eyita okutuuka weeri kati wakati mu bwengula we tuli.
Bwe twogera ku “nsengekera” y’ekintu, tutegeeza nti buli ekikirimu kisenge bulungi era nga tekiriimu kintu kyonna kitalina kigendererwa. Ensengekera erina ebitundu oba ebiwayi ebirina ekibikwataganya ate nga byonna biri mu mbeera ey’okwebeezaawo.
Buli kitundu ky’Ensengekera nakyo kirina ensengekera eyaakyo era ensengekera y’ekitonde eyimiridde wo ku amaanyikasoboza agakibeezawo .
Buli kitundu ekibeera mu nsengekera kikolagana mu ngeri ez’enjawulo n’ekirala bwe biri mu nsengekera emu. Mugobansonga w’obutonde alaga nti ensengekera, zeyoleka mu bintu byonna, ebiramu n’ebitali biramu.
Enkulungo Ensi nsengekera ya biramu n’ebitali biramu. Ensi Sabasengekera omutono (small supersyetm) ow’ensengekera za Semawanga(national systems) omuli n’ensengekera ya entababutonde , omuli ebiramu n’ebitali biramu byonna.
Ensi nsengekera ey’omuggundu ,erina akakwate akatasattululwa n’ensengekera y’enjuba yaayo, nampewo(atmosphere) waayo , ebitonde byonna ebigirimu n’amaanyikasoboza agava kun juba yaayo mu bwengula.
Enkulungo Ensi, okuva mu makkati gaayo okutuuka nampewo waayo w’akoma, na buli kintu ekiri munda ne kungulu kwa yo , kintu ekirimu ekintabuli ky’ensengekera z’ebiramu n’ebitali biramu omuli ne ekisinde eky’ekitangalijjo (Mirkyway galaxy) n’obwengula(universe) bwonna okutwalira awamu.
Sabasengekera y’obwengula eri awamu ennyonyolwa nga omugatte ogw’ekibalo ogw’ebitonde n’amaanyikasoboza mu kitundu ekiri mu bwengula ekiteekedwateekeddwa okukolagana kw’ebitundutundu by’ensengekera ebiri mu nsengekera yobwengula.
Ensengekera eno erimu watomu, molekyu, enkulungo, ensengekera z’enjuba, ensengekera z’ensegekera z’enjuba oba Golomola awamu n’obwongula bwonna okutwalira awamu.Muno mutwalirwamu n’ensengekera z’ebiramu ebiri ku enkulungo Ensi.
Ensengekera z’ebiramu nazo ziri mu biti bingi nga muno mwe muli n’ensengekera za entababutonde omuli ebisolo n’ebimera. Ekigambo nsengekera era kikwata ku nsengekera z’ebikolwa by’enneeyisa y’ebiramu era n’ensengekera y’ebirowoozo ebiragibwa mu bubonero, ekiyitibwa “ensengekera z’emiramwa”.
Sabasengekera w’ensengekera zonna era yeyolekera mu nteekateeka ya bwengula nga bwe buli. Ekibuuzo ekinaakubeera mu mutwe buli bw’oyongera okulowooza ku kibalo ekyakozesebwa okutonda obwengula kiri : Ani yakola okusengeka kw’obwengula n’ensi yaffe okw’ekibalo ekya waggulu bwe kutyo?
Emitendera gy’ensengekera y’Ebiramu
Ensengeka y’ebintu ey’emitendera egy’enjawulo yeyoleka okuva ku busirikitu bwa patike za watomu okutuuka ku bwaguuga bw’obwengula ne Ssengendo ezibulimu . Watomu ze zikola molekyu ate molekyu zo nezikola buli kintu ekiri mu buttonde mu bwengula bwonna ne ku nsi, enkulungo, zo ate ne zikola ensengekera ya zienkulungo(planetary system) eziri mu mugendo ogwetoloola enjuba mu bwengula obwaguuga.
Ensengekera mu mutendera ogumu zifaanagana okusinga ensengekera mu mutendera omulala. Ensengekera z’ebiramu zikolebwa molekyu nnyingi ng’ezebitali biramu. Kyokka ebiramu birina molekyu ezirukiddwa mu ngeri ey’ekibalo ekya waggulu okusinga ku bitali biramu mu ngeri y’emu ssengendo eziri mu bwengula gye zateekwateekwa mu ngeri ey’ekibalo okubeera mu bbanga nga ziseeyeeya awatali mpagi eziwanirira kyokka nga tewali eva mu kkubo lyayo kutomera ndala.
Ebiramu byonna bikolebwa mu molekyu z’ebiramu(organic molecules) ; ebiramu byonna birimu asidi wa nyukiraiki(nucleic acids) ne asidi za amina(amino acids) ezikola kazimbamubiri(proteins). Asidi za nyukiraiki ne kazimbamubiri mu buttonde ziri mu biramu byokka. Ensengekera z’ ebiramu zonna era zirina okufaanana kwa molekyu, ekiraga nti birina obujajja bwe bumu olw’okuba nti kirabika byakolebwa okuva mu busirigini(genes) bwe bumu.
Ensengekera z’ebiramu ziri mu mitendera musanvu , buli gumu ne situla(structure) ya gwo :
(i) Obutaffaali bwe’ebiramu(Cells).
