Jump to content

Entabaganya (Society)

Bisangiddwa ku Wikipedia
A society

Omulamwa gw’oluganda ogw’entabaganyabantu (human society) era ekiyitibwa entabaganya(society) guva mu kikolwa eky’okutabagana oba okutabaganya.

Mu byobufuna (political economy), ekitabaganya abantu eba mbeera y’abantu ey’ebyetaago eby’awamu (common needs). Ebyetaago eby’awamu bino era by’ebizibu by’entabaganya. N’olwekyo entabaganya eba “embeera ey’obwetaavu obw’awamu” oba “embeera ey’ebyetaago eby’awamu”.

Entabaganya ziyinza okuba entabaganyo (entabaganya entono) ez’enjawulo, omuli ebibinja by’abantu ababeera mu mbeera y’emu mu kifo eky’awamu ate nga bali mu mbeera erimu ebizibu eby’awamu n’ekigendererwa eky’okukola ku bizibu ebyo okusobola okulongoosa obulamu bwabwe.

Okusobola okutegeera obulungi akakwate akali wakati w’entabaganya (society) n’entondeka y’ebikole (production) wetaaga okusooka okumanya “obuzimbe bw’entondeka y’ebikole” (the structure of a mode of production).

Ka tutandike n’ekyokulabirako eky’obuzimbe bw’ensiisira. Ensiisira eserekebwa naye munda erimu obuzimbe obuwanirirwa empagi luwaga esimbibwa mu makkati gaayo.Singa oddira empagi luwaga eno n’ogisimira ekinnya (omusingi) omw’okugisimba wansi nga kifunda (narrow) oba nga kimpi ensiisira eno eba teyinza kuggumira bulungi era gy’okoma okujiteekako emiti n’essubi erinji waggulu gy’ekoma okwagala okutendewererwa n’okuba yegeyege.

Okusobola okuggumiza ensiisira eno obulungi olina okugiwa omusingi omugazi esobole okuba n’obuggumivu obuwanirira ebikozesebwa okugiggumizaako essubi. N’entabaganya erimu okutondeka ebyettunzi yefaananyirizaako ensiisira eggumizibwa empagi luwaga eno era gye tuyita sebuzimbe oba sebasitula.

Empagi luwaga eno olw’okuba y’ewanirira obuzimbe obuli waggulu w’omusingi kw’etudde era etwalibwa okuba “sebuzimbe” (semaanyi w’obuzimbe), ewa ekizimbe amaanyi (obuggumivu) gakyo. Sebuzimbe oba empagi luwaga eno era eyitibwa “sebasitula” (semaanyi okusitulirwa obuzimbe bw’ensiisira). Singa omusingi, sebuzimbe mw’etudde guba mufunda, nayo eba nnafu oba yegeyege.

Mu ngeri y’emu entabaganya eba n’ekyefaananyirizaako empagi luwaga eyitibwa “sebuzimbe” oba “sebasitula” (superstructure). Mu ntabaganya singa omusingi gw’ebyenfuna guba mufunda ne sebasitula oba sebuzimbe.


Amateeka agafuga enkulaakulana y’entabaganya

(i) Ettaka ly’okugondera obwetaavu erisooka:Etteeka ly’okugondera obwetaavu erisooka (1st law of necessary conformity).

Empalirizo z’entondeka y’ebikolebwe bwe zikyuka, emikwanaganyo gy’entodeka z’ebikole giba girina okugondera obwetaaavu”. “Okugondera obwetaavu” kivvuubula nga “conform to necessity”. Eky’okulabirako, singa oba okozesa abakozi ku faamu yo ng’ekikozesebwa y’enkumbi maanyi ga mikono, bw’oleeta masiini egonza ennima nga tulakita enkolagana oba engeri gy’okwanaganya emirimu mu bakozi bo eba ekyuka olw’ensonga emu aba endala.

Ebitongole nga bino biyamba okuteekawo empisa oba okuteekawo enkola nga amateeka, eby’enjigiriza, eby’okwerinda, okukwasisa amateeka, okukuuma emirembe, okutaawuluza enkaayana oba obutategeeragana, nobutebenkevu era bibeeramu eddiini, ebyobuwangwa, okunokoolayo ebimu. Bino byonna wamu bye bikola sebuzimbe (sebasitula) w’entabaganya.

(ii) Ettteka ly’okugondera obwetaavu ery’okubiri :“Bwe wabaawo enkyukakyuka mu musingi gw’ebyenfuna, sebuzimbe (sebasitula) nayo ekyuka ng’egondera obwetaavu”.

Eky’okulabirako, buli sayansi ne tekinologiya lwe bifuuka ensibuko y’amagezi, okuvumbula n’okuyiiya, eddini ezitambuliza abagoberezi mu “sikimanyinkitye” (superstitution)  nga okusinza bukatonda obungi, okusinza obutonde na buli kintu ekiziiyiza okutegeera zigenda ziddirira ate ezo ezikkiririza mu Katenda omu avunaaanyizibwa ku bwengula bwonna na buli kitonde ekibulimu, Katonda ensibuko ya sayansi, nga zijjawo.


Omusingi gw’ebyenfuna.

Empagi luwaga ey’ensiisira eva wansi mu musingi (ekinnya) omuwanvu obulungi okusobola okuba ennywevu obulungi. Mu ngeri y’emu, omusingi gw’ebyenfuna (economic base) ogugerageranya n’omusingi guno oguggumiza empagi luwaga mu ttaka. Mu byobufuna, omusingi gusinziira ku mpalirizo z’entondeka y’ebikole n’enkolagana (emikwanaganyo) gy’ebyanfuna.


Sebasitula (Sebuzimbe)	

Ensiisira, ennyumba ya Buganda eyedda yabangako empagi luwaga mu makkati ng’esimbiddwa n’eggumira bulungi mu ttaka (mu musingi). Empagi luwaga eno nga y’ebeera sebuzimbe y’ensiisira kubanga yeyetikkanga obuzimbe bw’ekizimbe (ensiisira) kyokka era yayitibwanga sebasitula kubanga y’ewanirira obuzito bw’ennyumba bwonna. Kyokka empagi eno, sebasitula (oba sebuzimbe) nayo erina ekijiggumiza, guno gwe musingi (ekinnya) mw’esimbibwa.

Entabaganya nayo eba n’ekyefaananyirizaako empagi luwaga eno oba sebuzimbe (sebasitula). Entondeka y’ebyamaguzi okusobola okugenda obulungi mu maaso, wetaagibwa okubaawo ebitongole ebiyinza okuba nga tebyenyigira butereevu mu ntondeka ya bikole naya nga biyamba okusobozesa entondeka y’ebikole okugenda obulungi mu maaso.