Entebbe General Hospital
Entebbe General Hospital, limanyiddwa ennyo nga Entebbe Hospital, ddwaaliro erisangibwa mu kibuga kye Entebbe, mu masekkati ga Uganda .
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lino lisangibwa mu masekkati ga disitulikiti y’ebyobyenfuna mu kibuga kyeEntebbe, mu Disitulikiti y’e Wakiso,kilomita 44 (27 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bw'amaserengeta ga Mulago National Referral Hospital, eddwaliro erisinga obunene mu ggwanga, erisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. Enkwatagana z'eddwaaliro lino ze zino:0°03'50.0"N, 32°28'18.0"E (Latitude:0.063874; Longitude:32.471655). [1]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Entebbe General Hospital ddwaliro lya gavumenti nga liweebwa ssente okuva mu minisitule y'ebyobulamu mu Uganda . [2] Mu kusooka yazimbibwa abafuzi b’amatwale okuva mu Bungereza mu kyasa eky’amakumi abiri nga Entebbe Grade B Hospital, eddwaliro lino lyaggalwawo okumala akaseera mu Gwekuminebiri gwa 2013. [3] Wakati wa gwekuminebiri 2013 ne ogwokutaano gwa 2016, eddwaaliro lino lyaddibwamu okuzimbibwa era ne ligaziwa okuva ku bitanda 100 okutuuka ku 200 ku bukadde bwa doola za Amerika musanvu (e za Uganda UGX:23.2 billion), ezaweebwayo Bbanka y'ensi yonna . [4] Eddwaliro lino eppya lirina akanyomero k’obwannannyini eno nga basasula ssente ku buweereza si nga mu lukale, ew’obwereere. Empeereza endala mulimu okujjanjaba abaana, okukuba ebifaananyi, laboratory, okuzaala, okugema, okulongoosa okwa bulijjo, eddagala ly’omunda, amagumba n’ebisenge omulongoosebwa. Abalwadde bava mu Disitulikiti y’e Wakiso, Disitulikiti y’e Mpigi, Mu kibuga Entebbe, n’ebizinga ebiriraanyewo ku nnyanja Victoria . [4]
Ebibaddewo gye buvuddeko
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaliro lino lyakyaka nnyo mu biseera bya COVID-19 mu Uganda, ekimu mu 2020 ate ekirala mu 2021. Okusinziira ku Dr Moses Muwanga, dayirekita w’ebyobujjanjabi, mu kiseera ekimu mu kiseera eky’okubiri, eddwaaliro lino eryalimu ebitanda 200 lyalimu abalwadde ba Covid-19 160. Olupapula lwa Daily Monitor lwayita eddwaliro lino Entebbe Regional Referral Hospital . [5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Template:Google maps
- ↑ Juliet Lukwago (18 November 2011). "Wakiso district officials visit Entebbe Hospital". Retrieved 4 May 2016.
- ↑ Ssebuyira, Martin (9 December 2013). "Entebbe hospital to close for renovation". Retrieved 4 May 2016.
- 1 2 Emmanuel Ainebyoona, and Paul Adude (4 May 2016). "Museveni commissions Entebbe General Hospital". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 4 May 2016.
- ↑ Eve Muganga (12 September 2021). "Entebbe hospital gets Shs250 ICU equipment". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 12 September 2021.