Obutaffaali bw’ebiramu bukolebwa molekyu ez’enjawulo. Zino molekyu kazimbamubiri ezirina obusirigini era nga zisobola okuzaala endala munda.
(ii) Ebitundu by’omubiri (Woogani). Buno bwe butaffaalikazimbamubiri nga bwekutte wamu okukola emiwuula(tissues). Zino ze situla z’omubiri ezikola ebintu eby’enjawulo(emigereke).
(iii) Ekikula(a spieces Kino kiba kikula kya kiramu ekiba mu nju emu era ng’ekikula kino kyezaalamu kyokka.
(iv) Ekibinja ekitaliimu nteekateeka .Ebiramu bibiri oba okusingawo byekolamu ebibinja. Ebisolo mu bibinja bino mwe bibeera . Yadde nga “entabaganya” ez’enjawulo mu biwuka ebitabagana ng’enjuki zirina okufaanagana kunji n’entabaganya z’omuntu, situla n’enkola zaazo zifanaagana nnyo ez’ebibinja by’abantu okusinga entababuvobwawamu oba entabaganya . Omuntu nga tannabeera mu kiyitibwa ntabaganya oba ntabaganyi yasooka naye kubeera mu bibinja nga ensolo endala.
(v) Entababuvobwawamu (Ebibinja ebiteeketeeke). Ensengekera zino zaawulibwa okuva mu bibinja ebitaliimu nteekateeka si lwa bungi oba butono bw’abantu ababirimu kyokka lwa kubaawo emitendera ne situla z’obukulembeze oba enteekateeka y’entabaganya.
Omutendera guno gulimu ensengekera ez’ekintabuli(diversity) , ezimu nga bubuga, butundu bwa teritoliya, buwanga obulina ekyefananyirizaako gavumenti omuli enkola z’amateeka, ebyenfuna, ebibiina by’eddiini , eby’obwannakyeewa n’ebyenjigiriza.
(vi) Entabaganya . Entabaganya ennyonyolwa nga ekika ky’ensengekera y’entabaganyamawanga munda mu kkyo nga kirimu ebyo ebyetaagisa okugikuuma oba ensengekera eyebezaawo yokka. Entabaganya ey’omulembe guno yeyolekera mu “ggwanga-kawaliriza”(nation state). Amawanga gekomya era negakuuma butiribiri ekitundu kya teritoliya ekigere, gaba ne gavumenti eya wakati era nga gatera okuba n’obyobuwangwa ebirambulukufu.
(vii) Ensengekera za Ssemawanga . Ensengekera zino zirimu entabaganya bbiri oba okusingawo , ezewaayo okuteekawo enkolagana mu biba bikkaanyizibbwako era nezeyama okugondera omugako oba enkolagana ezikkanyizibbwako.
Mu mutendera guno mulimu okwegatta, okukolera awamu n’enteekateeka ku nsonga eya namunigina oba ensonga ez’enjawulo wakati w’amawanga agaba gatabaganye. Entabaganya zikiikirirwa abakiise(deregates) mu nkungaana z’ebibiina by’amawanga . Ekyokulabirako mu nsengekera za semawanga mulimu UN ,EAC, ECOWAS ,EU , n’endala.
Ensibuko y’Entabaganya mu Buganda
Nga tewanabaawo “ntabaganya”(Society) wasookawo “entababuvobwawamu”(Community); Ebigambo bino byawukana bitya?
Mu Buganda eyedda era okufaananako mu bantu ab’obuwangwa obulala ku nsi , obukulembeze bwalanda okuva ku nju . Olwo buli nju n’egenda nga ezaala .Oluvannyuma enju ezirina obujajja obumu zegatta okukola ebika.
Abantu abaali mu kika ekimu baalinga balina obujajja bumu ate era okusooka nga babeera ku kyaalo kye kimu. Akabondo k’abantu abalina obujajja obumu abaaberanga ku kyaalo ekimu bwe katandika okusenga mu byalo ebibaliraanyewo, ebyaalo ne bitandika okubeeramu abantu ab’ebika eby’enjawulo.
Bano be basooka okukola “entababuvobwawamu” (community); ekitegeeza okubeera mu mbeera etali ya kyeyagalire , eyokutabagana olw’embeera emu gye mubeeramu nga mwogera olulimi lumu mu buwangwa obumu ku kyalo oba mu kintundu ekimu .
Okutabagana kuno okwajjawo mu bantu ab’ebika eby’enjawulo nga bagumba mu kifo kimu omuli obuwangwa n’embeera eya awamu kwe kwavaamu entababuvobwawamu .
Ebika byonna ebyali bikola entababuvobwawamumubantu bwe byegatta ne bikola Obwakabaka bwa Buganda.
Oluvannyuma obwakabaka bwagenda bugejja ne buwamba n’okumaamira ebitundu by’obuwangwa obulala obwetolooddewo okuva ku Bunyolo , Abanyala ,Abaluuli entababuvobwawamumubantu n’ebeera nti tekyekusiza ku bantu ba buwangwa bumu bwokka obwa abaganda wano entababuvobwawamumubantu ez’enjawulo eza Buganda ne zikola “entabaganyabuwangwa” oba entabaganyabantu oba entabaganya(Society).
Ebigambo entababuvobwawamu n’entabaganyabuwangwa oba entabaganyabantu (Entabaganya) mu bumpimpi bye bifuuka “”entababuvo”(community) ne “ entabaganya”( society) , nga bwebiddingana.
Enjawulo wakati w’Entabaganya n’Entababuvobwawamu
Entababuvobwawamu n’Entabaganya wano biba bikozeseddwa nga “linnya” . Binnyonyolwa mu ngeri za njawulo.
Obutafaanana na ntabaganyi, entabaganya etunuulira obwomuntu (humanity) n’ebyetaago by’omuntu awatali kufa ku wa gy’abeera, bulombololombo ,ddiini , na buwangwa bwe. Ekyo kye kitabaganya amawanga okulaba nga buli muntu atusibwaako ebyetaago eby’obwomuntu.
Ekyokulabirako entabaganya eteeka essira ku ddembe ly’obwebange mu bantu b’ensi wonna we bali omuli eddembe okuba n’obulamu, eddembe ly’okusinza, eddembe ly’okutabagana; wano buli muntu wafunira eddembe okutabagana n’abantu abali wabweru w’obuwangwa bwe , ekintu ekitali nnyo mu ntabaganyi.
Mu ntabaganyi mubeeramu ennono n’empisa ezobuzaale oba ez’ekitundu kyokka mu ntabaganya watekebwaawo oba wajjawo empisa empya ezisobozesa abantu ab’enjawulo okubeera awamu olw’okukussa ebyetaago byabwe eby’obuntu ng’eddembe ly’obwebange, obukuumi , ebyobulamu , emmere, ebyenjigiriza, enkulaakulana n’ebirala.
Kino kiba kitegeeza nti okutabagana okubeera mu ntabaganya, ne mu ntabaganyi kubeerawo naye kuno kugoberera byetaago bya bwamuntu(humanity) so si kabondo kamu oba ka kitundu kimu. Kino kitegeeza nti n’entababuvobwawamu zirina ebyetaago ng’ebyentabaganya naye entabaganya teri ku bulombolombo bwa ntabaganyi.
Mu njogera ya “bayologiya”, entabaganya kikwata ku bikula eby’enjawulo kyokka ebiri mu mbeera y’obetaavu emu era nga bikolagana mu ngeri eya mugobansonga (dialectic); ekitegeeza nti buli kimu kyetaaga ekirala okubaawo (symbiosis) awatali kufa ku njawulo gye birina.
Mu ntabaganyi obwetaavu buba bwa kutumbula mbeera ya bannansi okuyita mu byenfuna omuli agirikakya n’okusuubula , n’okubawa obukuumi n’enkola y’amateeka n’ebiragiro. Eno ye yali entabaganya ya Buganda empya abafuzi b’amatwale we bajjira wano.
Abantu mu Entababuvobwawamu baba wamu nnyo n’okukolaganira awamu okusinga ku b’entabaganya. Era nga bwe tulabye enju n’oluganda bye byasinga nga okulaga entababuvobwawamu kyokka ebirala ebikwata ku ntabaganyi nga ekifo oba ennono nabyo nga bisobola okulaga entababuvobwawamu. Kino kye kipimo ekyokukolera awamu n’okutegeeragana okwa wamu.
Entabaganya ku ludda olulala kabondo omuli abantu kinnoomu abasikirizibwa okwetaba mu kibinja lwa kwagala kwa buli omu so si lwa luganda oba nju oba bulombolombo oba nnono naye lwa kwagala.
Osaana okimanye nti mu butuufu tewali kabondo kaali kabadde ntabaganyi oba ntabaganya kikumi kukikumi kyokka bino byombi byegattika.
Waliwo ebirungi ebyokubeera mu ntabaganyi n’ebyokubeera mu mbeera y’entabaganya. Embeera bweba yeekubidde nnyo mu ntabaganyi olumu tewabeerawo bulamu bwa kyama(private life) kubanga buli omu amanya ebikkwatako era okutambuza olugambo n’okugeya biba bingi.
Kyokka ekirungi ky’entababuvobwawamu kwe kuba nga omuntu afuna obutatya okuba nga buli gw’asanga amumanyi n’okuba mu beera ey’empisa eza awamu.
Mu ntabaganya abalala bayinza obutamanya bikukwatako era oyinza okubeera mu kitundu nga tolinaamu mikwano , nga tewali akufaako mu kitundu ng’olina okutya buli gw’olaba kubanga tomumanyi.
Omuntu ali ennyo mu mbeera ey’entabaganya ayinza okukitwala ng’eky’omukisa okuba n’eddembe okukola buli kyayagala awatali bulombolombo bumuziyiza gamba ng’okwambala enkunamyo, obutabuuza bantu balala, okwogera ebyobuseegu ,n’ebirala.
Wano we wava enjawulo wakati w’entababuvobwawamu y’ekyalo n’eyekibuga(eno yekubidde nyo ku ntabaganya omutali bulombolombo na misoso gya kweyisa mu Bantu balala).
Entabaganya gubeera mwoyogwaggwanga omuli endowooza y’okubeera mu mbeera emu kyokka nga tewali kumanyagana oba omuli ddembe ly’obwebange omutali kikuziyiza nnyo kukola kyoyagala yadde kikontana n’ennono n’empisa ez’entababuvobwawamu kasita kiba nga tekikontana na mateeka nga gwanga.
Omwoyo gw’Entababuvobwawamu
Mu ntabaganyabuwangwa, entababuvobwawamu yeyolekera mu bigendererewa ebya wamu, enzikiriza emu , ebyobugagga, ebyetaago,ebiyayaanirwa,obuzibu n’embeera endala ezawamu .
Bwe twogera ku “mwoyo gw’Entababuvobwawamu” (community spirit) tutegeeza ebirowoozo oba endowooza ebantu abali mu ntabaganyi yonna gye beerinako n’entababuvobwawamu yaabwe. Omwoyo gw’entababuvobwawamu mulimu:
• okukolagana • Okumanyagana
okuyambagana Obukuumi
• Okukolera awamu Okwewaayo • Okwerekereza Obukakkamu • Mwoyo gwa gwanga Ekisa • Okusasira • Okwenenyeza banno • Okwenenya • obwanakyewa • Bulungibwansi okulemera ku nsoga • okuwuliriza • Amazima obwenkanya • essuubi • Obwomwoyo • Okufa ku balala • Obwakalimagezi ku bikolwa ebijja abalala mu mbeera
Ebika by’Entababuvobwawamu
Muno mulimu entababuvobwawamu ezinnyonyolwa ekifo(locus) , Okuba n’ebikolwa ebifaanagana,Obumu bw’ebyafaayo, Obuzaale Obubagatta .
(a) Entababuvobwawamu ezekusiza ku Obumu bw’Ebyafaayo .
Kino kikwata ku bantu ababeera mu kitundu ekimu era n’Ekitundu kino mwe babeera nakyo kiyitibwa ntabaganyi.
Abantu bano batera okuba n’empisa , obulombolombo , endowooza, ayidologiya, okubikulirwa , ebikolwa , ebikolebwa, obubonero, ebigendererwa, ebiruubirirwa, okunyigirizibwa n’ebirala ebya wamu.
Kikwata ku kabondo akatabaganyi nga bamemba baako babeera mu kifo ekyetongodde akalimu obukulembeze ng’ebiseera ebisinga baba n’obuwangwa n’ebyafaayo ebya wamu.
Ekyalo, akabuga, ekibuga nabyo bisobola okuba n’amakulu ge gamu n’entababuvobwawamu olwokuba bikwata ku bubondo bw’abantu ababeera awamu mu ngeri y’okutabagana era nga batera okuba wansi w’amateeka n’ebiragiro ebya wamu yadde nga bakintabuli oba nga bava mu buwangwa bwa njawulo.
(b) Entababuvobwawamu ezeekusiza ku buzaale. Entababuvobwawamu eno ebaamu abantu ab’ekika, obuwangwa , oba eddiini emu. Kino kitegeeza obujajja bumu , , abaana, bakizibwe, aboluganda , abako n’abemikwano, emirirwano, b’okozeeko nabo, eddiini, n’ebirala.
(c) Entababuvobwawamu z’enkolagana oba okwegatta kwa Amawanga. Akabondo k’amawanga agegasse awamu olw’ebigendererwa eby’awamu oba ensibuko emu gamba nga East African Community (Entababuvobwawamu y’amawanga ga E.A).
(d) Entabagnyi z’ Obwanakyeewa. Akabondo mu ntabaganyi ,akeddiini, obukugu, oba ak’engeri endala nga kalina ebikakwatakooba ebigendererwa bye bimu era nga katwalibwaokuba oba keetwaala okuba okuba ak’enjawulo mu ngeri emu oba endala okuva ku ntabagantabantu mwe kali. Gamba nga entababuvobwawamu y’abavubi, entababuvobwawamu y’abayivu oba entababuvobwawamu ya Bannasayansi.
Wano omuntu era asobola okwogera ku “entababuvobwawamu y’ebiruubiriro”, obukugu, ekifo ekirimu ennyumba awookubeera, oba entababuvobwawamu y’ebiramu mu kifo.
(e) Entababuvobwawamu mu entababutonde
Mu entababutonde, omugatte gw’ebiramu ebisangibwa mu kitundu ekimu guyinza okutunuulirwa ng’entababuvobwawamu.
Okutwalira awamu, entababuvobwawamu kikozesebwa okutegeeza ekimu ku bino :
a. Abantu , entabaganya(Bantu)/entabaganya(mawanga) ; ekyokulabirako –“ebyetaago by’entababuvobwawamu
b. Omwoyo gw’entababuvobwawamu(community spirit)
c. Ekifo
d. Abantu abakibeeramu
e. Abantu ab’obuwangwa , olulimi oba ebyafaayo ebifaanagana.
f. Amawanga agegasse olw’ebigendererwa ebimu.
g. Obwa nnanyini obwa wamu.
h. Mu mawanga agamu kitegeeza omutendera gw’enfuga y’ebitundu ogusembayo wansi ku kyalo nga mu Sikooti n’e Weero mu U.K
Enteekateeka y’entabaganyabuwanga.
Entabaganya ziteekebwateekebwa lwa kugenda mu maaso okwebezaawo .Abantu bazze beebezaawo okuva ku bayizzi abakunganyirizi, abalunzi abataayaaya, abalimi, bannagirikakya, Bannamakolero n’abasuubuzi.
Ate era entabaganya ziteekebwateekebwa okusinziira ku nsitula y’ebyabufuzi. Wano twogera ku bufuzi obw’ekyalo, abakulu b’ebika, obwami n’obw’eggwanga.
Enkulaakulana y’Entabaganya
Entabaganya ennyonyolwa okusinziira ku mutindo gwa tekinologiya , ebyemupuliziganya n’ebyenfuna. Wano tutunuulira entabaganya zino:
• Eyabayizzi-abakunganyirizi
• Azagirikakya ow’omutindo ogwa wansi
• Agirikakya akulakulanye
• Eya Yindasitule
Ate era entabaganya esobola okunnyonyolwa oba okwawulibwa ku ndala okusinziira ku bunyunyunsi obujibeeramu awamu n’enkola y’eggwanga ey’okuwaliriza (coercion):
• Bakiwagi abayizzi n’abakunganyirizi
• Obufuzi mu buwangwa omuli ekyefanayirizaako emitendera gy’obukulembeze
• Obwami obukulemberwa abafuzi abaami
• Emirembe gy’Obugunjufu omuli entabaganya Bantu ez’emitendera emirambulukufu egye enjawulo ne Zigavumenti.
Entabaganya zitandikira ku nsisinkana y’abantu olw’ ensonga z’ebyobufuna(political economic factors) nga ekifo , ebyobugagga, okuba mu mbeera ey,obalabe emu, n’ebirala.
Oluvannyuma wajjawo enkulaakulana y’obuwangwa(cultural evolution) entababuvobwawamu y’abalimi n’abakunganyirizi n’egumba awali emmere oluvannyuma ne zifuuka ebyalo ebirimi(agralian virlages); Ebyalo nebikula okufuuka obubuga n’ebibuga ; ebibuga ne bifuuka “ggwanga-bibuga” oba “mawanga ag’obuwaze”(nation states).Ekyavaamu mutendera gwa “mwana wa muntu” oba obwomuntu.
Abamakisi balambulula ebika by’entabaganya okuzinziira ku byafaayo era bagamba enkulakulana y’entabaganyabuwangwa kintu kya byafaayo . Ebyafaayo by’entabaganyabuwangwa bizze byeyolekera mu mitendera gino :
• Entabaganya y’Entababuvobwawamu Eyasooka
• Entabaganya y’Obufuzi bw’Obuddu
• Entababuvobwawamu ey‘Obufuzi bw'Abataka
• Entababuvobwawamu a Bassitakane
• Entababuvobwawamu ya Bannakalyakani
Entababuvobwawamu Eyasooka
Omuntu eyasooka komowedda okusooka yali mu mbeera eno;
• Tewaliwo musingi gwa Byanfuna; entondeka y’ebyamaguzi
• Tewaliwo Sebasitula-kitegeeza tewaaliwo bisitula(bikulakulanya) ntabaganyamawanga nga gavumenti , enkola y’amateeka, ebitongole by’ebyokwerinda , obusuubuzi, ebyobuwangwa , eddiini, yadde empisa.
• Tewaliwo kiraasi za byanfuna, bunyunyunzi yadde okusika omugwa
• Tewaliwo nkolagana za byanfuna
• Tewaliwo sayansi na tekinologiya yadde owa wansi
• Waliwo emizizo ne sikimanyinkitya munji.
• Entababuvobwawamu yali ya mwenkanonkano.
Komowedda okuyiiya tekinologiya ow’amayinja n’omuliro kyamusobozesa okusenga okulima n’okufumba emmere. Eno ye yali entandikwa ya sayansi ne tekinologiya ng’etandikidde mu “yenega” ava mu mayinja n’omuliro.
Entabaganya y’Obufuzi bw’Obuddu
Ekyaleetawo okuva mu ntabaganyi eyasooka okudda mu y’Obuddu kwali ku nkulakulanya mu tekinologiya akola ebikola nekiyamba okukulakulanya “amaanyi g’obusobozi bw’ okutondeka(okukola ebikole)” okugondera etteeka ly’enkulaakulana ly’entabaganyamawanga erigamba nti : “Enkyukakyuka mu maanyi g’obusobozi bw’okutondeka eviirako enkyukayuka mu nkolagana(mu ntabagana) mu Bantu okugondera obwetaavu bw’obutonde”.
Tekinologiya w’amayinja n’okukuma omuuliro yasobozesa omuntu w’entababuvobwawamu okusenga n’okukola saapulaasi(ekisukulumye ku kye yeetaaga okwebeezaawo) ekyaleetawo kiraasi y’abaddu n’abamaasita abeefuula abafuzi era abalina abwannayini ku baddu olwekigendererwa okyokubakolera saapulaasi. Eno ye yali entandikwa y’obukulembeze . .
Okukuuma obukulembeze buno obwobunyunyunsi Abamaasita batandikawo “sebasitula” eyeyolekera mu gavumenti erina omukono okwekyuma /oguwaliriza ebiragiro n’amateeka agateeredwawo okufuga abaddu.
Mu bulaaya Abamaasita bano olwokuba tebaakolanga baalina ebiseera bingi ne benyigira mu kukozesa obwongo bwabwe mu bujjuvu ku buttonde bw’Ensi ne bafuuka bakakensa ku bintu ebyenjawulo era kino nekireetawo okuvumbula ebintu binji n’okwongera okukulakulanya tekinologiya.
Kino kyavaako okutumbula omuwendo gw’ebikolebwa era amaanyi g’Obusobozi bw’okutondeka negeyongera okukulaakulana wakati mu bunyunyunsi obwakolebwanga ku baddu. Okutwalira awamu bino bye bikulu ku ntabaganya y’obuddu:
• Tekinologiya atandika okuyita mu kuvumbula ebikola eby’amayinga , okukuma omuliro, ebikola eby’emiti n’amagumba . • Sebasitula etandikiriza okuvaayo kyokka wakati mu butamanya obunji n’okutya obutonde(sikimanyinkitye). • Wajjawo kiraasi y’Abaddu neya Abamaasita abanyunyunta abaddu ababakolera awatali kusasulwa. • Amaanyi g’obusobozi bw’okutondeka geyolekera mu bikozesebwa by’amayinja ne yenega eyomuliro. • Ssikimanyinkitya akyali mungi ddala. Ku nkomerero y’enyabaganya eno abantu baali beyongedde okusenga n’okwezimba nga tebakyatayaya nnyo. Kino kyaviiramu abakulu b’ebika bya bamasita okwegatta neberondamu kabaka eyatiitibwanga nga Katonda wakati mu sikimanyinkitya omungi era wano Abamaasita bweyubula ne bafuuka “Banamataka”(Bannanyini mataka).
Entababuvobwawamu y‘Obufuzi bwa Bannamataka
Ku mulembe guno abantu beeyawulamu kiraasi nnyingiko omwali Bakabaka, Abaloodi(Balisitokulaati), n’Abaserafu. Abaali abaddu mu ntabaganyi y’Obuddu be bafuuka Abaserafu , bano nga baalina eddembe okusingako ku ly’abaddu.
Abaddu baatandika okuwakanya Abamasta ababanyigiriza n’okubabanyunyunta , ekyaggwera mu kukkaanya abaddu ne baweebwa ekyaganya ku kitundu kyebakungula ku ttaka ,ekyabafuula abaserafu ate abamaasita ne bafuuka Bannamataka. Yadde tebaaaafuna ddembe lijjuvu abaserafu obutafaanana na baddu bakkirizibwa okubaako kyebeesigaliza ku makungula naye saapulaasi yasigala erina kuddayo wa Bannamataka/Balandiroodi.
Wajjawo Kabaka ow’amaanyi ng’alina obuyinza okunaawuza n’okulwana entalo. Kabaka ye yali akulira Gavumentu eyalimu kiraasi enfuzi eya “Banobiriya”(Balisitokulaati) ne Bannamataka.
Akalembereza kano abaserafu ke baafuna kabasobozesa nabo okutandika okukozesa obwongo bwabwe nebayingira ne mu sayansi ,ekintu ekyaviiramu okujja kw’Abaweesa(artisans). Amaanyi g’obusobozi bw’Okutondeka geyongera okweyoleka mu agirikakya(obulimi n’obulunzi) okuyita mu byemikono(handicrafts), okukozesa ebikumbi ebikululwa ebisolo n’okukozesa ebigimusa ebya nnakavundira(compost manure) .
Waliwo enjawulo wakati w’ekigambo Abataka ne Bannamataka ; Bannamataka kitegeeza bannanyini mataka ate Abataka kitegeeza abo abafuga wansi wa Kabaka .Kabaka ye yali Saabataka ;ekitegeeza akulira abataka ne Bannamataka bonna.
Nga bwe tulabye waggulu, sayansi ne tekinologiya yagenda yeyongera okukulakulana okutuuka ku mutindo gwa masiini naye ng’ettaka liri mu mikono gya Bannamataka(Balandiroodi) .
Enkulaakulana mu sayansi ne tekinologiya yasobozesa okukendeera kwa sikimanyinkitya olwokuba nti okutya obutonde okwavanga mu butamanya kwagenda kuvaawo olw’okuvumbula ebituufu okwatandika okubaawo olw’enkola ya sayansi(scientific method).
Bannamataka baatandika okukaakatika obusuulu ku baweesa n’abakola ebyemikono. ‘Abaweesi(Arisans) bwe batandika okusuubulagana mu bikole byabwe bayitanga mu ttaka lya Bannamataka be baasasulanga emisolo egye’enjawulo.
Okunyigirizibwa kwa Abaserafu(abebibanja) kwaleetawo kiraasi empya eya Bassitakange(Bakapitoola). Wakati mu nkulaakulana ya sayansi ne tekinologiya, obwetaavu obwa Abaweesa eri abakozi bwalinnya, ekintu ekyaleetera Bannamataka okuwalirizibwa okuleka Abaserafu bagende mu bibuga okukola mu makolero ga Bassitakange nga basasulwa mpeera(wage) .
Bino bye bikulu mu ntabaganyi y’obufuzi bwa Abataka /Bannamataka:
• Sayansi ne tekinologiya byeyongedde okulaakulana.
• Omusingi gw’ebyenfuna gweyongedde okulaakulana.Abaweesi ne bannagirikakya bafulumya ebikole ebyettunzi bye balina okutunda awalala ; kino kireetawo obusuubuzi omwalinga n’okuwa emisiro obwakolebwa nga abasuubzi abayitibwanga abamerekanti.
• Sebasitula yeyongedde okukulakulana mu bufuzi bwa Bakabaka omuli n’ebitongole bya gavumenti ebiwaliriza(organs of coercion).
• Obwannanyini obulimu okunyunyunta bujjawo ku ttaka. Abaali abaddu bafuuka babibanja/Abaserafu(Serfs) ate abaali abamaasita nebafuuka Bannamataka(landlords).
• Okunyunyunta kugenda kukulaakulana ;
• sikimanyinkitya agenda akendeera olw’bivumbulwa okuyita mu “enkola ya sayansi”.
• Okutaatagana kw’enkolagana mu ntabaganya kweyoleka olw’wemisolo egikaligiba abasuubuzi abaweesa ne Bannagirikakya.
Entabaganya ya Bassitakane
Entabaganya eno yeyubula kuva mu ya bannamataka kyokka yo yasitulibwa kiraasi ya Baweesa (artisans), abaali abeserafu abeenyigira mu sayansi ne tekinologiya.
Obunyunyunsi , okunyigiriza kiraasi ya Baserafu n’okukulakulanya sayansi ne tekinologiya ebyakulakulanya entondeka y’ebikole byaleetera abaserafu okuddukira eri Abaweesa mu bibuga , ekintu ekyaleetawo kiraasi ya Bassitakange.
Ssitakange gwe mulembe gw’akatale ak’obwebange. Abaweesi n’abasuubuzi/abamerikanti (merchants) bafuuse ba Ssitakange (Babujwazi) era eno n’efuuka kiraasi enfuzi. Abaserafu abakolera Abaweesi (Bassitakange/ Bujwazi) bafuulibwa kiraasi ya Bapulolitaaliya (abakozi).
Kiraasi y’Abaweesa y’ensibuko ya Bassitakange, Bannamakolero n’Abamerekanti abakuma omutwe mu kwegugunga okwajjawo entabaganyabantu y’obufuzi bwa Bannamataka ng’okwo okwali mu Bufaransa mu 1789.
Obufuzi bwa Bannamataka bwali bufuzi bwa Banobiriya(nobles) era wajjawo enjogera nti “omwenkanonkano ne Bannobiriya” ,kuno nga kwali kusoomooza abo abaali beerowooza nti balina obuyinza okuva eri Katonda okufuga abalala obumbula.
Ekyava mu mbeera eyokwegugunga eyo kwe kuwa abaserafu eddembe okuva ku kukozesebwa ku ttaka basobole okufuna ekyagaanya okukozesebwa mu makolero agaali gabaluseewo olwenkulaakulana eyali yeyongera mu maaso mu sayansi ne tekinologiya.
Entabaganya ya Ssitakange yakulaakulana ng’eyita mu mitendera esatu :
(i) Sitakange owa Namukwakkula. Ono yali wa kuluvuubanira bya bugagga bya muttaka mu afirika, Aziya ne mu Amerika okutandika n’ekyaasa ekya 15. Mu bulaaya waaliwo n’okukozesa abantu ng’abakadde, abaana abato, n’abakazi ab’embuto mu makolero n’ebirombe omusimwa eby’obugagga ebyomuttaka. Ekigendererwa kawli kwegaggawaza so si ku lwa bulungi lwa Bantu bonna. Ekiseera kino kyaali kya kusuubula kwa ngendo mpanvu okwakolebwanga Bammakatale (Makantayiro). Mu Afirika mwalimu Abapotigo ate mu Amerika Abasipaniya.
(ii) Sitakange owa Yindasitule(Amakolero). Eno ye yali entandikwa y’omulembe gwa masiini n’okuweeza ebyuma awo mu byasa bya 17 ne 18.
Okusooka amakolero omuntu eyali akozesa emikono gye atandika okukozesa ku masiini eza namuziga ezevuga zokka(automatic).
Oluvanyuma wajjawo enkola y’abawozi ba ssente okuyamba ba ssitakange abali mu kuvuganya okwamaanyi. Abawozi ba ssente bkulalana mu busuubuzi era nga bezza ne bizineesi singa Omukapitoola atandiseewo bizineesi takyalina sente zigiddukanya.
Abakapitoola abalina sente batandika okumira(okumaamira) abo abateesobola , ekintu ekyaleetawo “Obwassitakange obwa Namunigina”(Monopoly Capital).
(iii) Obwasitakange owa Namunigina. Ssitakange ono ava mu kampuni zi binnyonkondo entono ennyo ezisigala mu nsiike ne zimaamira ebyobusuubuzi nga ziwagirwa Gavumenti zaazo . Oluvanyuma Kampuni zino zzagaziwa ne ziyingira n’amawanga ag’ebweru okumaamira obutale bw’ensi yonna n’ebyobugagga by’amwanga amalala.
Kampuni za Namunigina zino mulimu BATA, ESSO, SHERL, COKE COLA, n’endala. Kampuni zino nazo kati zifuna obuyambi okuva mu bitongole by’ensi yonna ebya Ssente nga Barclays Bank, IMF ne World Bank.
Okutwalira awamu ebintu ebikulu ku ntabaganya ya Sitakange bye bino:
• Amaanyi g’Obusobozi bw’okutondeka ageyolekera mu mutindo gwa sayansi , tekinologiya , yindasitule n’obukulembeze , gakulaakulanye nnyo. • Waliwo okunoonyereza, okuyiiya, n’okuvumbula ebyamaanyi. • Sebasitula aggumidde era nga yeyolekera mu bitongole bya Gavumenti ebirambulukufu omuli Minisitule, Ebitongole by’ebyokwerinda, eby’amateeka, Demokulasiya wa Palamenti, eddiini, n’ebirala. Bino byebiyamba okusitula ebyenfuna by’eggwanga. • Enkolagana z’Ebyenfuna za kawereege omuli okutaataganyizibwa okwamaanyi wakati w’abakozi (Bapulolitaaliya) ne Babuzwazzi (Bassitakange). • Waliwo okukontana okwa maanyi wakati wa kiraasi ya Babuzwazzi(Bassitakange/Abakapitoola) n’abakozi(Bapulolitaaliya). Kiraasi esooka enyunyunta eddako. • Ebikozesebwa biri mu mikono gy’omuntu kinnoomu ayitibwa omukapitoola (Omusitakange). • Omusingi gw’ebyenfuna mugazi ddala kubanga yindasitule zifulumya ebyettuzi mu bungi n’omutindo. • Ekigendererwa kya magoba mangi kyokka ng’omukapitoola akozesa sente ntono okutondeka ebikole ebyokutunda. • Entabaganya eno yesigamye nnyo ku mirimu egy’empeera.
Entabaganyabantu ya Bassitakange erimu enkulaakulana ey’amaanyi awali sayansi , tekinologiya n’amakolero naye bino we bitali naddala mu Afirika ebyenfuna bigongobavu olw’okubuzabuza okwakolebwa abafuzi b’amatwale n’okwesulirayo ogwa naggamba mu bakulembeze baffe.
Entabaganya ya Nakalyakani
Bano baddira obugagga bw’eggwanga mu Ssitakange n’abuteeka mu mikono gy’eggwanga okubijja mu mukono gy’abantu kinnoomu(Abakapitoola). Abamakisa balowooza nti mu nkola ya Ssitakange abakozi abakola obugagga tebalina kwenyumiriza mu nbibala bya ntuuyo zaabwe(sapulaasi).
Ebika bya Nakalyakani
(i) Obwentabaganyabantu (socialism).
Wano abakozi (pulolitaliya) batabagana olwembeera bo gyebayita eyokunyigirizibwa n’okunyunyuntibwa Bassitakange ne bajjawo obufuzi bw’Abakapitoola bano mu nkyuukakyuuka ezomuggunda ssinziggu mwe bayita okufuula ebikozesebwa by’abakapitoola eby’entabaganyabantu yonna. Ebyenfuna mu ntabaganyabantu eno bitwalibwa okuba nti biri mu mikono gya bakozi abafuga obugagga bw’eggwanga. Ebyenfuna by’eggwanga birimu ebitundu bisatu:
(a) Ebyenfuna ebirina okuddukanyizibwa eggwanga. Gavumenti yeeba n’obwannanyini ku bintu ebikulu nga zibanka n’amakolero amanene. (b) Ebyenfuna ebirina okuddukanyizibwa ebibiina by’Obwegassi.Ebibiina by’Obwegassi(cooperatives) biba n’obwannayini ku faamu ennene, amakolero amatono, obutale n’ebirala. (c) Ebyenfuna ebirina okusigala mu mikono gy’abantu kinnoomu. Bizineesi eziyinza okukolebwa abantu nga si za Gavumenti mulimu amaduuka ga liteyiro, emmotoka z’abasaabaze n’ebirala. Era omuntu kinnoomu asobola okubeera n’obwannanyini ku nnyumba, motoka ya waka , engoye n’ebirala.
(ii) Obwatulikimu (communism).
Eno entababuvobwawamu yakulootabuloosi kubanga mu butuufu tetuukirizibwanga mu nsi wonna. Bannatulikimu balowooza nte entabaganya eyinza okubeera mu mbeera nga tewali ggwanga oba Gavumenti yadde Kiraasi z’ebyenfuna zonna.
Mu Nakalyakani waliwo eddembe ly’okusinza wabula okukola kussibwako nnyo essira okusingawo. Era essira liteekebwa ku demokulasiya ava wansi mu mirandira gy’abantu abawansi buli omu mwe yenyigira ku okudda waggulu ku mitendera gyanna ate era baagala nnyo abantu okwenyigira mu byemizannyo okusobola okubeera abalamu mu bwongo ne mumubiri.
Balina enkola eya bonna bajjanjabwe ne bonna basomere bwerere okuva wansi okutuuka waggulu era essira baliteeka nnyo ku sayansi ne tekinologiya.
Okumaliriza
Omuntu yenna ow’omulembe guno okubeera nga wa mulembe ddala yetaaga okuba ng’amanyi kalonda yenna akwata ku ntabaganyamawanga kimusobozese okwenyigira mu kwekulaakulanya okutuukana n’abantu abali mu entabaganyabantu ezaakula edda.